Pular para o conteúdo
Publicidade

10 Milagres de Jesus na Bíblia: Lista com versículos e explicação

Por Bíblia Online

Os milagres de Jesus são muito mais do que demonstrações de poder sobrenatural; eles são sinais que confirmam sua divindade e missão. Ao longo dos Evangelhos, vemos Cristo curando enfermos, dominando a natureza e vencendo a morte.

Neste guia, selecionamos 10 milagres de Jesus na Bíblia, organizados com referências e uma breve explicação sobre o impacto espiritual de cada um deles.

Os principais milagres de Jesus nos Evangelhos

1. Transformação da Água em Vinho

  • Referência: João 2:1-11

  • Explicação: Ocorreu nas Bodas de Caná. Sendo o seu primeiro milagre público, Jesus demonstrou autoridade sobre a matéria e a natureza, revelando sua glória aos discípulos e abençoando a instituição da família.

Awo bwe waayitawo ennaku bbiri ne wabaawo embaga ey’obugole mu Kaana eky’e Ggaliraaya ne nnyina Yesu yaliyo. Yesu awamu n’abayigirizwa be nabo baayitibwa. Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu n’ajja gy’ali n’amugamba nti, "Tebakyalina wayini."

Yesu n’amuddamu nti, "Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka."

Nnyina Yesu n’agamba abaweereza nti, "Kyonna ky’abagamba kye muba mukola."

Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olw’omukolo gw’Abayudaaya ogw’okwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.

Yesu n’agamba abaweereza nti, "Amasuwa mugajjuze amazzi." Ne bagajjuza okutuuka ku migo. Awo n’abagamba nti, "Kale musene mutwalire omukulu w’abagabuzi."

Ne basena ne bamutwalira. Omukulu w’abagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gy’avudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, n’ayita omugole omusajja n’amugamba nti, "Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, n’oluvannyuma ng’abagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo n’alyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gw’osembezzaayo!"

Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana eky’e Ggaliraaya, ng’alaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza.

2. Cura do cego de nascença

  • Referência: João 9:1-12

  • Explicação: Jesus usa lodo para curar um homem que nunca havia enxergado. Este milagre prova que Ele é a Luz do Mundo e tem poder para restaurar o que nasceu com defeito.

Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso

Awo Yesu bwe yali ng’atambula, n’alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe w’amaaso. Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, "Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe w’amaaso?"

Yesu n’addamu nti, "Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye. Kale kitugwanidde okukola emirimu gy’oyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mw’atasobolera kukola. Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi."

Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka n’atabula, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo. N’amugamba nti, "Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu," amakulu nti, "Eyatumibwa". Awo omusajja n’agenda, n’anaaba, n’adda ng’alaba.

Baliraanwa b’oyo eyawonyezebwa era n’abalala abaali bamumanyi nga muzibe w’amaaso, asabiriza, ne beebuuzaganya nti, "Ono si ye musajja oli eyatuulanga wali ng’asabiriza?" Abamu ne bagamba nti, "Ye ye," abalala ne bagamba nti, "Nedda, anaamufaanana bufaananyi." Kyokka ye n’abagamba nti, "Ye nze ddala." Bo kwe ku mubuuza nti, "Kale amaaso go gaazibuse gatya?" N’abategeeza nti, "Omuntu ayitibwa Yesu, yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, n’andagira nti, Genda e Sirowamu onaabe.Ne ŋŋenda ne naaba, ne nsobola okulaba."

Ne bamubuuza nti, "Ali ludda wa?" N’addamu nti, "Simanyi."

3. Multiplicação dos pães e peixes

  • Referência: Mateus 14:13-21

  • Explicação: Com apenas cinco pães e dois peixes, Jesus alimentou mais de 5 mil homens. Este sinal revela Cristo como o Pão da Vida, aquele que supre todas as nossas necessidades.

Yesu bwe yabiwulira ebyo, n’asaabala mu lyato, n’abaako gy’alaga abeere yekka mu kyama. Naye abantu bangi nnyo bwe baakiwulira ne bava mu bibuga bingi, ne beekooloobya, ne bamugoberera nga bayita ku lukalu. Yesu bwe yava eyo n’alaba, abantu bangi n’abasaasira n’awonya abalwadde baabwe.

Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamugamba nti, "Laba obudde buzibye ate tuli mu ddungu, ssiibula abantu bagende beegulire emmere mu bibuga."

Naye Yesu n’abaddamu nti, "Tekyetaagisa kubasiibula, mmwe mubawe ekyokulya."

Ne bamuddamu nti, "Ffe tetulina kyakulya kiyinza kubamala, wabula tulinawo emigaati etaano gyokka n’ebyennyanja bibiri."

N’abagamba nti, "Kale mubindetere wano." N’alagira ekibiina kituule wansi ku muddo, n’addira emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri, n’atunula waggulu ne yeebaza, emigaati n’agimenyaamenyamu n’agiwa abayigirizwa ne batandika okugabula ekibiina. Bonna ne balya ne bakkuta; obutundutundu obwafikkawo ne babukuŋŋaanya wamu ne bujjuza ebisero kkumi na bibiri! Abantu bonna abaalya baali ng’enkumi ttaano nga totaddeeko bakazi na baana.

4. Jesus acalma a tempestade

  • Referência: Marcos 4:35-41

  • Explicação: Com uma ordem, o vento e o mar se aquietam. O milagre ensina sobre a paz que excede o entendimento e a autoridade do Messias sobre a criação.

Yesu Akkakkanya Omuyaga

Ku lunaku olwo obudde nga buwungedde Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Tuwunguke tulage emitala." N’aleka awo ekibiina, abayigirizwa be ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye. Abantu abamu ne babagobera mu maato agaabwe. Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta n’amayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi. Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, "Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?"

N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’agamba ennyanja nti, "Tteeka, sirika." Omuyaga ne gusirika n’ennyanja n’eteekera ddala.

N’ababuuza nti, "Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?"

Ne batya nnyo, ne beebuuza nti, "Ono ye ani, embuyaga n’ennyanja gwe bigondera?"

5. Cura da mulher com fluxo de sangue

  • Referência: Marcos 5:25-34

  • Explicação: Uma cura que aconteceu pelo toque da fé. Jesus mostra que está atento ao sofrimento individual e que a fé é o canal para receber o milagre.

Mu kibiina omwo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi n’ebiri nga mulwadde ekikulukuto ky’omusaayi. Yali yeewuubye mu basawo bangi abaamujanjabanga okumala emyaka egyo gyonna; ne byonna bye yalina nga bimuweddeko, obulwadde ne butawona wabula okweyongera obweyongezi. Yali awulidde ebikwata ku Yesu. Bw’atyo n’ajja nga yeenyigiriza mu kibiina ky’abantu n’atuuka emabega wa Yesu, n’akoma ku kyambalo kye. Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, "Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nzija kuwona." Awo olwakikomako, amangwago ekikulukuto ky’omusaayi ne kikalira n’ategeerera ddala ng’awonye.

Amangwago Yesu n’awulira ng’amaanyi agamuvuddemu, n’akyukira ekibiina ky’abantu n’abuuza nti, "Ani akutte ku kyambalo kyange?"

Naye abayigirizwa be ne bamuddamu nti, "Ku bantu abangi bati abakunyigiriza oyinza otya okubuuza nti, Ani ankutteko?"

Naye Yesu ne yeetoolooza amaaso ge mu bonna alabe oyo amukutteko. Awo omukazi bwe yategeera ekituuseewo n’ajja eri Yesu ng’atidde nnyo era ng’akankana, n’agwa awo mu maaso ga Yesu n’amutegeeza amazima gonna. Yesu n’agamba omukazi nti, "Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe obulwadde bwo buwonedde ddala."

6. Libertação do endemoninhado Gadareno

  • Referência: Marcos 5:1-20

  • Explicação: Jesus liberta um homem dominado por uma legião de espíritos. É a prova clara de sua autoridade absoluta sobre o reino das trevas.

Yesu Awonya Omusajja Eyaliko Baddayimooni

Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka emitala w’ennyanja mu nsi y’Abageresene. Yesu bwe yali yaakava mu lyato omuntu eyaliko omwoyo omubi n’ajja gy’ali ng’ava mu malaalo. Omuntu ono yasulanga mu malaalo era yali alaluse nnyo nga tewakyali na muntu asobola kumusiba. Emirundi mingi baagezangako okumussa ku mpingu n’okusiba amagulu ge n’enjegere naye byonna ng’abikutulakutula. Ne wataba na muntu w’amaanyi ayinza kumusiba kumunyweza. Naye bulijjo yatambulanga emisana n’ekiro mu malaalo ne mu nsozi. Yawowoggananga nga bw’akaaba era nga bwe yeesalaasala n’amayinja.

Awo bwe yalengera Yesu ng’akyali walako ku nnyanja n’adduka n’agenda eryato we lyagoba, n’asinza Yesu. N’aleekaana nnyo nti, "Onjagaza ki, ggwe Yesu, Omwana wa Katonda, Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayirira, olw’ekisa kya Katonda, tombonyaabonya." Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi okuva ku musajja.

Awo Yesu n’amubuuza nti, "Erinnya lyo ggw’ani?" N’addamu nti, "Erinnya lyange nze Ligyoni, kubanga tuli bangi." N’amwegayirira nnyo aleme okumugoba mu kitundu ekyo.

Awo waaliwo eggana ly’embizzi nnyingi nnyo ku lusozi nga zirya. Omwoyo omubi ne gwegayirira Yesu nti, "Tusindike mu mbizzi ziri." Yesu n’abakkiriza, ne bava ku musajja ne bayingira mu ggana ly’embizzi. Awo eggana ly’embizzi lyonna ne liserengetera ku kagulungujjo ne lyeyiwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo.

Awo abaali bazirunda ne badduka mangu ne bagenda bategeeze ab’omu kibuga ne mu byalo ebiriraanyeewo. Abantu bangi ne bajja okulaba ebibaddewo. Ekibiina ky’abantu ne kikuŋŋaana awali Yesu, naye bwe baalaba omusajja eyaliko ligyoni ng’ayambadde bulungi era ng’ategeera bulungi, ne batya nnyo.

Abo abaaliwo ne babategeeza ebyatuuka ku musajja eyaliko ddayimooni n’ebyatuuka ku mbizzi. Awo abantu ne batandika okwegayirira Yesu abaviire!

Yesu bwe yali ng’alinnya mu lyato, omusajja eyali abaddeko baddayimooni n’amwegayirira bagende bonna. Yesu n’atakkiriza, n’amugamba nti, "Ddayo ewammwe mu bantu bo obabuulire ebintu byonna Mukama by’akukoledde era nga bw’akusaasidde." Awo omusajja oyo n’agenda ng’atambula mu Dekapoli (ebibuga eby’omu kitundu ekyo) ng’abuulira abantu Katonda bye yali amukoledde byonna. Bonna abaabiwulira ne bawuniikirira nnyo.

7. Ressurreição da filha de Jairo

  • Referência: Marcos 5:21-43

  • Explicação: Jesus demonstra que a morte para Ele é como o sono. Ele restaura a vida de uma criança, trazendo esperança para uma família desesperada.

Omuwala Eyali Afudde, n’Omukazi Omulwadde

Awo Yesu n’awunguka mu lyato nate n’atuuka emitala w’ennyanja. Abantu bangi ne bakuŋŋaanira w’ali ku lubalama lw’ennyanja. Omukulu w’ekkuŋŋaaniro erinnya lye Yayiro n’ajja n’agwa w’ali, n’amwegayirira nnyo ng’agamba nti, "Muwala wange abulako katono okufa. Nkwegayiridde jjangu omukwateko omuwonye."

Awo Yesu n’agenda naye n’ekibiina ky’abantu kinene ne kimugoberera nga bagenda bamunyigiriza. Mu kibiina omwo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi n’ebiri nga mulwadde ekikulukuto ky’omusaayi. Yali yeewuubye mu basawo bangi abaamujanjabanga okumala emyaka egyo gyonna; ne byonna bye yalina nga bimuweddeko, obulwadde ne butawona wabula okweyongera obweyongezi. Yali awulidde ebikwata ku Yesu. Bw’atyo n’ajja nga yeenyigiriza mu kibiina ky’abantu n’atuuka emabega wa Yesu, n’akoma ku kyambalo kye. Kubanga yagamba mu mutima gwe nti, "Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nzija kuwona." Awo olwakikomako, amangwago ekikulukuto ky’omusaayi ne kikalira n’ategeerera ddala ng’awonye.

Amangwago Yesu n’awulira ng’amaanyi agamuvuddemu, n’akyukira ekibiina ky’abantu n’abuuza nti, "Ani akutte ku kyambalo kyange?"

Naye abayigirizwa be ne bamuddamu nti, "Ku bantu abangi bati abakunyigiriza oyinza otya okubuuza nti, Ani ankutteko?"

Naye Yesu ne yeetoolooza amaaso ge mu bonna alabe oyo amukutteko. Awo omukazi bwe yategeera ekituuseewo n’ajja eri Yesu ng’atidde nnyo era ng’akankana, n’agwa awo mu maaso ga Yesu n’amutegeeza amazima gonna. Yesu n’agamba omukazi nti, "Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe obulwadde bwo buwonedde ddala."

Naye yali akyayogera n’omukazi ababaka ne batuuka nga bava mu maka g’omukulu w’ekuŋŋaaniro, ne babikira Yayiro nti, "Omuwala afudde, noolwekyo tekikyetaagisa kuteganya Muyigiriza."

Yesu n’awulira ebigambo ebyayogerwa wabula n’agamba omukulu w’ekkuŋŋaaniro nti, "Totya, ggwe kkiriza bukkiriza."

Awo Yesu n’aziyiza ekibiina kyonna okugenda naye, okuggyako Peetero ne Yakobo ne Yokaana muganda wa Yakobo. Bwe baatuuka mu nju y’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’alaba okwaziirana ng’abantu bakaaba nga bakuba ebiwoobe. Bwe yayingira mu nju n’agamba abantu nti, "Mwaziiranira ki n’okukuba ebiwoobe? Omwana tafudde naye yeebase bwebasi!" Awo abantu bonna ne bamusekerera nnyo.

Naye n’abagamba bonna bafulume mu nju. N’atwala abazadde b’omwana n’abayigirizwa be abasatu n’ayingira nabo mu kisenge omwana mwe yali. Yesu n’akwata omwana ku mukono n’amugamba nti, "Talisa kumi!" amakulu nti, "Omuwala golokoka!" Amangwago omuwala eyali aweza emyaka kkumi n’ebiri, n’ayimirira n’atambulatambula. Abaaliwo ne bawuniikirira nnyo. Naye Yesu n’abakuutira nnyo baleme okubuulirako omuntu yenna. Awo n’abalagira bawe omwana ekyokulya.

8. Jesus anda sobre as águas

  • Referência: Mateus 14:22-33

  • Explicação: Ao caminhar sobre o Mar da Galileia, Jesus mostra que não está sujeito às leis da física. O episódio também serve para tratar a fé e a dúvida no coração de Pedro.

Yesu Atambulira ku Mazzi

Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale eryato bagende emitala w’ennyanja, ye asigale ng’akyasiibula abantu. Bwe yamala okusiibula ekibiina n’ayambuka ku lusozi yekka okusaba. Obudde ne buziba ng’ali eyo yekka. Eryato abayigirizwa mwe baali bwe lyatuuka ebuziba, omuyaga mungi ne gubafuluma mu maaso eryato ne lyesunda.

Awo ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro, Yesu n’ajja gye bali ng’atambula ku nnyanja. Naye abayigirizwa bwe baamulaba ng’atambulira ku nnyanja ne batya, nga balowooza nti muzimu.

Awo amangwago Yesu n’abagamba nti, "Mugume, Nze nzuuno temutya."

Peetero n’amugamba nti, "Obanga ye ggwe ddala Mukama waffe, ndagira nange nzije gy’oli nga ntambulira ku mazzi."

Yesu n’amuddamu nti, "Kale jjangu." Peetero n’ava mu lyato n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu.

Naye Peetero bwe yalaba omuyaga ogw’amaanyi, n’atya n’atandika okusaanawo, n’akoowoola Yesu nti, "Mukama wange, ndokola!"

Amangwago Yesu n’agolola omukono gwe n’amukwata, n’amugamba nti, "Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusizzabuusizza?"

Bwe baalinnya mu lyato omuyaga gwonna ne guggwaawo. N’abo abaali mu lyato ne bamusinza nga bagamba nti, "Ddala ddala oli Mwana wa Katonda!"

9. Cura do paralítico

  • Referência: Marcos 2:1-12

  • Explicação: Jesus cura o corpo, mas primeiro perdoa os pecados. Este milagre estabelece que sua missão principal é a reconciliação espiritual do homem com Deus.

Yesu Awonya Omulwadde w’Olukonvuba

Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi Yesu n’akomawo mu kibuga Kaperunawumu, ne kiwulirwa nti ali ka. Abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne wataba kafo wayinzika kuyisibwa kigere ku mulyango; n’ababuulira Enjiri. Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ng’asituliddwa abasajja bana. Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olw’ekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ng’ali ku katanda ke. Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omulwadde eyali akoozimbye nti, "Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa." Naye abamu ku bannyonnyozi b’amateeka abaali batudde awo nga balowooza ku bintu bino mu mitima gyabwe ne boogera nti, "Ono ayinza atya okwogera bw’atyo? Avvodde! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?" Amangwago Yesu n’amanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka n’ababuuza nti, "Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe? Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule? Naye mmwe okusobola okutegeera ng’Omwana w’Omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;" n’agamba eyali akoozimbye nti, "Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo." Awo omusajja n’asituka, amangwago n’asitula akatanda ke n’afuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, "Kino tetukirabangako."

10. Ressurreição de Lázaro

  • Referência: João 11:1-44

  • Explicação: O milagre mais impactante antes da crucificação. Ao ressuscitar alguém morto há quatro dias, Jesus declara: "Eu sou a ressurreição e a vida".

Okufa kwa Laazaalo

Awo olwatuuka omuntu ayitibwa Laazaalo eyali e Besaniya n’alwala. Besaniya ky’ekibuga Maliyamu ne Maliza bannyina ba Laazaalo mwe baali. Maliyamu oyo ye yasiiga Mukama waffe amafuta ag’akaloosa ku bigere n’abisiimuuza enviiri ze. Awo Maliyamu ne Maliza ne batumira Yesu ne bamutegeeza nti, "Mukama waffe, mukwano gwo gw’oyagala ennyo mulwadde nnyo."

Naye Yesu bwe yakitegeera n’agamba nti, "Ekigendereddwa mu bulwadde buno si kufa, wabula kulaga kitiibwa kya Katonda, era n’okuweesa Omwana wa Katonda ekitiibwa." Yesu yali mukwano gwa Maliyamu ne Maliza ne Laazaalo, naye bwe yawulira nga Laazaalo alwadde n’ayongera n’asigala we yali n’amalawo ennaku endala bbiri nga tanagenda gye bali. Awo ennaku bbiri bwe zaayitawo n’agamba abayigirizwa be nti, "Tuddeyo e Buyudaaya."

Kyokka abayigirizwa be, ne bamugamba nti, "Labbi, mu nnaku ntono ezaakayita Abayudaaya baagezaako okukutta. Ate gy’odda?"

Yesu n’abaddamu nti, "Essaawa ez’emisana ziwera kkumi na bbiri, era omuntu bw’atambula emisana teyeesittala kubanga aba alaba. Wabula atambula ekiro ye yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye."

Bwe yamala okwogera ebyo n’abagamba nti, "Mukwano gwaffe Laazaalo yeebase, naye ŋŋenda kumuzuukusa."

Abayigirizwa ne bamugamba nti, "Mukama waffe oba yeebase anaazuukuka." Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Laazaalo, kyokka bo abayigirizwa be ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo.

Awo n’alyoka abategeereza ddala nti, "Laazaalo afudde. Naye ku lw’obulungi bwammwe, nsanyuse kubanga ssaaliyo, mulyoke mukkirize; kale mujje tugende gy’ali."

Awo Tomasi eyayitibwanga Didumo n’agamba banne nti, "Ka tugende tufiire wamu naye."

Bwe baatuuka e Besaniya Yesu n’asanga nga Laazaalo yaakamala ennaku nnya mu ntaana. Besaniya kyali kumpi ne Yerusaalemi, kilomita nga ssatu. Abayudaaya bangi baali bazze okukubagiza Maliza ne Maliyamu olw’okufiirwa mwannyinaabwe. Maliza bwe yawulira nti Yesu ajja, n’agenda okumusisinkana, kyokka Maliyamu n’asigala mu nnyumba ng’atudde. Awo Maliza n’agamba Yesu nti, "Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde. Era kaakano mmanyi nti buli ky’onoosaba Katonda, ajja kukikuwa."

Yesu n’agamba Maliza nti, "Mwannyoko ajja kuzuukira."

Maliza n’amuddamu nti, "Mmanyi nti alizuukira ku lunaku olw’enkomerero."

Yesu n’amugamba nti, "Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu, na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?"

Maliza n’amugamba nti, "Mukama wange nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, ajja mu nsi."

Awo Maliza bwe yamala okwogera ebyo, n’ava eri Yesu n’agenda eri Maliyamu n’amuzza ku bbali mu kyama ng’agamba nti, "Omuyigiriza azze, akuyita." Maliyamu olwawulira ekyo n’asitukiramu n’agenda eri Yesu. Yesu yali akyali mu kifo Maliza we yamusisinkana nga tannatuuka mu kibuga. Abayudaaya abaali bazze okukubagiza abaali mu nnyumba ne Maliyamu bwe baamulaba ng’ayimiridde mangu ng’afuluma ne bamugoberera ne balowooza nti agenda ku ntaana akaabire eyo.

Maliyamu bwe yatuuka awali Yesu n’afukamira ku bigere bye, nga bw’agamba nti, "Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde."

Yesu bwe yamulaba ng’akaaba era n’Abayudaaya abaali naye nga bakaaba n’anyolwa mu mutima, n’ajjula obuyinike. N’abuuza nti, "Mwamuteeka wa?"

Ne bamugamba nti, "Mukama waffe jjangu olabeyo."

Yesu n’akaaba amaziga.

Awo Abayudaaya ne bagamba nti, "Ng’abadde amwagala nnyo!"

Naye abamu ku bo ne bagamba nti, "Ono eyazibula amaaso ga muzibe, lwaki teyaziyiza musajja ono kufa?"

Yesu Azuukiza Laazaalo

Awo Yesu ne yeeyongera okujjula obuyinike. N’atuuka ku ntaana. Yali mpuku ng’eggaliddwawo n’ejjinja. Yesu n’agamba nti, "Muggyeewo ejjinja."

Naye Maliza, mwannyina w’omufu, n’amugamba nti, "Kaakano awunya nnyo, kubanga yaakamala ennaku nnya mu ntaana."

Yesu n’amuddamu nti, "Saakugambye nti bw’onokkiriza onoolaba ekitiibwa kya Katonda?"

Ne baggyawo ejjinja. Awo Yesu n’atunula waggulu n’agamba nti, "Kitange nkwebaza olw’okumpulira. Mmanyi nti bulijjo ompulira, naye kino nkyogedde olw’abantu bano abayimiridde wano, balyoke bakkirize nti ggwe wantuma."

Bwe yamala okwogera bw’atyo, n’akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, "Laazaalo fuluma." Awo Laazaalo n’ava mu ntaana, ng’amagulu ge n’emikono bizingiddwa mu ngoye eziziikibwamu abafu, nga n’ekiremba kisibiddwa ku maaso ge.

Yesu n’abagamba nti, "Mumusumulule atambule."

Conclusão

Os milagres de Jesus revelam sua autoridade sobre a natureza, as enfermidades, o mundo espiritual e até a morte. Eles não são apenas demonstrações de poder, mas sinais que apontam para sua identidade e missão.

Ao estudar esses milagres, é possível compreender melhor o papel de Jesus e a mensagem central do Evangelho.

Se este conteúdo ajudou você a entender os milagres de Jesus na Bíblia, compartilhe este artigo para que mais pessoas também conheçam esses ensinamentos.

Edineia Fernandes
1 pessoa deu Amém