A fé vem pelo ouvir
A fé vem pelo ouvir, e o ouvir pela Palavra de Cristo. Quando a Palavra é proclamada, a fé nasce nos corações. Ouvir a Deus é o primeiro passo para crer e seguir.
A fé vem pelo ouvir
A fé vem pelo ouvir, e o ouvir pela Palavra de Cristo. Quem ouve a Palavra crê e obtém a salvação eterna.
Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka. Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, "Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi." Naye si bonna abaagondera Enjiri. Isaaya agamba nti, "Mukama, waliwo akkirizza obubaka bwaffe?" Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo.
Kino kyokka kye njagala muntegeeze; mwaweebwa Mwoyo lwa bikolwa eby’amateeka, nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza?
Nammwe, Kristo yabaleeta eri amazima, kye kigambo eky’Enjiri ey’okulokolebwa kwammwe. Bwe mwamukkiriza, ne muteekebwako envumbo eya Mwoyo Mutukuvu eyasuubizibwa, gwe musingo gw’obusika bwaffe, okutuusa bw’alinunula abantu be, ne Katonda n’agulumizibwa era n’atenderezebwa.
"Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu.
Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu.
Tewali ayinza kujja gye ndi wabula nga Kitange eyantuma amuyise, era Nze ndimuzuukiza ku lunaku olw’enkomerero. Kubanga kyawandiikibwa mu bannabbi nti, ‘Bonna baliyigirizibwa Katonda.’ Era buli gw’ayigiriza n’ategeera amazima ajja gye ndi. Si kuba nti waliwo eyali alabye ku Kitange, wabula oyo eyava eri Katonda, ye yalaba Kitaawe. Ddala ddala mbagamba nti, Akkiriza aba n’obulamu obutaggwaawo!
Ouvir e obedecer
Felizes os que ouvem a Palavra de Deus e a praticam. Quem tem ouvidos ouça o que o Espírito diz.
Naye Yesu n’addamu nti, "Weewaawo, naye balina omukisa abo bonna abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera."
Alina amatu agawulira awulire.
N’abagamba nti, "Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna.
Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti,
" ‘Muliwulira naye temulitegeera
n’okulaba muliraba naye temulimanya.
Kubanga omutima gw’abantu bano
gwesibye,
n’amatu gaabwe tegawulira bulungi.
N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu,
wadde omutima gwabwe okutegeera,
ne bakyuka
ne mbawonya.’
Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba, n’amatu gammwe kubanga gawulira.
Yesu n’ayita ekibiina n’abagamba nti, "Mumpulirize era mutegeere.
Mumpulirize mujje gye ndi.
Muwulirize mubeere balamu;
nnaabakolera endagaano ey’olubeerera,
era egyo gy’emikisa gyange n’okwagala bye nasuubiza Dawudi.
Nayogera nti, "Genda obuulire abantu bano nti,
" ‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga,
n’okulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’
Okakanyaze omutima gw’abantu bano,
oggale amatu gaabwe,
n’amaaso gazibe
si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe
oba okuwulira n’amatu gaabwe
oba okutegeera n’emitima gyabwe
ne bakyuka bawonyezebwe."
nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, n’okutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa.