A última palavra vem do Senhor
A última palavra pertence ao Senhor. Os planos do homem estão sujeitos à soberania de Deus. Ele rege toda a história e nenhum de seus propósitos pode ser frustrado.
Mukama Agera Ekkubo ly’Omuntu
Omuntu ateekateeka by’ayagala okukola mu mutima gwe,
Naye okuddamu kuva eri Mukama.
Mukama buli kimu akikola ng’alina ekigendererwa,
n’abakozi b’ebibi y’abakolera olunaku lwe batuukibwako ebizibu.
Katonda si muntu, nti ayinza okulimba,
oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye.
Ayogera n’atakola?
Asuubiza n’atatuukiriza?
Mukama n’agamba Musa nti, "Omukono gwa Mukama Katonda guyimpawadde? Kaakano ojja kulaba obanga ekigambo kyange kye nkugambye kinaatuukirira oba tekiituukirire."
bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri;
tekiriddayo bwereere,
naye kirikola ekyo kye njagala
era kirituukiriza ekyo kye nakituma.
"Nze Mukama, Katonda w’abantu bonna. Eriyo ekinnema?
"Mmanyi ng’oyinza okukola ebintu byonna,
era tewali kyotegeka kyonna kiyinza kuziyizibwa.
Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
mu ggulu ne ku nsi;
mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa.
Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo."
Ekiseera kyakyo kituuse era kirituukirira, bw’ayogera Mukama Katonda. Luno lwe lunaku lwe nayogerako.
Mumanyidde ku ki ebigenda okubaawo enkya oba obulamu bwammwe bwe bunaaba? Kubanga ebbanga lye mumala nga muli balamu liri ng’olufu olulabika ate mangwago ne lubula. Kino kye musaanira okwogera nti, "Katonda bw’anaaba ng’asiimye tuliba balamu ne tukola kino oba kiri."