Publicidade

Admiração

Por Bíblia Online

O temor do Senhor é o princípio da sabedoria. A admiração reverente por Deus é a postura que produz conhecimento, obediência e bênção na vida do crente.

Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,

naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.

"Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,

era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.

Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi,

n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.

Okuba n’akatono ng’otya Mukama,

kusinga okuba n’ebingi naye ng’oli mu mitawaana.

Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi;

nkyawa amalala n’okwemanya,

n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.

Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu

y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.

Amagezi go tegakusigulanga,

naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.

Onoofunanga obulamu mu mubiri gwo

n’amagumba go ne gadda buggya.

Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa,

naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.

Kale byonna biwuliddwa;

eno y’enkomerero yaabyo:

Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge,

kubanga ekyo omuntu ky’agwanira okukola.

Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera

era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.

Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.

Mutendereze Mukama!

Alina omukisa omuntu atya Katonda,

era asanyukira ennyo mu mateeka ge.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

Balina omukisa abatya Katonda;

era abatambulira mu makubo ge.

Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;

abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,

Katonda anaatuwanga omukisa;

n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.

Naye mmwe abatya erinnya lyange, enjuba ey’obutuukirivu eribaviirayo ng’erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo. Mulifuluma ne muligita ng’ennyana ez’omu kiraalo.

Ebikulu Katonda bye Yeetaaga

Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna, n’okugonderanga amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye, nga bwe nkukuutira leero olw’obulungi bwo?

Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga.

Olwokubanga abazaalisa bassangamu Katonda ekitiibwa, nga bamutya, n’abawa ezzadde.

Abaagalwa, nga bwe tulina ebisuubizo ng’ebyo, twetukuze mu buli kintu ekyonoona omubiri n’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.

Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, n’owempooza mumuwenga empooza; n’oyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, n’oyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa.

Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe

tafaayo kutya Ayinzabyonna.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-