Pular para o conteúdo
Publicidade

Agradecimento pela vida

Por Bíblia Online

Agradecer pela vida é reconhecer que cada respiração é dom de Deus. Toda criatura que tem fôlego louve ao Senhor — porque Ele nos formou e nos sustenta com amor.

Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!

Mutendereze Mukama.

Tendereza Mukama!

Tendereza Mukama ggwe emmeeme yange!

Nnaatenderezanga Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange;

nnaayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyali mulamu.

Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;

ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.

Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;

emirimu gyo gya kyewuunyo;

era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.

Wammanya nga ntondebwa,

bwe nakolerwa mu kyama;

bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.

Wandaba nga si natondebwa.

Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera

zawandiikibwa mu kitabo kyo.

Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;

nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.

Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;

kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.

Mumanye nga Mukama ye Katonda;

ye yatutonda, tuli babe,

tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.

Muyingire mu miryango gye nga mwebaza,

ne mu mpya ze n’okutendereza;

mumwebaze mutendereze erinnya lye.

Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.

Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa

baddukira mu biwaawaatiro byo.

Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;

obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.

Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,

era gw’otwakiza omusana.

Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama,

kubanga wannyimusa;

n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.

Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe,

n’omponya.

Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe,

n’omponya ekinnya.

Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;

nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.

Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.

Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.

Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.

Emikisa mu Kristo

Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, atuwadde mu Kristo buli mukisa gwonna ogw’omwoyo oguva mu ggulu.

Katonda yeebazibwe olw’ekirabo ekitayogerekeka.

nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu ab’obwakabaka obw’ekitangaala. Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.

Obulamu bwa Kristo

Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo. Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba ab’obuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe. Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa.

Awo bw’onoolyanga n’okkuta, weebazenga Mukama Katonda wo olw’okukuwa ensi ennungi bw’etyo.

Mukama watunula mu nsonga yange,

era n’onunula obulamu bwange.

Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo,

ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe.

Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya,

Ayi Mukama Katonda wange.

"Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika

ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda.

Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka

mu yeekaalu yo entukuvu.

Seja o primeiro