Agradecimento
O agradecimento é a linguagem natural do cristão. Em tudo dai graças! A gratidão a Deus transforma a perspectiva, fortalece a fé e produz alegria em todos os tempos.
Dar graças sempre
Em tudo dai graças, porque esta é a vontade de Deus em Cristo Jesus para convosco. A gratidão é atitude fundamental.
Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu.
Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.
Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.

Munyiikirirenga mu kusaba, nga temuddirira, wabula nga mwebazanga
Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga.
Louvor e gratidão
Entrai pelas portas com ação de graças. Rendei graças ao Senhor porque Ele é bom e a sua bondade dura para sempre.
Muyingire mu miryango gye nga mwebaza,
ne mu mpya ze n’okutendereza;
mumwebaze mutendereze erinnya lye.
Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Tujje mu maaso ge n’okwebaza;
tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.
Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;
era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.
Kirungi okwebazanga Mukama,
n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
Oyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza,
era ateekateeka ekkubo
ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda."
Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.
Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Kale nno, Katonda waffe, tukwebaza
era tutendereza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
Expressões de gratidão
Graças a Deus pelo seu dom inefável! A gratidão se expressa em oração, louvor e generosidade para com os outros.
Katonda yeebazibwe olw’ekirabo ekitayogerekeka.
Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.
Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.
Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw’ekisa kya Katonda ekyabaweebwa mu Kristo Yesu,
Okusooka neebaza nnyo Katonda wange ku lwammwe mwenna, ku bwa Yesu Kristo, olw’okukkiriza kwammwe okunywevu okwogerwako mu nsi yonna.
Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza.
Kubanga byonna biva gy’ali, era biyita mu ye era bidda gy’ali.
Ekitiibwa kibe gy’ali emirembe gyonna. Amiina.
" ‘Mukama Katonda akuwe omukisa,
akukuume;
Mukama Katonda akwakize amaaso ge
akukwatirwe ekisa;
Mukama Katonda akwolekeze amaaso ge
akuwe emirembe.’
Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza,
ndikuwa ssaddaaka.
Ddala ndituukiriza obweyamo bwange
kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda."
Kitugwanidde okwebazanga Katonda bulijjo ku lwammwe abooluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kweyongedde nnyo okukula, awamu n’okwagalana kwammwe mwekka na mwekka,
Neebaza Katonda gwe mpeereza mu mwoyo omulungi nga bajjajjange bwe baakola, nga nkujjukira obutayosa mu kusaba kwange emisana n’ekiro.
sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira
Kale, nga bwe twaweebwa obwakabaka obutanyeenyezebwa, tusinze Katonda nga bw’asiima nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya.
Tukwebaza nnyo olwa bino byonna by’otukoledde.
Yesu bwe yabalaba n’abagamba nti, "Mugende mweyanjule eri bakabona." Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu.
Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye n’akomawo eri Yesu nga bw’aleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda. N’agwa wansi ku bigere bya Yesu ng’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.
Yesu n’agamba nti, "Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa? Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka y’akomyewo?" Awo Yesu n’amugamba nti, "Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza."
Awo bwe yayingira mu kabuga akamu, abasajja kkumi nga bonna bagenge ne bajja okumusisinkana. Ne bayimirira walako ne bakoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka nti, "Yesu, Mukama waffe, tukwatirwe ekisa!"
Yesu bwe yabalaba n’abagamba nti, "Mugende mweyanjule eri bakabona." Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu.
Omu ku bo bwe yalaba ng’awonye n’akomawo eri Yesu nga bw’aleekaanira waggulu ng’atendereza Katonda. N’agwa wansi ku bigere bya Yesu ng’amwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.
Yesu n’agamba nti, "Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa? Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka y’akomyewo?" Awo Yesu n’amugamba nti, "Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza."
Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira,