Publicidade

Ajuda ao próximo

Por Bíblia Online

Ajudar o próximo é mandamento de Deus e expressão prática da fé. A Bíblia ensina que a fé sem obras é morta — e que servir ao menor dos irmãos é servir a Cristo.

Kubanga nnali muyala ne mundiisa, nnali muyonta ne mumpa ekyokunywa, nnali mugenyi ne munnyaniriza, nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.

"Abatuukirivu ne bamubuuza nti, Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala ne tukuliisa? Oba ng’olina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa? Oba ng’oli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ng’oli bwereere, ne tukwambaza? Twakulaba ddi ng’oli mulwadde oba ng’oli mu kkomera ne tukulambula?

"Kabaka, alibaddamu nti, Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!

Akusaba omuwanga, n’oyo ayagala okukwewolako tomukubanga mabega."

Kale nammwe ebikolwa byammwe ebirungi byakirenga abantu bonna, babirabenga, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.

Mugabenga nammwe muliweebwa. Ekigera ekirungi ekikattiddwa, ekisuukundiddwa, eky’omuyiika kiribakwasibwa. Kubanga ekigera kye mugereramu nammwe mwe muligererwa."

Ekibiina ne kimumubuuza nti, "Kale tukole ki?"

Yokaana n’abaddamu ng’agamba nti, "Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, n’oyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya."

Mutunde ebintu byammwe, ensimbi ze muggyamu muzigabire abo abeetaaga, mwetungire ensawo ezitakaddiwa era mweterekere mu ggulu mu tterekero eritaggwaamu bintu, omubbi gy’atasembera wadde ennyenje gye zitayonoonera. Kubanga obugagga bwo gye buli, n’omutima gwo gye gunaabeeranga.

Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala.

Tewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.

Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola n’amaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate n’okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ "

Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’afukamira n’asaba nabo bonna. Buli omu n’akaaba nnyo amaziga, ne bamugwa mu kifuba okumusiibula, nga banakuwavu, naye okusinga byonna olw’ekigambo kye yayogera nti, Tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako ne bamutuusa ku kyombo.

Mufengayo ku byetaago by’abantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.

Temwesanyusa Mwekka

Ffe abanywevu kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw’abo abatali banywevu, so si okwesanyusa ffekka.

Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo.

Abadde omubbi alekeraawo okubba, wabula anyiikirenga okukola eby’omugaso ng’akola n’emikono gye, alyoke afune ky’agabirako n’abo abeetaaga.

nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.

Okukkiriza n’Ebikolwa Ebirungi

Abooluganda, kibagasa ki okugamba nti mulina okukkiriza kyokka ng’okukkiriza kwammwe temukwoleka mu bikolwa? Mulowooza ng’okukkiriza ng’okwo kugenda kubalokola? Singa muganda wo oba mwannyoko takyalina kyakwambala wadde ekyokulya, naye omu ku mmwe n’amugamba nti, "Genda mirembe, obugume, era olye bulungi", naye nga tamuwaddeeyo byetaago bya mubiri, olwo kimugasa ki? Noolwekyo n’okukkiriza bwe kutyo; bwe kutabaako bikolwa kuba kufu.

Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye?

Oyo akwatirwa omwavu ekisa awola Mukama,

era Mukama alimusasula olw’ekikolwa kye ekyo.

Olwokubanga mu nsi temuubulengamu baavu abali mu kwetaaga, kyenva nkulagira nti muganda wo omwavu era ali mu kwetaaga omwanjululizanga engalo zo bulijjo mu nsi yo.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-