Aniversario de casamento
O aniversário de casamento celebra a fidelidade de Deus na jornada do casal. Cada ano juntos é testemunho da graça divina que sustenta o amor na vida a dois.
Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
tusanyuke tulujagulizeeko.
Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe,
tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.
Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange
erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.
nga tebakyali babiri naye omuntu omu.’ Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga."
Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza. Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo. Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima. Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.
Okwebaza
Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw’ekisa kya Katonda ekyabaweebwa mu Kristo Yesu,
Ng’olabika bulungi wenna, omwagalwa wange,
toliiko bbala na limu.
Ndi wa muganzi wange,
era naye anjagala nnyo.
Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala
n’emigga tegiyinza kukumalawo.
Singa omuntu awaayo
obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,
asekererwa nnyo.
Abemikwano
Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.
Okwebaza n’Okusaba Katonda
Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira,