Aniversário de idoso
O aniversário de um idoso é celebração de uma vida longa e cheia de experiências com Deus. A Bíblia honra os cabelos brancos como coroa de glória e prova da fidelidade divina.
Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
tusanyuke tulujagulizeeko.
Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera,
akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
Mukama ge maanyi gange,
era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange
erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.
Olindaga ekkubo ery’obulamu;
w’oli we wanaabanga essanyu erijjuvu,
era mu mukono gwo ogwa ddyo nga mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna.
Ekintu kimu kye nsaba Mukama,
era ekyo kye nnoonya:
okubeeranga mu nnyumba ya Mukama
ennaku zonna ez’obulamu bwange,
ne ndabanga obulungi bwa Mukama,
era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe,
tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.
Omutwe ogw’envi ngule ya kitiibwa,
gufunibwa abo abatambulira mu bulamu obutuukirivu.
Amaanyi kye kitiibwa ky’abavubuka,
envi kye kitiibwa ky’abakadde.
Naye abo abalindirira Mukama
baliddamu buggya amaanyi gaabwe,
balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;
balidduka mbiro ne batakoowa,
balitambula naye ne batazirika.
"Era kaakano Mukama ampangaazizza nga bwe yayogera emyaka gino amakumi ana okuva lwe yakigamba Musa, nga Isirayiri etambula mu ddungu. Era laba kaakano ndi wa myaka kinaana! Nkyalina amaanyi leero nga ge nalina Musa bwe yantuma, amaanyi ge nnina leero galinga ge nalina mu kulwana, mu kufuluma ne mu kuyingira.
" ‘Mukama Katonda akuwe omukisa,
akukuume;
Mukama Katonda akwakize amaaso ge
akukwatirwe ekisa;
Mukama Katonda akwolekeze amaaso ge
akuwe emirembe.’
Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bw’oli mu mwoyo.