Arca da aliança
A Arca da Aliança era o símbolo mais sagrado de Israel — representava a presença de Deus no meio do seu povo. Sobre ela brilhava a glória do Senhor entre os querubins.
"Bakole essanduuko mu muti gwa akasiya, obuwanvu mita emu ne sentimita kkumi na ssatu, obugazi sentimita nkaaga mu musanvu n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. Ogiteekeko zaabu omuka ennyo munda ne kungulu, era ogyetoolooze omuge ogwa zaabu. Ogiweeseze empeta nnya eza zaabu ozisibe ku magulu gaayo ana, ng’empeta ebbiri ziri ku ludda olumu, n’endala ebbiri ku ludda lwayo olulala. Obajje emisituliro mu muti ogwa akasiya, ogibikkeko zaabu. Ogisonseke mu mpeta eziri ku ssanduuko, okusituzanga essanduuko. Emisituliro egyo ginaalekebwanga mu mpeta ze ssanduuko, si zaakuggyangamu. Mu ssanduuko omwo mw’onossa Amateeka ge nnaakuwa.
"Okolereko ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, nga kya zaabu omuka ennyo; obuwanvu bwakyo sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. Era okolereko ebifaananyi bya bakerubi babiri mu zaabu empeese, ku njuyi ebbiri ez’ekisaanikira. Oteeke ekifaananyi kya kerubi omu ku ludda lumu olw’ekisaanikira, n’ekifaananyi kya kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga ebifaananyi bya bakerubi byombi byekutte wamu n’ekisaanikira. Ebiwaawaatiro bya bakerubi bibe bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikiriza ekisaanikira. Bakerubi batunulagane nga boolekedde ekisaanikira. Ekisaanikira onookissa kungulu ku Ssanduuko; ekiwandiiko eky’Endagaano ey’Amateeka kye nnaakuwa, okisse munda mu Ssanduuko.
Awo waggulu w’ekisaanikira, mu bakerubi bombi abali ku Ssanduuko ey’Endagaano, we nzija okukusisinkana ndyoke nkuwe ebiragiro byange byonna bye nkoledde abaana ba Isirayiri.
Awo Bezaaleeri n’akola Essanduuko mu muti gwa akasiya; ng’obuwanvu bwayo mita emu ne desimoolo emu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugulumivu nabwo sentimita nkaaga mu musanvu.
Awo Mukama n’agamba Musa nti, "Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye kw’olisimbira Eweema ya Mukama, Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Essanduuko ey’Endagaano oligiyingiza mu Weema; Essanduuko n’olyoka ogisiikiriza n’eggigi.
N’addira Endagaano, ey’ebipande eby’amayinja okwasalibwa Amateeka Ekkumi, n’agiteeka munda mu Ssanduuko ey’Endagaano, n’assa emisituliro ku Ssanduuko ey’Endagaano, n’assaako kungulu ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira; n’ayingiza Essanduuko ey’Endagaano munda mu Weema ya Mukama, n’atimbawo eggigi, n’asiikiriza Essanduuko ey’Endagaano, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Awo Musa bwe yayingira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu okwogera ne Mukama, n’awulira eddoboozi nga lyogera gy’ali nga liva wakati wa bakerubbi ababiri abali waggulu w’entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano. Bw’atyo Mukama bwe yayogera naye.
Awo ne basitula okuva ku lusozi lwa Mukama Katonda ne batambulira ennaku ssatu. Essanduuko ya Mukama ey’Endagaano n’ebakulemberanga okumala ennaku ezo essatu ng’ebanoonyeza ekifo eky’okuwummuliramu. Buli lwe baasitulanga okutambula nga bava mu lusiisira, ekire kya Mukama Katonda kyabeeranga waggulu waabwe buli budde bwa misana.
Buli abeetissi b’Essanduuko ya Mukama Katonda lwe baasitulanga okutambula, Musa n’agamba nti,
"Golokoka, Ayi Mukama!
Abalabe bo basaasaane;
amaggye agakulwanyisa gakudduke."
Buli Ssanduuko ya Mukama Katonda lwe yawummuzibwanga, Musa n’agamba nti,
"Komawo, Ayi Mukama,
eri enkumi n’enkumi eza Isirayiri."
Awo Mukama n’agamba Musa nti, "Tegeeza abaana ba Isirayiri baleete emiggo kkumi n’ebiri nga gireetebwa abakulembeze baabwe mu buli kika, omuggo gumu buli kika. Owandiike erinnya lya buli musajja ku muggo gwe gw’aleese. Wandiika erinnya lya Alooni ku muggo oguvudde mu kika kya Leevi. Kubanga buli mukulembeze w’ekika ky’obujjajja ajja kubeera n’omuggo ggumu. Olyoke ogiteeke mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso g’Essanduuko ey’Endagaano, we mbasisinkana. Kale nno omuggo gw’oyo gwe nnaalonda gujja kutojjera; bwe ntyo nzija kusirisa okukwemulugunyiza kuno okutatadde okw’abaana ba Isirayiri."
Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri; abakulembeze baabwe ne bamuleetera emiggo, buli mukulembeze omuggo gumu gumu, ng’ebika by’obujjajjaabwe bwe byali, okugatta gyonna gy’emiggo kkumi n’ebiri, nga n’omuggo gwa Alooni mwe guli. Musa n’ateeka emiggo egyo mu maaso ga Mukama Katonda mu Weema ya Mukama ey’Endagaano.
Awo bwe bwakya enkya Musa n’ayingira mu Weema ya Mukama awali Essanduuko ey’Endagaano, era laba, ng’omuggo gwa Alooni ow’omu kika kya Leevi nga gutojjedde nga guliko n’obutabi obuto, nga gutaddeko n’ebibala ebyengedde. Musa n’afulumya emiggo gyonna ng’agiggya mu maaso ga Mukama Katonda, n’agireeta awali abaana ba Isirayiri; ne bagitunuulira, buli omu n’aggyawo omuggo gwe.
Mukama Katonda n’agamba Musa nti, "Omuggo gwa Alooni guzzeeyo awali Essanduuko ey’Endagaano gukuumirwenga awo ng’akabonero ak’okulabulanga abajeemu. Ekyo kinaasirisa okunneemulugunyiza, balyoke bawone okufa." Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira.
Awo Abayisirayiri ne basimbula weema zaabwe okusomoka Yoludaani nga bakulembeddwamu bakabona abasitudde Essanduuko y’Endagaano. Omugga Yoludaani gwanjaala mu kiseera eky’amakungula kyonna. Mu kiseera ekyo bakabona abasitudde Essanduuko we baalinnyira ebigere byabwe ku Yoludaani. Amangwago amazzi agaali gakulukuta ne gayimirira ne geetuuma eri ewala okuliraana ekibuga Adamu ku ludda lwa Zaresaani. N’ago agaali gaserengeta okweyiwa mu Araba Ennyanja ey’Omunnyo ne gasalikako, abantu ne basomokera Yoludaani ku ttaka ekkalu, mu maaso ga Yeriko. Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama ne bayimirira wakati mu Yoludaani awatakyali mazzi okutuusa Abayisirayiri bonna lwe baasomoka.
Bakabona abasitula Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama olwalinnya ebigere byabwe ku lukalu, amazzi gonna aga Yoludaani ne gakomawo mu kkubo lyago n’okwanjaala ne ganjaala nga bulijjo.
Ekibuga Yeriko kyali kigaddwawo ng’enzigi zonna zisibiddwa be gulugulu olw’okutya Abayisirayiri era nga tewali afuluma wadde ayingira. Mukama n’agamba Yoswa nti, "Laba, Yeriko ne kabaka waakyo n’abasajja baamu bakirimaanyi mbawaddeyo mu mukono gwammwe. Basajja bammwe abalwanyi bonna bajja ku kyetooloolanga omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. Bakabona musanvu bajja kwambaliranga amakondeere agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume, nga bakulembedde Essanduuko. Ku lunaku olw’omusanvu balyetooloola ekibuga emirundi musanvu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe. Olunaawulira amakondeere nga gavuga, Abayisirayiri bonna baleekaanire waggulu era amangwago ekisenge kya bbugwe ekyetoolodde kineegonnomola wansi; amangwago Abayisirayiri bonna beefubitike ekibuga."
Bw’atyo Yoswa mutabani wa Nuuni n’ayita bakabona n’abagamba nti, "Musitule Essanduuko ey’Endagaano ne bakabona musanvu bakulembere Essanduuko ya Mukama nga bambalidde amakondeere musanvu agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume." N’alagira Abayisirayiri nti, "Mweyongere mu maaso, mwetooloole ekibuga abalina ebyokulwanyisa nga bakulembeddemu Essanduuko ya Mukama."
Awo Abayisirayiri ne baleekaana nnyo, amakondeere bwe gaavuga. Amangu ennyo ng’amakondeere gakavuga Abayisirayiri ne boogera n’eddoboozi ery’omwanguka, era ekisenge kya bbugwe ekyebunguludde ekibuga Yeriko ne kyegonnomola wansi. Awo ne bayingira ne bakiwamba.
Abafirisuuti ne basimba ennyiriri okulumba Abayisirayiri ne bayungula eggye lyabwe okulumba; olutalo bwe lwanyiinyiitira, Abayisirayiri ne bawangulibwa, era enkumi nnya ku bo ne battibwa. Abalwanyi bwe baddayo mu nkambi, abakadde ba Isirayiri ne beebuuzaganya nti, "Lwaki Mukama alese Abafirisuuti okutuwangula leero? Tuleete essanduuko ya Mukama ey’endagaano okuva e Siiro, tugende nayo etuwonye amaanyi g’abalabe baffe."
Awo abantu ne batuma abasajja e Siiro, ne baggyayo essanduuko ey’endagaano ya Mukama Ayinzabyonna, atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati mu bakerubi. Batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi nabo ne bagenda n’essanduuko ya Katonda ey’endagaano.
Essanduuko ya Mukama ey’endagaano bwe yatuuka mu nkambi ey’Abayisirayiri, bonna ne baleekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka, n’ettaka ne liyuuguuma. Awo Abafirisuuti bwe baawulira oluyoogaano ne beebuuza nti, "Oluyoogaano olwo lwonna mu nkambi ey’Abaebbulaniya lutegeeza ki?"
Bwe baategeera nti essanduuko ya Mukama ereeteddwa mu nkambi, Abafirisuuti ne batya. Ne boogera nti, "Lubaale azze mu nkambi. Tufudde! Tewabangawo kigambo ekifaanana bwe kityo. Zitusanze! Ani ayinza okutuwonya balubaale bano ab’amaanyi? Bano be balubaale abaabonyaabonya Abamisiri n’endwadde n’ebibonoobono ebya buli ngeri mu ddungu. Abafirisuuti, mugume omwoyo, mube basajja. Bwe kitaabe bwe kityo munaaba baddu b’Abaebbulaniya nga bo bwe babadde abaweereza bammwe. Mube basajja mulwane."
Abafirisuuti ne beerwanako ne bawangula Abayisirayiri. Buli Muyisirayiri n’addukira mu nsiisira ye. Ne waba okuttibwa kunene nnyo, Abayisirayiri ne bafiirwa abaserikale abaatambuzanga ebigere emitwalo esatu. Essanduuko ya Katonda n’ewambibwa, era ne batabani ba Eri bombi, Kofuni ne Finekaasi ne battibwa.
Omukono gwa Mukama ne gubonereza abantu b’e Asudodi n’emiriraano, n’abaleetako entiisa era ne bakwatibwa ebizimba. Awo abantu b’e Asudodi bwe baalaba ebyabatuukako ne boogera nti, "Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri teteekwa kusigala wano naffe, kubanga omukono gwe gutuliko era guli ne ku lubaale waffe Dagoni." Ne bakuŋŋaanya abakungu bonna ab’Abafirisuuti ne bababuuza nti, "Tunaakola tutya essanduuko ya Katonda wa Isirayiri?" Ne baddamu nti, "Essanduuko ya Katonda wa Isirayiri etwalibwe e Gaasi." Awo ne batwala eyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri.
Naye bwe baagituusa eyo, omukono gwa Mukama ne gulwana n’ekibuga ekyo, ne waba okutya kungi nnyo nnyini mu batuuze b’ekibuga ekyo. Abakulu n’abato n’abaleetako ebizimba ku bitundu byabwe eby’ekyama. Kyebaava baweereza essanduuko ya Katonda mu Ekuloni.
Naye essanduuko ya Katonda bwe yali ng’eneetera okutuuka mu Ekuloni, Abaekuloni ne bakaaba nga boogera nti, "Batuleetedde essanduuko ya Katonda wa Isirayiri, okututta n’abantu baffe." Awo ne bakuŋŋaanya abakungu bonna ab’Abafirisuuti, ne babagamba nti, "Muzzeeyo essanduuko ya Katonda wa Isirayiri mu kifo kyayo, ereme kututta ffe n’abantu baffe." Omukono gwa Katonda gwali gubazitooweredde nnyo era nga bajjudde entiisa ey’okufa.
Awo essanduuko ya Mukama bwe yali yakamala emyezi musanvu mu nsi y’Abafirisuuti, Abafirisuuti ne batumya bakabona n’abafumu, ne bababuuza nti, "Tukolere ki essanduuko ya Mukama? Mututegeeze bwe tuba tugizzaayo mu kifo kyayo."
Ne baddamu nti, "Bwe muba muzzaayo essanduuko ya katonda wa Isirayiri, temugiweereza awatali kirabo, naye mufuba okumuweereza ekiweebwayo olw’omusango. Olwo nno lwe munaawona, era munaabikulirwa kyeyavudde ababonereza."
Ne bakola bwe batyo. Ne baddira ente bbiri ezaakazaala, ne baziggyako ennyana zaazo ne bazisiba ku kigaali. Ne bateeka essanduuko ya Mukama ku kigaali n’ekisanduuko ekyalimu emmese eza zaabu n’ebibumbe eby’ebizimba okugiriraana. Ente ne zigenda butereevu mu kkubo erigenda e Besusemesi, nga zigenda zikaaba, ne zitakyama ku mukono ogwa ddyo newaakubadde ogwa kkono. Abakulembeze b’Abafirisuuti ne bazigoberera okutuukira ddala ku nsalo ey’e Besusemesi.
Ebiro ebyo byali bya makungula era Ababesusemesi baali bakungula eŋŋaano yaabwe mu kiwonvu. Bwe balengera essanduuko ne basanyuka okugiraba. Ekigaali ne kituukira mu nnimiro ya Yoswa ow’e Besusemesi ne kiyimirira omwo okumpi n’awali ejjinja eddene. Abantu ne bayasa embaawo ez’ekigaali, ente ne baziwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. Abaleevi). Abaleevi bokka be baali bakkirizibwa okutambuza Essanduuko ya Mukama (Ma 10:8) ne batwala essanduuko ya Mukama, n’ekisanduuko ekyalimu ebibumbe ebya zaabu, ne babiteeka ku jjinja eddene. Awo ku lunaku olwo abantu b’e Besusemesi ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka eri Mukama.
Awo abantu b’e Kiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi. Ne bayawula Eriyazaali mutabani we okuvunaanyizibwa essanduuko ya Mukama yasigalayo okutuusa Dawudi lwe yagizzaayo e Yerusaalemi (2Sa 6:2-3).
Essanduuko n’emala mu Kiriyasuyalimu ebbanga ddene, eryawerera ddala emyaka amakumi abiri, era abantu b’ennyumba ya Isirayiri bonna baali banakuwavu era nga banoonya Mukama.
Awo Dawudi n’ategeezebwa nti, "Ennyumba ya Obededomu n’ebintu bye byonna biweereddwa omukisa olw’essanduuko ya Katonda." Dawudi n’agenda n’aggyayo essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n’agireeta mu kibuga kya Dawudi ng’ajaguza. Abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baatambula ebigere mukaaga n’awaayo ente ennume n’ennyana ensava nga ssaddaaka. Dawudi ng’ayambadde olugoye olwa linena, n’azinira mu maaso ga Mukama n’amaanyi ge gonna. Dawudi n’ennyumba ya Isirayiri yonna ne baleeta essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu, era nga bafuuwa n’amakondeere.
Awo Sulemaani n’ayita abakadde ba Isirayiri, n’abakulu b’ebika bonna, n’abaami b’ennyumba za Isirayiri bonna, okuggya essanduuko ey’endagaano ya Mukama mu Sayuuni ekibuga kya Dawudi, okugireeta e Yerusaalemi. Bonna ne bakuŋŋaanira ewa Kabaka Sulemaani ku mbaga mu mwezi ogwa Esanimu gwe mwezi ogw’omusanvu.
Abakadde bonna aba Isirayiri bwe baatuuka, bakabona ne basitula essanduuko, ne bagireeta, ne baleeterako n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebintu byonna ebitukuvu ebyalimu. Bakabona n’Abaleevi ne babisitula, Kabaka Sulemaani n’abo abaali awamu naye, n’eggwanga lyonna erya Isirayiri eryali liri naye mu maaso g’essanduuko, ne bawaayo ebiweebwayo ebya ssaddaaka eby’endiga, n’ente, ebitaamanyibwa muwendo.
Bakabona ne bayingiza essanduuko ey’endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, mu kisenge eky’omunda, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi. Ebiwaawaatiro bya bakerubi byali byanjuluze ku kifo essanduuko we yateekebwa, ne bibikka ku ssanduuko ne ku misituliro gyayo. Emisituliro gino gyali miwanvu nnyo nga n’okulabika girabikira mu kifo ekitukuvu mu maaso g’ekisenge ekitukuvu ennyo, naye nga tegirabika okuva ebweru; era gikyaliyo ne leero. Temwali kintu mu ssanduuko okuggyako ebipande ebibiri eby’amayinja Musa bye yateekamu e Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n’abaana ba Isirayiri, nga bavudde mu nsi y’e Misiri.
Awo bakabona bwe baava mu kifo ekitukuvu, ekire ne kibuna yeekaalu ya Mukama, bakabona n’okuyinza ne batayinza kuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kibunye mu yeekaalu.
"Mukomeewo mmwe abaana abanvaako," bw’ayogera Mukama; "kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni. Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera. Ennaku bwe zirituuka nga mwaze era nga muli bangi nnyo mu nsi," bw’ayogera Mukama, "abantu baliba tebakyayogera ku Ssanduuko y’Endagaano. Baliba tebakyagirowooza nako, okugijjukira; oba okulumwa emitima olw’obutaba nayo wadde okukola endala.
Endagaano ey’olubereberye, yalina amateeka agaalagirwa ag’okusinzanga Katonda, era waaliwo n’eweema entukuvu ey’oku nsi. Mu weema eno mwalimu ebisenge bibiri. Mu kisenge ekisooka nga mwe muli ekikondo ekya zaabu eky’ettaala, n’emmeeza okwabeeranga emigaati emyawule, ekisenge kino kyayitibwanga Ekifo Ekitukuvu. Era waaliwo olutimbe olwokubiri ng’emabega waalwo we wali ekifo ekiyitibwa Awatukuvu w’Awatukuvu. Mu kifo ekyo mwalimu ekyoterezo ky’obubaane ekya zaabu, n’essanduuko ey’endagaano, eyabikkibwako zaabu ku buli ludda. Mu ssanduuko nga mulimu ekibya ekya zaabu ekyalimu emmaanu, n’omuggo gwa Alooni nga gutojjedde, n’ebipande eby’amayinja eby’Amateeka Ekkumi eby’endagaano. Ku kisaanikira ky’essanduuko nga kuliko bakerubbi ab’ekitiibwa nga basiikirizza entebe ey’okusaasira; ebintu ebyo tetuyinza kubyogerako kaakano kinnakimu.
Awo Yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu n’eggulwawo, n’essanduuko ey’endagaano n’erabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa n’okubwatuka kw’eggulu n’omuzira omungi ogw’amaanyi era ensi yonna n’ekankanyizibwa musisi ow’amaanyi ennyo.