Publicidade

Bíblia

Por Bíblia Online

A Bíblia é a Palavra de Deus — viva, eficaz e mais cortante que espada de dois gumes. Toda Escritura é inspirada por Deus e útil para ensinar, repreender, corrigir e instruir em justiça.

Inspiração divina

Toda Escritura é inspirada por Deus. Homens santos falaram da parte de Deus movidos pelo Espírito Santo.

Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula ow’amagezi, n’olokolebwa olw’okukkiriza Kristo Yesu. Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

Okusooka mukimanye nga buli bunnabbi obuli mu byawandiikibwa, tewali ayinza kubunnyonnyola ku bubwe yekka. Kubanga bannabbi tebaayogeranga byabwe ku bwabwe, wabula baategeezanga ebyo Katonda bye yabalagiranga nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabibawanga.

Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, ng’oli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo ery’obubaka obw’amazima.

buuliranga ekigambo kya Katonda, ng’oli mwetegefu mu kiseera ekituufu n’ekitali kituufu, ng’olaga ebikwekeddwa, ng’onenya, ng’ozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, n’okubonaabona okungi, n’okuyigiriza.

Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu n’okubuuliriranga, n’okuyigiriza okutuusa lwe ndijja.

Poder da Palavra

A Palavra de Deus é viva e eficaz. O céu e a terra passarão, mas as minhas palavras jamais passarão.

Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima.

Eggulu n’ensi biriggwaawo naye ebigambo byange tebiriggwaawo."

Naye Yesu n’amuddamu nti, "Kyawandiikibwa nti: Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ "

Era ng’enkuba bwetonnya

n’omuzira ne gugwa okuva mu ggulu

n’ebitaddayo,

wabula ne bifukirira ettaka, ebirime ne bikula,

ne bimerusa ensigo z’omusizi,

era ne biwa omuli emmere,

bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri;

tekiriddayo bwereere,

naye kirikola ekyo kye njagala

era kirituukiriza ekyo kye nakituma.

Obatukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima.

Munoonya mu Byawandiikibwa kubanga mulowooza nti muyinza okubifuniramu obulamu obutaggwaawo. Kyokka Ebyawandiikibwa ebyo bye binjulira.

Naye ekigambo kya Mukama Katonda kibeerera emirembe gyonna."

Era ekigambo ekyo y’Enjiri eyababuulirwa.

Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?

Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.

Ebigambo byo byonna bya mazima meereere;

n’amateeka go ga lubeerera.

ש Sini ne Sikini

Estudar e pregar

Os bereanos examinavam as Escrituras diariamente. Procura apresentar-te a Deus aprovado como obreiro que maneja bem a Palavra.

Abayudaaya b’omu Beroya baali balungi okusinga ab’e Sessaloniika, ne bawuliriza bulungi n’essanyu Ekigambo ekyababuulirwa. Buli lunaku nga babikkula Ebyawandiikibwa okunoonyaamu ebyo Pawulo ne Siira bye baayogerangako bakakase nti bya mazima.

Pawulo, ng’empisa ye bwe yali, n’agenda n’ababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu. N’abannyonnyola era n’abalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona n’okuzuukira mu bafu, era nti, "Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira."

Firipo n’adduka n’atuuka ku ggaali, n’awulira Omwesiyopya ng’asoma mu kitabo kya nnabbi Isaaya. N’amubuuza nti, "By’osoma obitegeera?"

Omwesiyopya n’addamu nti, "Nnaabitegeera ntya nga sirina abinnyinnyonnyola?" N’asaba Firipo ayingire mu ggaali lye batuule bombi.

Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti:

"Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa.

Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya,

naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.

Awo Firipo n’atandika n’Ekyawandiikibwa ekyo n’amubuulira Enjiri ya Yesu Kristo.

Ezera yali amaliridde mu mutima gwe okusoma n’okukuuma Etteeka lya Mukama, era n’okuyigirizanga amateeka n’ebiragiro byalyo mu Isirayiri.

Yesu n’abagamba nti, "Nga muli bantu basirusiru! Mmwe ab’emitima eminafu egirwawo okukkiriza bannabbi bye baategeeza! Tekyagwanira Kristo okubonaabona mu bintu byonna n’oluvannyuma alyoke ayingire mu kitiibwa kye?" N’atandikira ku Musa n’ayitaayita mu bannabbi bonna ng’agenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.

Awo Yesu n’asemberera abayigirizwa be n’abategeeza nti, "Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu. Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo."

Mugende mubabuulire nti, Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.

Revelação e fidelidade

A Palavra do Senhor veio aos profetas. A graça de Deus se manifestou na Escritura para a salvação de todos.

Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti,

Buno bwe bubaka bwa Mukama obwajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.

Ekigambo kya Mukama kyajjira Yeremiya nti,

Buno bwe bubaka Mukama bwe yawa Malaki abutuuse eri abaana ba Isirayiri.Mukama

Ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya nate nti,

Awo Ekigambo kya Katonda ne kijja eri Isaaya,

Amawulire Amalungi ag’Obulokozi

Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,

kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,

antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.

Okulangirira eddembe eri abawambe,

n’abasibe bateebwe

bave mu makomera.

Okulangirira omwaka gwa Mukama

ogw’okulabiramu obulungi bwe;

olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga

era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.

Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga,

okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu,

n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku.

Ekyambalo ky’okutendereza

mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa

balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama,

balyoke baweebwe ekitiibwa.

Viver pela Palavra

Não só de pão vive o homem. Nada acrescentes nem diminuas. A Palavra é alimento, guia e espada do cristão.

Buli kigambo kya Katonda kya mazima,

era aba ngabo eri abo abamwesiga.

Toyongeranga ku bigambo bye,

alemenga okukunenya naawe olabike ng’omulimba.

Ntegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.

Tewali Njiri Ndala

Naye mbeewuunya kubanga mukyuka mangu okuva ku oyo, eyabayita olw’ekisa kya Kristo, naye ne mukyuka mangu okugoberera Enjiri endala. Kubanga tewali njiri ndala, wabula mwawubisibwa abaagala okunyoola n’okukyusa Enjiri ya Kristo. Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bw’abuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga. Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bw’ababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga.

Kyokka mulowoozenga ku kubonyaabonyezebwa okw’obulokozi bwa Mukama waffe, nga ne muganda waffe omwagalwa Pawulo kye yabategeeza mu bbaluwa ze yabawandiikira mu magezi Katonda ge yamuwa. Weewaawo ebbaluwa ze zirimu bingi ebizibu okutegeera, kyokka buli lw’awandiika aba ayogera ku nsonga ezo; wabula bo abatamanyi era abatali banywevu babinnyonnyola nga bwe bannyonnyola ebyawandiikibwa ebirala ne beereetako okuzikirira.

Kubanga ebyawandiikibwa byonna edda, byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tugumiikirizenga era tuzzibwemu amaanyi, ate tube n’essuubi.

Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, "Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi." Naye si bonna abaagondera Enjiri. Isaaya agamba nti, "Mukama, waliwo akkirizza obubaka bwaffe?" Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo.

Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya n’eri Omunnamawanga. Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa. Obutuukirivu obwo butuweebwa olw’okukkiriza, olw’okukkiriza kwokka, nga bwe kyawandiikibwa nti, "Abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza."

Era kaakano ffe tetwafuna mwoyo wa ku nsi, wabula Omwoyo eyava eri Katonda, tulyoke tumanye ebintu Katonda bye yatuwa obuwa, era ne mu bigambo bye twogera so si mu kuyigirizibwa okw’amagezi g’abantu, naye mu bigambo Omwoyo by’ayigiriza, ebintu eby’Omwoyo nga bikwatagana n’ebyOmwoyo. Omuntu obuntu tasobola kufuna bintu bya Mwoyo wa Katonda, kubanga busirusiru gy’ali, era tasobola kubimanya, kubanga bikeberwa Mwoyo.

Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ng’ensi teyinza kumumanya ng’eyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bw’okubuulira Enjiri okulokola abakkiriza.

Kubanga Abayudaaya banoonya bubonero, Abayonaani bo ne banoonya amagezi, naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru, naye eri abaayitibwa, Abayudaaya n’Abamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda.

Kristo teyantuma kubatiza wabula yantuma kubuulira Njiri. Era sigibuulira mu magezi ga bigambo bugambo, si kulwa ng’omusaalaba gwa Kristo gumalibwamu amaanyi gaagwo.

Naye mwe muli kika kironde, bakabona bw’obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza n’abayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-