Buscar a Deus
Buscar a Deus é o chamado mais urgente da Bíblia. Buscai primeiro o Reino de Deus. Os que buscam de todo coração encontram — porque Ele se deixa encontrar pelos que o procuram.
Buscai ao Senhor
Buscai ao Senhor enquanto se pode achar. Buscai e achareis. O Senhor recompensa os que o buscam com diligência.
Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika,
mumukaabirire nga bw’akyali okumpi.
Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika,
mumukaabirire nga bw’akyali okumpi.
Mukama n’alyoka agamba nti,
"Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya.
Neeraga abo abaali tebannoonya.
Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’
Awa amaanyi abazirika,
n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
Abavubuka bazirika, bakoowa,
n’abalenzi bagwira ddala.
Naye abo abalindirira Mukama
baliddamu buggya amaanyi gaabwe,
balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;
balidduka mbiro ne batakoowa,
balitambula naye ne batazirika.
Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge;
munoonye amaaso ge ennaku zonna.
Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge;
munoonye amaaso ge ennaku zonna.
"Era Sulemaani mutabani wange tegeera Katonda wa kitaawo, omuweerezenga n’omutima gumu n’emmeeme yo yonna, kubanga Mukama akebera emitima, era ategeera okufumiitiriza okw’ebirowoozo. Bw’onoomunoonyanga, onoomulabanga, naye bw’onoomulekanga, anaakuvangako emirembe gyonna.
abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetowazanga, ne basaba, ne banoonya amaaso gange, ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amakyamu, kale nnaawuliranga nga nsinziira mu ggulu ne nsonyiwa ekibi kyabwe era ne mponya ensi yaabwe.
n’agenda n’asisinkana Asa n’amugamba nti, "Mumpulirize, mmwe Asa, ne Yuda ne Benyamini mwenna, Mukama ali nammwe bwe muba mu ye. Bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga, naye bwe munaamulekuliranga naye anaabalekuliranga.
Awo Omwoyo wa Katonda n’akka ku Azaliya mutabani wa Obedi, n’agenda n’asisinkana Asa n’amugamba nti, "Mumpulirize, mmwe Asa, ne Yuda ne Benyamini mwenna, Mukama ali nammwe bwe muba mu ye. Bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga, naye bwe munaamulekuliranga naye anaabalekuliranga. Isirayiri yamala ebbanga ddene nga tegondera Katonda ow’amazima, nga tebalina kabona abayigiriza, wadde okuba n’amateeka. Naye wakati mu nnaku yaabwe ne bakyukira Mukama Katonda wa Isirayiri, ne bamunoonya, era ne bamulaba. Mu biro ebyo tewaali mirembe abantu okutambula nga bwe baayagalanga, kubanga baali mu kweraliikirira kungi nnyo. Amawanga n’amawanga gaalwanagananga, n’ebibuga ne birumbagananga kubanga Katonda yabaleetako ebizibu bingi nnyo. Naye mmwe mugume omwoyo! Temuganya mikono gyammwe kunafuwa kubanga omulimu gwammwe guliko empeera."
Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n’ebyobunnabbi bwa Azaliya mutabani wa Obedi, n’aguma omwoyo, n’aggyawo ebifaananyi ebyole okuva mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini, n’okuva mu bibuga bye yali awambye mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. N’addaabiriza ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso g’ekisasi ekya yeekaalu ya Mukama. N’akuŋŋaanya aba Yuda n’aba Benyamini bonna, n’abantu b’e Efulayimu, n’e Manase, n’e Simyoni abaabeeranga nabo, kubanga bangi basenga gyali okuva mu Isirayiri bwe baalaba nga Mukama Katonda ali wamu naye.
Ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogwokusatu mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’obufuzi bwa Asa. Ku lunaku olwo ne bawaayo eri Mukama ebimu ku by’omunyago: ente lusanvu, n’endiga n’embuzi zonna kasanvu. Ne beeyama okunoonyanga Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe, n’omutima gwabwe gwonna, n’emmeeme yaabwe yonna. Era abo bonna abatanoonyanga Mukama, Katonda wa Isirayiri battibwanga, oba bato oba bakulu, oba bakazi oba basajja. Ne balayirira Mukama mu ddoboozi ery’omwanguka, wamu n’okufuuwa amakondeere n’eŋŋombe. Yuda yonna ne basanyukira ekirayiro ekyo, kubanga baali balayidde n’omutima gwabwe gwonna, era nga bamunoonyezza n’okwagala kwabwe kwonna, ne bamulaba. Era Mukama n’abawa emirembe enjuuyi zonna.
Kabaka Asa n’agoba jjajjaawe Maaka ku bwannamasole kubanga yali akoze ekifaananyi ekyole ekya Asera. Asa n’akitemaatema n’akimenyaamenya, n’akyokera mu kagga Kidulooni. Newaakubadde nga teyaggyawo bifo ebigulumivu mu Isirayiri, Asa yamalirira mu mutima gwe okunywerera ku Mukama ennaku ze zonna. Mu yeekaalu ya Mukama n’aleetamu effeeza ne zaabu, n’ebintu ye ne kitaawe bye baawonga.
Ne wataba ntalo nate okumala emyaka amakumi asatu mu etaano egy’obufuzi bwa Asa.
De todo o coração
Buscar-me-eis e me achareis quando me buscardes de todo o coração. O Senhor é bom para os que o buscam.
"Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya n’omutima gwammwe gwonna.
"Mulinnoonya ne mundaba bwe mulinnoonya n’omutima gwammwe gwonna.
"Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?" bw’ayogera Mukama.
Naye ng’oli eyo, bw’onoonoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga n’omutima gwo gwonna awamu n’omwoyo gwo gwonna.
Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
tonzikiriza kuva ku mateeka go.
Emmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala;
onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
Era nnaatambulanga n’emirembe,
kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.
Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
mumunoonyenga ennaku zonna.
Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
mumunoonyenga ennaku zonna.
Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, "Munnoonye, munsinze."
Omutima gwange ne guddamu nti, "Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama."
Ayi Katonda, oli Katonda wange,
nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
emmeeme yange ekwetaaga,
omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,
nga nnina ennyonta ng’ali
mu nsi enkalu omutali mazzi.
Buscar e encontrar
Pedi e dar-se-vos-á. O Senhor está perto de todos os que o invocam em verdade. Quem o busca não ficará insatisfeito.
"Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo.
"Bwe ntyo mbagamba nti, musabe munaaweebwa, munoonye mulizuula, mukonkone era munaggulirwawo. Kubanga buli asaba, aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, era n’oyo akonkona aggulirwawo.
"Bwe ntyo mbagamba nti, musabe munaaweebwa, munoonye mulizuula, mukonkone era munaggulirwawo.
Naye munoonye obwakabaka bwe, n’ebintu ebyo mulibyongerwako.
Kubanga Omwana w’Omuntu, yajjirira kunoonya n’okulokola abaabula."
Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
kubanga abakunoonya tobaleka bokka.
Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
kubanga abakunoonya tobaleka bokka.
Nanoonya Mukama, n’annyanukula;
n’ammalamu okutya kwonna.
Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;
naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
Sanyukiranga mu Mukama,
anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.
Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi
ng’asinziira mu ggulu,
okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,
era abanoonya Katonda.
Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
n’otegeera byonna ebiri munda yange.
Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
Ayi Katonda wa Yakobo.
Força na busca
Buscai o bem e não o mal. Sede fortalecidos no Senhor. A busca por Deus traz renovação e plenitude de vida.
Bw’ati bw’ayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti,
"Munnoonye kale munaabanga balamu.
Bw’ati bw’ayogera Mukama eri ennyumba ya Isirayiri nti,
"Munnoonye kale munaabanga balamu.
Munoonyenga okukola obulungi, so si obubi
munaabeeranga balamu!
Bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye anaabeeranga mubeezi wammwe
nga bulijjo bwe mumuyita.
Nsaba Katonda oyo akola eby’ekitalo era agulumizibwa, agumyenga era anywezenga omuntu wammwe ow’omunda, olw’Omwoyo we,
Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge.
Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke,
Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.
Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era n’abo abamunoonya n’obwesigwa abawa empeera.
Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era n’abo abamunoonya n’obwesigwa abawa empeera.
Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bw’alimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero z’ensi."
Mukama Katonda wa Isirayiri gwe weeyuna wansi w’ebiwaawaatiro bye, akusasule olw’ebyo by’okoze. MukamaKatonda wa Isirayiri, oyo gwe weewagamye wansi w’ebiwawaatiro bye, akuwe empeera ennene ddala."
Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, n’ayuzaayuza empologoma n’emikono gye ng’ayuzaayuza akabuzi akato, naye n’atabaako ky’ategeeza kitaawe newaakubadde nnyina.
Awo Samusooni n’asaba eri Mukama ng’agamba nti, "Mukama Katonda onzijukire kaakano, ompe amaanyi. Omulundi guno gwokka, ayi Katonda mpalane eggwanga ku Bafirisuuti olw’amaaso gange abiri."
Kirungi okwesiga Mukama
okusinga okwesiga omuntu.
Kirungi okuddukira eri Mukama
okusinga okwesiga abalangira.
Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi,
era aganja eri Mukama.
Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo,
bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso,
n’essuubi lyo teririkoma.