Publicidade

Casamento

Por Bíblia Online

O casamento é aliança sagrada instituída por Deus. Ele une marido e mulher em uma só carne — pacto de amor, fidelidade e companheirismo que reflete o amor de Cristo pela Igreja.

Fundamento divino

Não é bom que o homem esteja só. Deus criou o casamento como aliança de companheirismo, amor e fecundidade.

Mukama Katonda n’ayogera nti, "Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira."

Mukama Katonda n’aleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzaawo ennyama. Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera.

Omusajja n’agamba nti,

"Lino lye ggumba ery’omu magumba gange,

ye nnyama ey’omu nnyama yange,

anaayitibwanga mukazi;

kubanga aggyibbwa mu musajja."

Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.

Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.

Omusajja n’omukazi baali tebambadde, naye nga tewali akwatirwa munne nsonyi.

Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.

Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera.

Omusajja n’agamba nti,

"Lino lye ggumba ery’omu magumba gange,

ye nnyama ey’omu nnyama yange,

anaayitibwanga mukazi;

kubanga aggyibbwa mu musajja."

Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.

Awo Katonda n’agamba nti, "Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe mu ngeri yaffe. Bafugenga ebyennyanja eby’omu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, n’ensolo zonna, n’ensi yonna, era bafugenga na buli ekyewalulira ku nsi kyonna."

Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye,

mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera;

n’abatonda omusajja n’omukazi.

Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, "Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi."

Kayini ne Aberi

Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, "Mukama annyambye nzadde omuntu."

Okuzaalibwa kwa Seezi

Awo Adamu n’amanya mukazi we, n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, "Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta."

Fidelidade conjugal

O que Deus ajuntou não separe o homem. O casamento deve ser honrado e o leito matrimonial preservado sem impureza.

nga tebakyali babiri naye omuntu omu.Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga."

Yesu n’abaddamu nti, "Temusomanga nti, Okuva ku lubereberye Katonda yatonda omusajja n’omukazi, era nti, Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we. Nabo banaabanga omuntu omu, nga tebakyali babiri naye omuntu omu.Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga."

era nti, Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina, ne yeegatta ne mukazi we. Nabo banaabanga omuntu omu, nga tebakyali babiri naye omuntu omu.Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga."

Kyagambibwa nti, Buli anaagobanga mukazi we, anaawanga omukazi oyo ebbaluwa ey’okumugoba. Naye mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we wabula olw’obwenzi anaabanga amwenzesezza, n’oyo anaawasanga omukazi gwe bagobye anaabanga ayenze."

Etteeka ly’Obwenzi

"Mwawulira bwe kyagambibwa nti, Toyendanga! Naye mbagamba nti Buli muntu atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.

Ne bamuddamu nti, "Musa yawa omusajja olukusa okuwandiikira mukyala we ebbaluwa emugoba."

Yesu n’abagamba nti, "Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, kyeyava abawandiikira etteeka lino. Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja n’omukazi. Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n’agenda n’agattibwa ne mukazi we. Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu. Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga."

N’omukazi bw’ayawukananga ne bba n’afumbirwa omusajja omulala naye aba ayenze."

Obufumbo mubussangamu ekitiibwa n’ebirayiro byabwo, kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga.

Obufumbo mubussangamu ekitiibwa n’ebirayiro byabwo, kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga.

Obufumbo mubussangamu ekitiibwa n’ebirayiro byabwo, kubanga abakaba n’abenzi Katonda alibasalira omusango, ne gubasinga.

Amor como Cristo

Maridos, amai vossas mulheres como Cristo amou a igreja. O amor conjugal reflete o evangelho em ação.

Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye,

Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye, alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde.

Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye, alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde. N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye, kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.

N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka.

N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye, kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.

Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.

Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo.

Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.

Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye, alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde. N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye, kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. "Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu." Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti kyogera ku Kristo n’Ekkanisa ye. Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.

"Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu."

Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.

Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.

Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe.

Submissão e respeito

Mulheres, sujeitem-se aos próprios maridos. Maridos, convivam com as esposas com conhecimento e honra.

Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.

Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.

Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.

N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.

Amateeka g’Omu Nnyumba z’Abakristaayo

Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.

Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.

Obulamu obw’Edda n’Obulamu Obuggya

Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala.

Nammwe abasajja abafumbo, mutegeere nga bakazi bammwe banafu, noolwekyo mubakwatenga n’obwegendereza. Era mubassengamu ekitiibwa nga mumanyi nga nabo Katonda alibaweera wamu nammwe, obulamu obutaggwaawo. Bwe munaakolanga bwe mutyo okusaba kwammwe tekuziyizibwenga.

Nammwe abasajja abafumbo, mutegeere nga bakazi bammwe banafu, noolwekyo mubakwatenga n’obwegendereza. Era mubassengamu ekitiibwa nga mumanyi nga nabo Katonda alibaweera wamu nammwe, obulamu obutaggwaawo. Bwe munaakolanga bwe mutyo okusaba kwammwe tekuziyizibwenga.

Pureza no casamento

Não adulterarás. A impureza sexual destrói alianças e famílias. Deus chama à santidade no matrimônio.

Toyendanga.

Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno."

Naye olw’ebikolwa eby’obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we; era na buli mukazi abeerenga ne bba.

Omusajja ateekwa okutuukirizanga eby’obufumbo byonna eri mukazi we era n’omukazi bw’atyo. Kubanga omukazi bw’afumbirwa aba takyafuga mubiri gwe ye wabula bba, era n’omusajja bw’atyo aba takyafuga mubiri gwe ye wabula mukazi we y’aba agulinako obuyinza.

Omusajja ateekwa okutuukirizanga eby’obufumbo byonna eri mukazi we era n’omukazi bw’atyo. Kubanga omukazi bw’afumbirwa aba takyafuga mubiri gwe ye wabula bba, era n’omusajja bw’atyo aba takyafuga mubiri gwe ye wabula mukazi we y’aba agulinako obuyinza. Buli omu alemenga okumma munne wabula nga mulagaanye ekiseera mulyoke mufune ebbanga ery’okusabiramu n’oluvannyuma muddiŋŋanenga, Setaani aleme okubasuula olw’obuteefuga bwammwe.

Omusajja ateekwa okutuukirizanga eby’obufumbo byonna eri mukazi we era n’omukazi bw’atyo. Kubanga omukazi bw’afumbirwa aba takyafuga mubiri gwe ye wabula bba, era n’omusajja bw’atyo aba takyafuga mubiri gwe ye wabula mukazi we y’aba agulinako obuyinza. Buli omu alemenga okumma munne wabula nga mulagaanye ekiseera mulyoke mufune ebbanga ery’okusabiramu n’oluvannyuma muddiŋŋanenga, Setaani aleme okubasuula olw’obuteefuga bwammwe.

Naye njogera eri abo abatannawasa ne bannamwandu; kirungi okusigala nga bwe bali, era nga nze bwe ndi. Naye bwe baba tebasobola kwefuga bafumbirwe, oba bawase, kubanga okufumbiriganwa kisinga okwakiriranga okw’okwegomba.

Naye abafumbo mbawa etteeka eriva eri Mukama waffe: omukazi tanobanga ku bba. Singa baawukana, omukazi ateekwa kubeerera awo, oba si ekyo addeyo ewa bba basonyiwagane; n’omusajja tagobanga mukazi we.

Kubanga omusajja atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ng’ayambibwa mukyala we omukkiriza, oba omukyala atali mukkiriza ayinza okufuulibwa omukkiriza ng’ayambibwa bba omukkiriza. Kubanga bwe kitaba ekyo abaana bammwe banditwaliddwa ng’abatali balongoofu naye ku lw’ekyo abaana bammwe baba balongoofu.

Naye kye mbagaliza mmwe bwe buteraliikirira. Omusajja atali mufumbo yeemalira ku bya Mukama, engeri gy’asanyusa Mukama. Naye omufumbo yeeraliikirira bya nsi, nga bw’anaasanyusa mukazi we; aba yeesazeemu, ng’atta aga n’aga. N’omukazi atali mufumbo n’embeerera bafaayo ku bintu bya Mukama, babeerenga batukuvu mu mubiri ne mu mwoyo. Naye omukazi omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, engeri gy’anaasanyusaamu bba.

Omukazi omufumbo abeera kitundu kya bba, bba bw’aba akyali mulamu. Naye bba bw’afa olwo ayinza okufumbirwa omusajja omulala gw’ayagala, kyokka omusajja oyo ateekwa kuba mu Mukama waffe yekka.

Obufumbo

Kaakano ku bintu bye mwampandiikira, kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi. Naye olw’ebikolwa eby’obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we; era na buli mukazi abeerenga ne bba.

Mudduke obwenzi. Buli kibi omuntu ky’akola kiba ku mubiri, naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye yennyini. Oba temumanyi ng’omubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era n’emibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.

Ebyokulya bya lubuto, n’olubuto lwa byakulya. Naye byombi Katonda alibizikiriza. Omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama. Era Katonda eyazuukiza Mukama waffe alituzuukiza olw’amaanyi ge.

Oba temumanyi ng’abatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ng’abakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga, newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda.

Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza. Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo. Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima. Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.

Kale Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku musaalaba ku lwammwe? Oba mwabatizibwa mu linnya lya Pawulo? Neebaza Katonda kubanga nze sibatizanga muntu n’omu ku mmwe okuggyako Kulisupo ne Gaayo. Noolwekyo si kulwa nga wabaawo agamba nti mwabatizibwa mu linnya lyange. Naye nzijukira nga nabatiza ab’omu nnyumba ya Suteefana, naye sirowooza nga nabatiza omuntu omulala yenna. Kristo teyantuma kubatiza wabula yantuma kubuulira Njiri. Era sigibuulira mu magezi ga bigambo bugambo, si kulwa ng’omusaalaba gwa Kristo gumalibwamu amaanyi gaagwo.

Okugoba Owooluganda ow’Empisa Embi

Twategeezebwa nga mu mmwe mulimu obwenzi, ate obwenzi obutali na mu baamawanga, kubanga omuntu atwala muka kitaawe n’amufuula mukazi we. Mwekuluntazizza mu kifo ky’okwewombeeka. Oyo akola ekikolwa ng’ekyo eky’okwekuluntaza, tasaanye kuggyibwamu mu mmwe?

Sabedoria conjugal

Acha esposa, acha o bem. Bebe água da tua própria cisterna. A fidelidade conjugal é fonte de bênção permanente.

Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi,

era aganja eri Mukama.

Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi,

era aganja eri Mukama.

Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi,

era aganja eri Mukama.

Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde,

naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.

Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa,

era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.

Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,

leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.

Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,

n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;

naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa

era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.

Ebigere bye bituuka mu kufa,

ebisinde bye biraga emagombe.

Tafaayo ku kkubo lya bulamu,

amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.

Kaakano, batabani bange mumpulirize,

temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.

Mwewalenga omukazi oyo

era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;

si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe,

n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,

Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki,

n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;

naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa

era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.

Ebigere bye bituuka mu kufa,

ebisinde bye biraga emagombe.

Tafaayo ku kkubo lya bulamu,

amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.

Mwewalenga omukazi oyo

era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;

si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe,

n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,

ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza,

n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala.

Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda,

ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo.

Oligamba nti, "Nga nakyawa okulabulwa,

n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,

era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange,

wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.

Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira

nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina."

Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa,

leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.

Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi,

n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?

Bwe kityo bwe kiri eri omusajja agenda ne muka muliraanwa we,

buli akwata ku mukazi ng’oyo talirema kubonerezebwa olw’ekibi kye.

Naye buli ayenda ku mukazi talina magezi;

kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.

Naye buli ayenda ku mukazi talina magezi;

kubanga azikiririza ddala emmeeme ye ye.

Alifuna ebiwundu n’okunyoomebwa;

n’obuswavu tebulimusangulibwako.

Kubanga obuggya buleetera omusajja okuswakira,

era taliba na kisa n’akatono nga yeesasuza.

Talikkiriza mutango gwonna,

wadde okuwooyawooyezebwa enguzi ennene.

Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we,

naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.

Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye,

naye Mukama y’aluŋŋamya bw’anaatambula.

Okusula ku kasolya k’ennyumba,

kisinga okubeera mu nnyumba n’omukazi omuyombi.

Omukazi ow’Amagezi

Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?

Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.

Bíblia e casamento

Deus abomina o divórcio. A aliança matrimonial é reflexo da aliança de Deus com seu povo — sagrada e eterna.

Katonda teyabafuula omu mu mwoyo? Era lwaki yabafuula omu? Kubanga yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuume nnyo waleme kubaawo agoba mukazi we, era alimbalimba mukazi we ow’omu buvubuka bwe.

"Kubanga nkyawa abafumbo okwawukana," bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, "n’omusajja ajooga mukazi we," bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Kale mwekuumenga mu mwoyo gwammwe mubeerenga beesigwa.

Temwegattanga wamu n’abatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati w’obutuukirivu n’obujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza?

Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi, buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa, so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola.

Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna.

n’abenzi, n’abalya ebisiyaga, abagula n’abatunda abaddu, abalimba n’abalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu,

Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng’amanyi okuyigiriza.

Omudiikoni ateekwa okuba n’omukazi omu yekka, era ng’asobola okufuga obulungi abaana be, n’amaka ge.

Omuntu ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja alina omukazi omu, era nga n’abaana baabwe bakkiriza, nga tebalina kibi kiyinza kuboogerwako era nga tebeenyigira mu bikolwa bya buseegu oba mu bujeemu.

Amateeka Agatali Gamu

Omusajja bw’anaabanga yaakawasa taalondebwenga kugenda kutabaala oba okuweebwa omulimu omulala omunene ng’ogwo. Anaasigalanga mu maka ge okumala ebbanga lya mwaka mulamba ng’asanyusa mukazi we gw’anaabanga awasizza.

Amateeka g’Ebyobufumbo

Omusajja bw’anaawasanga omukazi, naye oluvannyuma n’amukyawa, kubanga amuvumbuddeko ebitamusanyusa, bw’atyo n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye,

Amateeka ag’Enkolagana y’Abasajja n’Abakazi

Omusajja bw’aneewasizanga omukazi, kyokka oluvannyuma lw’okusula naye, n’amukyawa, n’amuwaayiriza ng’amukonjera ng’agamba nti, "Nawasa omukazi ono, naye bwe nasula naye saamusanga nga mbeerera," Kitaawe w’omuwala oyo ne nnyina banaaleeteranga abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo, nga bali ku wankaaki waakyo, obujulizi obunaalaganga ng’omuwala waabwe yali mbeerera. Kitaawe w’omuwala anaategeezanga abakulembeze abakulu nti, "Nagabira omusajja ono omwana wange omuwala amuwase, naye omusajja amukyaye. Kaakano wuuno amuwaayiriza ng’amukonjera ng’amwogerako nti, Muwala wo namusanga nga si mbeerera." Naye obujulizi buubuno obulaga ng’omwana wange ono omuwala yali mbeerera. Abazadde b’omuwala banaayanjululizanga essuuka y’obuliri mu maaso g’abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo.

" Teweebakanga na muka kitaawo ne mukola ebyensonyi, ekyo kireetera kitaawo obuswavu ne kimumalamu ekitiibwa.

" Teweebakanga na mukyala wa munnansi yammwe okumukolako ebyensonyi, n’akuleetera obutali bulongoofu.

" Omusajja bwanaayendanga ku muka omusajja, bombi, omusajja ayenze n’omukazi gw’ayenzeeko banattibwanga.

" Omusajja bw’aneebakanga ne musajja munne nga bwe yandyebase n’omukazi, bombi banaabanga bakoze eky’ekivve; era banattibwanga, n’omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.

Tebawasanga mukazi malaaya oba atali mulongoofu, oba oyo agobeddwa ewa bba; kubanga bakabona batukuvu eri Katonda waabwe.

Anaawasanga omukazi mbeerera atamanyanga musajja. Tawasanga nnamwandu, oba omukazi bba gwe yagoba, oba omukazi eyeereeseeko obutali bulongoofu olw’okukuba obwamalaaya; naye anaawasanga omukazi embeerera ng’amuggya mu bantu be;

Exemplos bíblicos

O Cântico dos Cânticos celebra o amor conjugal. A Bíblia honra o casamento em toda a sua beleza e profundidade.

Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo,

era ng’akabonero ku mukono gwo,

kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,

obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe.

Kwaka ng’ennimi ez’omuliro,

omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.

Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala

n’emigga tegiyinza kukumalawo.

Singa omuntu awaayo

obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,

asekererwa nnyo.

Abemikwano

Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala

n’emigga tegiyinza kukumalawo.

Singa omuntu awaayo

obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,

asekererwa nnyo.

Abemikwano

Ng’olabika bulungi wenna, omwagalwa wange,

toliiko bbala na limu.

Amabeere go gombi gali ng’abaana b’empeewo,

ab’empeewo, nga balongo,

abaliira mu malanga.

Osenzesenze omutima gwange,

mwannyinaze, omugole wange;

otutte omutima gwange, ne munye y’eriiso lyo gy’onkubye,

n’omukuufu ogumu ogw’omu bulago bwo.

Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange,

n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambatira.

Leka annywegere n’emimwa gye

kubanga okwagala kwo kusinga envinnyo,

Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba.

Ssanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba.

Ababiri basinga omu,

kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.

Kubanga singa omu agwa,

munne amuyimusa.

Naye zimusanze oyo ali obw’omu,

bw’agwa tabaako amuyimusa.

Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma;

naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?

Omu awangulwa mangu,

kyokka ababiri bayinza okwerwanako.

Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.

Juízo e restauração

O Senhor é testemunha do pacto conjugal. Casamentos quebrados podem ser restaurados pelo poder e graça de Deus.

"Mukomeewo mmwe abaana abanvaako," bw’ayogera Mukama; "kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni.

Koseya Afuna Amaka

Awo Mukama bwe yasooka okwogera eri Koseya, yamulagira nti, "Ggenda owase omukazi malaaya, omuzaalemu abaana, era banaayitibwanga abaana aboobwamalaaya, kubanga ensi eyitirizza okukola ekibi eky’obwenzi, n’eva ku Mukama."

Okubonerezebwa kwa Isirayiri, n’Okuzzibwa Obuggya kwabwe

Munenye nnyammwe,

mumunenye,

kubanga si mukazi wange, so nange siri bba.

Aggyewo obukaba obuli mu maaso ge,

n’obwenzi obuva wakati w’amabeere ge;

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Olw’obugagga bwo bwe walaga, n’oyanika obwereere bwo wakati mu baganzi bo ng’okola ebikolwa eby’obwenzi, n’olwa bakatonda bo abalala ab’ekivve, n’okuwaayo omusaayi gw’abaana bo, kyendiva nkuŋŋaanya baganzi bo bonna, be wasinza, bonna be wayagala ne be wakyawa, gy’oli ne bakwetooloola, ne nkufungulirira mu maaso gaabwe, balabe obwereere bwo.

Naye Mukama n’aleetera Falaawo n’ennyumba ye endwadde enkambwe olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu. Awo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, "Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo?

Ibulaamu ne Agali

Salaayi mukyala wa Ibulaamu yali teyamuzaalira mwana; Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, "Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye."

Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi. Bw’atyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali Omumisiri, omuweereza we n’amuwa Ibulaamu abeere mukazi we.

Awo omu ku bo n’amugamba nti, "Ddala ndikomawo gy’oli mu kiseera nga kino, era Saala mukazi wo alizaala omwana owoobulenzi."

Ne Saala yali awuliriza ng’ali mu mulyango gwa weema emabega we. Mu kiseera kino Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye nnyo nga Saala takyali na mu nsonga z’abakazi. Awo Saala n’asekera muli ng’agamba nti, "Nga nkaddiye, nga ne baze akaddiye, ndisanyusibwa?"

Naye Onani n’amanya nti ezzadde teririba lirye; bw’atyo bwe yeetaba naye, amannyi n’agafuka wansi aleme okufunira muganda we ezzadde. Ekyo kye yakola kyali kibi mu maaso ga Mukama. N’ono Mukama kyeyava amutta.

Awo Dawudi n’akubagiza mukyala we Basuseba, ne yeetaba naye, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi, ne bamutuuma Sulemaani, Mukama n’amwagala,

Awo Abiya n’aba w’amaanyi n’awasa abakazi kkumi na bana, n’abeera n’abaana aboobulenzi amakumi abiri mu babiri n’abaana aboobuwala kkumi na mukaaga.

" Eryo lye tteeka ery’obuggya, omukazi bw’anaakyamanga ne yeeyonoona songa mufumbo aliko bba, oba omusajja bw’anaayingirangamu omwoyo ogw’ebbuba, n’akwatirwa mukazi we obuggya; kale anaaleetanga mukazi we oyo eri Mukama Katonda, kabona n’alyoka assa etteeka eryo mu nkola ku mukazi oyo.

Ekitiibwa Kya Sayuuni eky’Oluvannyuma

"Yimba ggwe omugumba

atazaalanga;

tandika okuyimbira mu ddoboozi ery’omwanguka osanyukire ddala

ggwe atalumwanga kuzaala.

Kubanga ggwe eyalekebwa

ojja kuba n’abaana bangi okusinga oyo akyalina bba,"

bw’ayogera Mukama.

Nsanyukira nnyo mu Mukama,

emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange.

Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi

era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu,

ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona,

ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.

Waaliwo nnabbi omukazi, ayitibwa Ana, muwala wa Fanweri, ow’omu kika kya Aseri, era nga mukadde nnyo, eyafumbirwa nga muwala muto n’amala ne bba emyaka musanvu gyokka, bba n’afa,

"Bwe bakuyitanga ku mbaga ey’obugole, teweetuuzanga mu kifo ekisinga okuba eky’ekitiibwa kubanga singa ejjayo omugenyi akusinga ekitiibwa,

"Omusajja yenna agoba mukazi we n’awasa omulala aba ayenze; n’oyo awasa omukazi agobeddwa, naye aba ayenze."

Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu.

Awo Yesu n’akutaamulukuka ate, n’abuuza omukazi nti, "Abakuwawaabira baluwa?"

Omukazi n’amuddamu nti, "Mukama wange, tewali n’omu."

Yesu n’amugamba nti, "Nange sikusalira musango kukusinga. Genda, naye toddangayo okwonoona."

Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba baganda be, oba bannyina, oba kitaawe oba nnyina, oba baana be, oba ttaka lye olw’erinnya lyange aliweebwa okwenkana emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.

"Omuyigiriza Musa yagamba nti, Singa omusajja afa nga tazadde mwana, muganda w’omufu awase nnamwandu oyo azaalire muganda we abaana.

Kubanga mu kuzuukira teriiyo kuwasa wadde okufumbirwa, naye abantu bonna baba nga bamalayika mu ggulu.

Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, n’obwenzi, eby’obukaba, n’obubbi, n’okuwaayiriza, n’okuvvoola.

Ebikolwa by’omubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

Mu nnyumba yo,

mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;

abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni

nga beetoolodde emmeeza yo.

Ka mbawe ekyokulabirako: mu mateeka omukazi omufumbo, asigala nga wa bba, bba bw’aba ng’akyali mulamu. Naye bba bw’afa, omukazi oyo ng’asumuluddwa mu tteeka eribagatta. Noolwekyo omukazi oyo bwe yeegatta n’omusajja omulala, bba ng’akyali mulamu, omukazi oyo anaayitibwanga mwenzi. Naye bba bw’afanga, olwo omukazi omufumbo anaabanga asumuluddwa mu tteeka, era taabenga mwenzi bw’anaafumbirwanga omusajja omulala.

Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ng’abayigiriza obwenzi n’okulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala.

Era tebeenenya butemu bwabwe, wadde obulogo, wadde obwenzi, wadde obubbi bye baakolanga.

Kubanga ensala ye ey’emisango ya mazima era ya butuukirivu.

Yabonereza malaaya omukulu

eyayonoona ensi n’obwenzi bwe.

Era yawoolera eggwanga ku mwenzi oyo olw’omusaayi gw’abaweereza be."

Seja o primeiro
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-