Compaixão
A compaixão é o coração de Deus em ação. Ele é compassivo e misericordioso, tardio em irar-se e grande em amor. Somos chamados a refletir essa compaixão no mundo.
Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be,
ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,
olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.
Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;
akamwa kange kanaakutenderezanga.
Olw’okwagala kwa Mukama okutaggwaawo,
tetulimalibwawo, kubanga ekisa kye tekiggwaawo.
Buli lukya ekisa kyo kiba kiggya;
n’obwesigwa bwo bwa lubeerera.
"Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,
n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?
Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira
naye nze sirikwerabira.
Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange;
ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.
Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli;
era agolokoka okukulaga okusaasira.
Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya,
balina omukisa bonna abamulindirira.
Katonda ki omulala ali nga ggwe,
asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo
abaasigalawo ku bantu be?
Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna,
naye asanyukira okusaasira.
"Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi
era ndiwonya ennyumba ya Yusufu,
ndibakomyawo
kubanga mbakwatiddwa ekisa.
Balibeera
nga be sseegaanangako
era ndibawulira
kubanga nze Mukama Katonda waabwe.
"Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Musalenga emisango egy’ensonga, mukwatirweganenga ekisa n’okusaasiragananga buli muntu eri muganda we. Temutulugunyanga bannamwandu, n’abatalina bakitaabwe, n’abatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu n’omu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’
Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza.
Mubenga ba kisa, buli omu alumirwenga munne, era musonyiwaganenga, nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.
Eky’enkomerero, mwenna mubenga n’emmeeme emu, buli omu alumirirwenga munne, era mwagalanenga ng’abooluganda ddala, mubenga ba kisa era beetoowaze.
Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye?
Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe, atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi.
Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka n’atakola kibi kyonna.
Musanyukirenga wamu n’abo abasanyuka, era mukaabirenga wamu n’abo abakaaba.
Ebisigadde abooluganda, mujaguze, muzibwemu amaanyi, mulowooze bumu, mubeere n’emirembe, Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabeeranga nammwe.