Compreensão
A verdadeira compreensão vem de Deus. Os caminhos do Senhor são mais altos que os nossos. Mas Ele nos convida a buscar entendimento — e promete iluminar quem o busca de coração.
A sabedoria de Deus
Os meus pensamentos não são os vossos pensamentos. A incompreensibilidade de Deus nos leva à humildade e adoração.
"Ng’eggulu bwe liri waggulu okukira n’ensi,
bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo n’amakubo gammwe,
n’ebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.
"Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we!
Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi.
Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti,
‘Obumba ki?’
Oba omulimu gwo okukubuuza nti,
‘Aliko emikono?’
Tonnamanya?
Tonnawulira?
Mukama, ye Katonda ataliggwaawo.
Omutonzi w’enkomerero y’ensi.
Tazirika so takoowa
era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.
Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
n’obukulu bwe tebwogerekeka.
Ensozi nga tezinnabaawo,
n’ensi yonna nga tonnagitonda;
okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.
Kubanga emyaka olukumi,
gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita,
oba ng’ekisisimuka mu kiro.
Kale nga Katonda wa kitalo,
ng’amagezi ge mangi n’okutegeera kwe kungi era n’obugagga bungi;
ensala ye ey’emisango nga tekeberekeka, n’amakubo ge tegekkaanyizika.
Buscar entendimento
Clama a mim e responder-te-ei. A sabedoria é a coisa principal — busque o entendimento com todo o coração.
‘Mumpite n’abayitaba ne mbalaga ebikulu ebitanoonyezeka bye mutamanyi.’
Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu;
noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
Omuntu omugumiikiriza aba n’okutegeera kungi,
naye oyo asunguwala amangu ayolesa obusirusiru.
Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe;
byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.
Buli kkubo lya muntu liba ng’ettuufu mu maaso ge,
naye Mukama apima omutima.
ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe Omwoyo ow’amagezi n’okubikkulirwa mweyongere okumutegeera.
Mweyongere okukula mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano n’emirembe gyonna. Amiina.
Iluminação divina
A entrada da tua Palavra dá luz e entendimento. Deus revela verdades ocultas e transforma nossa visão da realidade.
Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;
n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
Nga bw’otosobola kutegeera kkubo mpewo,
oba omubiri nga bwe guzimbibwa ku mwana ali mu lubuto;
bw’otyo bw’otosobola kutegeera Katonda
Omutonzi wa byonna by’akola.
Yesu n’amuddamu nti, "Ddala ddala nkugamba nti, Omuntu bw’atazaalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda."
Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abagamba nti, "Eri abantu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna."
Awo bwe yatuula n’ayita ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, "Omuntu yenna bw’ayagala okuba oweekitiibwa okusinga banne, asaana yeetoowaze era abe omuweereza w’abalala."
Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu. Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ng’ekisuubizo ky’abasika bwe kiri.
naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga. Mwewalenga buli ngeri ya kibi.
Newaakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana ng’ab’omubiri,
Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.
Omuntu yenna bw’akemebwanga, tagambanga nti, "Katonda ye yankemye," kubanga Katonda takemebwa, era naye yennyini takema muntu n’omu.