Publicidade

Coração puro

Por Bíblia Online

Bem-aventurados os puros de coração, porque verão a Deus. A pureza de coração é alvo, privilégio e busca constante do cristão que deseja contemplar a face do Senhor.

Coração puro

Bem-aventurados os puros de coração. A pureza interior precede toda transformação externa e abre os olhos para ver a Deus.

Balina omukisa abalina omutima omulongoofu,

kubanga abo baliraba Katonda.

Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?

Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?

Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;

atasinza bakatonda abalala,

era atalayirira bwereere.

Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,

n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.

Totunuulira bibi byange,

era osangule ebyonoono byange byonna.

Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,

era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.

Tongoba w’oli,

era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.

Zabbuli ya Asafu.

Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri

n’eri abo abalina omutima omulongoofu.

Purificar-se

Todo o que tem essa esperança em Cristo se purifica. O amor procede de coração puro, boa consciência e fé sincera.

Buli muntu alina essuubi eryo yeetukuza nga Katonda bw’ali omutukuvu.

Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bw’alirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw’ali. Buli muntu alina essuubi eryo yeetukuza nga Katonda bw’ali omutukuvu.

Kye tugenderera mu kiragiro kino, kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu, n’omwoyo omulungi, n’okukkiriza okutaliimu bukuusa.

Naye ddukanga okwegomba okubi okw’ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, n’okukkiriza, n’okwagalana era n’emirembe awamu n’abo abasaba Mukama n’omutima omulongoofu.

Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi n’okutegeera, mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo, nga mujjudde ekibala eky’obutuukirivu ku bwa Yesu Kristo, olw’okuweesa Katonda ekitiibwa n’okumutendereza.

Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka, mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi, nga munyweza ekigambo ky’obulamu gye bali, ndyoke mbeere n’ekyokwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere so ssaateganira busa.

Kale kaakano nga bwe mumaze okutukuza emyoyo gyammwe olw’okukkiriza amazima, ne mwagalanira ddala mu luganda lwennyini, mweyongere okwagalana n’omutima ogutaliimu bukuusa.

Amakubo g’omuntu gonna gaba matuufu mu maaso ge ye,

naye Mukama y’apima ebigendererwa.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-28_14-13-17-