Publicidade

Crianças

Por Bíblia Online

As crianças ocupam lugar especial no coração de Deus. A Bíblia instrui a educá-las, protegê-las e ensiná-las nos caminhos do Senhor desde cedo — formando gerações que temem a Deus.

Herança do Senhor

Os filhos são herança do Senhor. Eles são presentes de Deus — cada criança é um milagre e uma responsabilidade sagrada.

Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;

era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.

Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,

babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,

ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda

okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.

Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;

ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.

Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;

emirimu gyo gya kyewuunyo;

era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.

Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?

Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.

Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?

Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.

Mujje wano baana bange, mumpulirize;

mbayigirize okutya Mukama.

Instruir as crianças

Instrui a criança no caminho em que deve andar. A educação cristã é mandamento repetido através de toda a Escritura.

Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,

ne bw’alikula talirivaamu.

Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,

ne bw’alikula talirivaamu.

Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,

ne bw’alikula talirivaamu.

Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto,

naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.

Obusirusiru busibiddwa ku mutima gw’omwana omuto,

naye omuggo ogukangavvula gulimuwonyeza ddala.

Atakozesa kaggo akyawa omwana we,

naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.

Ensibuko y’Obugagga Obungi

Omwana omugezi assaayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawe,

naye omunyoomi tafaayo ku kunenyezebwa.

Emikisa Egiva mu kuba n’Amagezi

Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza,

era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,

kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi,

era bikukulaakulanye.

Emikisa Egiva mu kuba n’Amagezi

Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza,

era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,

kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala,

nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.

yanjigiriza n’aŋŋamba nti, "Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo,

kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.

Funa amagezi; funa okutegeera,

teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.

Disciplinar com amor

A vara e a repreensão dão sabedoria. A disciplina produz o fruto pacífico da justiça nos que são exercitados por ela.

Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi,

naye omwana alekeddwa awo, aswaza nnyina.

Tolekangayo kukangavvula mwana,

bw’omubonereza n’akaggo tekimutta.

Wulirizanga kitaawo eyakuzaala,

so togayanga nnyoko ng’akaddiye.

Gula amazima so togatunda,

ffuna amagezi, n’okuyigirizibwa n’okutegeera.

Omwana abba ebya kitaawe n’agobaganya ne nnyina,

aleeta obuswavu n’obuyinike.

Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,

asinga akamwa ak’omusirusiru akaweebuula.

Omuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyezebwa;

ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.

Omuvubuka naye amanyibwa olw’ebikolwa bye,

obanga birongoofu era nga birungi.

Omwana omusirusiru buyinike eri kitaawe,

era aleeta ennaku eri nnyina eyamuzaala.

Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe,

era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.

Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe,

era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.

Omusirusiru anyooma okubuulirirwa kwa kitaawe,

naye omutegeevu assaayo omwoyo eri okunenyezebwa.

Omwana omugezi asanyusa kitaawe,

naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.

Oyo akuuma amateeka ga Mukama mwana eyeegendereza,

naye mukwano gw’abomululu akwasa kitaawe ensonyi.

Amagezi eri Abavubuka

Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,

era tolekanga kukuutira kwa maama wo;

bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,

n’emikuufu mu bulago bwo.

Kale nno, batabani bange mumpulirize;

balina omukisa abo abakwata amakubo gange!

Muwulirizenga okuyigirizibwa, mubenga n’amagezi,

so temugalekanga.

Obediência e promessa

Filhos, obedecei a vossos pais no Senhor. Honra a teu pai e tua mãe para que viva muito tempo sobre a terra.

Abazadde n’Abaana Baabwe

Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. "Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa," eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi.

Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.

Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.

Okubeera mu Musana

Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa.

Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.

Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.

Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose.

Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose.

Kale, mugonderenga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero; olwo nno eby’obulamu bwo n’embeera yo biryoke bikugenderenga bulungi, ggwe n’ezzadde lyo eririddawo; bw’otyo olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeeranga obutaka bwo obw’enkalakkalira."

Weegenderezenga okugoberera ebiragiro bino byonna bye nkuwa, olyoke obeenga bulungi, ggwe, n’abaana bo, oluvannyuma lwo, emirembe gyonna, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda wo.

n’abagamba nti, "Mukwate ku mutima gwammwe ebigambo byonna bye mbategeezezza leero n’obuwombeefu obungi, mulyoke mulagire abaana bammwe bagonderenga n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano. Ebigambo ebyo si bya kusaagasaaga, wabula bye bigambo ebikwatira ddala ku bulamu bwammwe bwennyini. Okusinziira ku bigambo bino, mugenda kuwangaala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugifuna."

Crianças e o reino

Deixai vir a mim as crianças. Jesus honrou as crianças como modelo de fé e humildade para todo o seu povo.

Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu."

Naye Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, "Mukkirize abaana abato bajje gye ndi so temubaziyiza, kubanga abafaanana ng’abo be bannannyini bwakabaka obw’omu ggulu."

Omukulu mu Bwakabaka obw’Omu Ggulu

Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, "Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?"

Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. N’abagamba nti, "Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.

N’abagamba nti, "Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.

"Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze.

Olugero lw’Endiga Eyabula

"Mwekuume obutanyoomanga n’omu ku baana bano abato. Kubanga mbagamba nti bamalayika baabwe ennaku zonna babeera mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.

Abakooye n’Abazitoowereddwa

Yesu n’asaba bw’ati nti, "Ayi Kitange, Mukama w’eggulu n’ensi, nkwebaza kubanga ebigambo byo bino eby’amazima wabikisa abo abeeyita ab’amagezi ennyo, naye n’obibikkulira abaana abato.

Balina omukisa abatabaganya,

kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.

Yesu Awa Abaana Omukisa

Awo Yesu ne bamuleetera abaana abato abakwateko, naye abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta. Kyokka Yesu bwe yabiraba n’anyiigira nnyo abayigirizwa be, n’abagamba nti, "Abaana mubaleke bajje gye ndi, temubagaana kubanga abali nga bano, be bannannyini bwakabaka bwa Katonda.

N’addira omwana omuto n’amussa wakati waabwe, n’amusitula mu mikono gye n’abagamba nti, "Buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange, aba asembezezza nze. N’oyo asembeza nze aba tasembezezza nze nzekka, wabula aba asembezezza n’oyo eyantuma."

Awo Yesu n’akula mu mubiri, mu magezi, era n’alaba ekisa mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu.

Yesu Azzaamu Peetero Amaanyi

Bwe baamala okulya, Yesu n’agamba Peetero nti, "Simooni omwana wa Yokaana, onjagala okusinga bano?"

Peetero n’addamu nti, "Ddala, omanyi nga nkwagala nnyo."

Yesu n’amugamba nti, "Kale liisanga abaana b’endiga zange."

Identidade e crescimento

Somos filhos de Deus pelo Espírito de adoção. Crescer em Cristo é amadurecer em fé, obediência e amor ao próximo.

Naye bonna abaamusembeza, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda; be bo abakkiriza erinnya lye.

kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda.

Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, "Aba, Kitaffe."

Omwoyo yennyini akakasiza wamu n’omwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda.

Ebitonde birindirira n’essuubi lingi ekiseera abaana ba Katonda lwe baliragibwa.

Baana ba Katonda

Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo, kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo.

Abaana ba Katonda

Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.

Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, naye tetumanyi bwe tuliba. Kyokka tumanyi nti bw’alirabika tulifaanana nga ye, kubanga tulimulabira ddala nga bw’ali. Buli muntu alina essuubi eryo yeetukuza nga Katonda bw’ali omutukuvu.

Baana bange abaagalwa,

mbawandiikidde kubanga musonyiyiddwa ebibi byammwe olw’erinnya lye.

Abaana abaagalwa, mwewalenga bakatonda abalala.

Ateekwa kuba ng’afuga bulungi amaka ge, abaana be nga bamuwulira, era nga bamussaamu ekitiibwa.

Naye omuntu yenna bw’atalabirira bantu be, na ddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.

Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ng’abaana be? Agamba nti,

"Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama,

so toggwangamu maanyi ng’akunenyezza.

Kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula,

Era abonereza buli gw’ayita omwana we."

Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng’abaana be. Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula? Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala.

Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe ab’omubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe w’emyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu?

Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu.

Ne bamugamba nti, "Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna."

Naye ddukanga okwegomba okubi okw’ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, n’okukkiriza, n’okwagalana era n’emirembe awamu n’abo abasaba Mukama n’omutima omulongoofu.

Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso g’abajulirwa abangi biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala.

Transmitir a fé

Contaremos à geração vindoura os louvores do Senhor. O legado de fé é o maior presente que damos aos nossos filhos.

N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama;

n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.

N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama;

n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.

Akyali omulamu,

y’akutendereza nga nze bwe nkola leero;

bakitaabwe b’abaana babategeeza

nga bw’oli omwesigwa ennyo.

"Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,

n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?

Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira

naye nze sirikwerabira.

Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange;

ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.

Bwe namala okulaba embeera bwe yali, ne ngolokoka ne ŋŋamba abakungu, n’abakulu, n’abantu abalala nti, "Temubatya. Mujjukire Mukama, omukulu era ow’entiisa, mulwanirire baganda bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, ne bakyala bammwe n’amaka gammwe."

Mukama Ayita Samwiri

Awo omuvubuka Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama ng’alabirirwa Eri. Mu biro ebyo ekigambo kya Mukama kyali kya bbula, era nga n’okwolesebwa kwa bbalirirwe.

Tewali kindeetera ssanyu lisinga ng’eryo lye nfuna bwe mpulira nti abaana bange batambulira mu mazima.

Tewali kindeetera ssanyu lisinga ng’eryo lye nfuna bwe mpulira nti abaana bange batambulira mu mazima.

Tetuubikisenga baana baabwe,

naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo

ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo,

n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola.

Yawa Yakobo ebiragiro,

n’ateeka amateeka mu Isirayiri;

n’alagira bajjajjaffe

babiyigirizenga abaana baabwe,

ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye,

n’abaana abalizaalibwa,

nabo babiyigirize abaana baabwe,

balyoke beesigenga Katonda,

era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola;

naye bagonderenga ebiragiro bye.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-