Dar
Dar é princípio do Reino de Deus. Jesus deu tudo — até a própria vida. A Bíblia nos ensina que é mais bem-aventurado dar do que receber, e que Deus ama ao que dá com alegria.
Dar com alegria
Deus ama ao que dá com alegria. Dai e dar-se-vos-á. O generoso prospera e quem abençoa será abençoado.
Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.
Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi,
Kubanga oyo awa omulimi ensigo okusiga, ate n’amuwa n’emmere ey’okulya, anaayazanga ensigo yammwe era n’agyongerako, era anaayongeranga ebibala eby’obutuukirivu.
Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.
Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bw’alina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.
Mugabenga nammwe muliweebwa. Ekigera ekirungi ekikattiddwa, ekisuukundiddwa, eky’omuyiika kiribakwasibwa. Kubanga ekigera kye mugereramu nammwe mwe muligererwa."
Princípios de generosidade
Honra ao Senhor com as tuas primícias. Não negues o bem a quem o merece. A alma generosa prosperará.
Mukama mugulumizenga n’eby’obugagga byo; n’ebibala ebisooka eby’ebintu byo byonna eby’omu nnimiro yo,
Tommanga birungi abo be bisaanira
bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola.
Omuntu agaba anagaggawalanga,
n’oyo ayamba talibulako amuyamba.
Ekirabo ky’omuntu kimuseguliza,
era kimutuusa ne mu maaso g’abeekitiibwa.
Olunaku lwonna aba yeegomba kweyongezaako,
naye omutuukirivu agaba awatali kwebalira.
Yogera olamulenga n’obwenkanya,
olwanirirenga abaavu n’abali mu bwetaavu.
Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese," bw’ayogera Mukama ow’Eggye, "obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya.
O ensino de Jesus
Quando deres esmola, não toque a trombeta. A generosidade do coração importa mais que a grandeza do donativo.
"Bw’obanga ogabira omwavu ekintu teweeraganga nga bannanfuusi bwe bakola ne basooka okufuuwa eŋŋombe mu makuŋŋaaniro ne mu nguudo, nga bagenda okugabira abaavu, abantu babalabe babawe ekitiibwa. Ddala ddala mbagamba nti Abo, eyo y’empeera yaabwe.
Naye ggwe bw’obanga ogabira omuntu yenna ekintu omukono gwo ogwa kkono guleme kumanya ogwa ddyo kye gukola. Kale Kitaawo amanyi ebyama byonna alikuwa empeera."
Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.
Yesu n’amugamba nti, "Obanga oyagala okuba omutuukirivu genda otunde ebibyo, ensimbi ozigabire abaavu, kale oliba n’obugagga mu ggulu, olyoke ojje ongoberere."
Omuntu yenna akusabanga omuwanga; era n’oyo akuggyangako ebintu byo tobimusabanga kubikuddizza.
Sanyukiranga mu Mukama,
anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.
Ababi beewola, ne batasasula;
naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.
"Naye nze ani n’abantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo.
Nekkemiya n’abagamba nti, "Mugende mulye ebyassava, munywe n’ebiwoomerera, muweerezeeko n’abo abatalina kye bateeseteese. Leero lunaku lutukuvu eri Mukama, temunakuwala, kubanga essanyu eriva eri Mukama ge maanyi gammwe."
Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa.