Publicidade

Tomar uma decisão

Por Bíblia Online

Tomar decisões com sabedoria é um dos maiores desafios da vida. A Bíblia nos ensina a buscar a Deus em oração, na Palavra e no conselho, confiando que Ele dirige os nossos passos.

Buscar a Deus

Se algum de vós tem falta de sabedoria, peça a Deus. Ele dá generosamente e sem repreensão a todos os que pedem.

Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.

Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira.

Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.

Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna,

so teweesigamanga ku magezi go gokka.

Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna,

naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.

Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna,

naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.

Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso," bw’ayogera Mukama.

Conselho e direção

Onde não há conselho os planos se frustam. Toda Escritura é útil para nos guiar nas decisões da vida.

Awatali kuluŋŋamizibwa eggwanga lidobonkana,

naye abawi b’amagezi abangi baleeta obuwanguzi.

Akalulu kayinza okukubibwa,

naye okusalawo kwa byonna kuva eri Mukama.

Ebigambo by’Abagezi n’Abasirusiru

Eyeggya ku banne aba yeerowoozako yekka,

era tawuliriza magezi gamuweebwa.

Omusirusiru tasanyukira kutegeera,

ky’asanyukira kyokka kwe kwogera by’alowooza.

Okukola ekibi bwe kujja n’okunyooma kujjirako,

era awali okuyisaamu omuntu amaaso wabaawo okunyoomoola.

Ebigambo by’omu kamwa k’omuntu mazzi ga buziba,

naye ensulo ey’amagezi mugga ogukulukuta.

Si kirungi kuttira mubi ku liiso,

oba okusaliriza omutuukirivu.

Akamwa k’omusirusiru kamuleetera entalo

era akamwa ke kamuleetera okukubwa emiggo.

Akamwa k’omusirusiru ke kamuleetera okuzikirira,

era n’emimwa gye mutego eri emmeeme ye.

Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera,

bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.

Omuntu omugayaavu mu mirimu gy’akola,

waluganda n’oyo azikiriza.

Erinnya lya Mukama kigo ky’amaanyi,

omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.

Obugagga bw’omugagga, kye kibuga kye ekiriko bbugwe ow’amaanyi,

era mu kulaba kwe, kigo kye ekigumu ekitarinnyika.

Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.

Oyo addamu amangu mu nsonga gy’ateetegerezza,

buba busirusiru bwe era buswavu.

Omwoyo gw’omuntu gumuwanirira mu bulwadde,

naye emmeeme eyennyise ani ayinza okugigumiikiriza?

Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu,

omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

Bwe baatuuka e Musiya ne bagezaako okugenda Bisuniya, naye Mwoyo wa Yesu n’atabakkiriza.

Balunabba ne Sawulo Batumibwa

Mu Kkanisa y’omu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, "Omuddugavu" ne Lukiyo ow’e Kuleene, ne Manaeni, eyakulira awamu ne kabaka Kerode, ne Sawulo. Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, "Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde." Awo bwe baamala okusaba n’okusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.

Confiar e seguir

Seja o que for que façais, fazei tudo para a glória de Deus. O sábio ouve a Deus antes de agir.

Kubanga buli kye mukola, oba kulya oba kunywa, mukikole nga mugenderera kugulumiza Katonda.

Katonda Akangavvula Abaana be

Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa,

Mukama n’alabikira Sulemaani ekiro mu kirooto e Gibyoni, Katonda n’amugamba nti, "Saba ky’oyagala kyonna kye mba nkuwa."

Sulemaani n’addamu nti, "Olaze ekisa kingi eri omuddu wo, Dawudi kitange, kubanga yali mwesigwa gy’oli, era mutuukirivu ate nga mwesimbu gy’oli. Era oyongedde okulaga ekisa kino ekingi gy’ali n’omuwa omwana okutuula ku ntebe ye ey’obwakabaka leero. Kaakano, Ayi Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo okuba kabaka mu kifo kya Dawudi kitange. Naye ndi mwana muto era simanyi ngeri ya kuddukanyaamu mirimu gyange. Omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga ekkulu, eritabalika. Kale omuddu wo muwe amagezi okufuganga abantu bo, njawulenga ekirungi n’ekibi: kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino ekkulu?"

Mukama n’asanyuka kubanga Sulemaani yasaba ekyo. Katonda n’amugamba nti, "Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala wadde bugagga, oba okufa kw’abalabe bo, naye weesabidde amagezi okwawulanga emisango, n’akola ky’osabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana.

Kyokka mukyala we n’amugamba nti, "Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!"

Naye ye n’amuddamu nti, "Oyogera ng’omu ku bakazi abatategeera bwe bandyogedde! Tunaafunanga birungi byereere mu mukono gwa Katonda?"

Mu bino byonna Yobu teyayonoona na kamwa ke.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-