Dependência
A dependência de Deus é o caminho da verdadeira liberdade. Sem Cristo, nada podemos fazer. Mas em Deus encontramos sustento, direção e força para todo desafio.
Sem Ele nada podemos
Sem mim nada podeis fazer. O cristão que se desconecta da videira seca — mas o que permanece dá muito fruto.
"Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola.
Onkuume, Ayi Katonda,
kubanga ggwe buddukiro bwange.
Nkulembeza Mukama buli kiseera,
era ali ku mukono gwange ogwa ddyo,
siinyeenyezebwenga.
Mukama bw’atazimba nnyumba,
abo abagizimba bazimbira bwereere.
Mukama bw’atakuuma kibuga,
abakuumi bateganira bwereere.
Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola;
wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo
awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.
Mukama ajja kubalwanirira. Mmwe musirike busirisi."
Depender do Senhor
Confia no Senhor de todo o coração e não te estribes no teu próprio entendimento. Em todos os caminhos o reconhece.
Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna,
so teweesigamanga ku magezi go gokka.
Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna,
naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.
Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye,
naye Mukama y’aluŋŋamya bw’anaatambula.
Enteekateeka z’omuntu ziba nnyingi mu mutima gwe;
byo ebigendererwa bya Mukama bituukirira.
Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga
era tagwongerako buyinike.Mukama
Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;
naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,
era ye wange ennaku zonna.
Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
tulyoke tulokolebwe.
Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
okubeerwa kwange kuva wa?
Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
oyo akukuuma taabongootenga.
Bwe naleekaana nti, "Nseerera!"
Okwagala kwo okutaggwaawo, Ayi Mukama, ne kumpanirira.
Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
n’annyanukula, n’agimponya.
Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
Contentamento e confiança
Aprendi a viver contente em toda situação. A dependência de Deus nos livra da ansiedade e nos firma na paz.
Soogera kino olwokubanga Ndiko kye nneetaaga, kubanga mu buli mbeera gye mbaamu nayiga okumalibwanga.
Kubanga nze Mukama Katonda wo
akukwata ku mukono ogwa ddyo,
nze nkugamba nti,
Totya nze nzija kukuyamba.
Awa amaanyi abazirika,
n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.
Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, ebitundu ebyo byonna bikola emirimu gya njawulo. Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo.
N’abo abafugibwa omubiri tebayinza kusanyusa Katonda.
Noolwekyo temweraliikiriranga bya nkya. Kubanga olunaku olw’enkya lulyeraliikirira ebyalwo. Buli lunaku lulina emitawaana gyalwo egimala."
"Naye nze ani n’abantu bange kye ki, ffe okusobola okuwaayo bwe tutyo nga ffe tweyagalidde? Byonna biva gy’oli, era tukuwadde ku bibyo.