Publicidade

Despedida

Por Bíblia Online

As despedidas na Bíblia são momentos sagrados de bênção, oração e confiança em Deus. Mesmo na separação, os filhos de Deus se despedem com fé, carinho e esperança de reencontro.

Despedidas bíblicas

Paulo se despediu dos anciãos de Éfeso com oração e lágrimas. As despedidas entre irmãos são marcadas por afeto e fé.

Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’afukamira n’asaba nabo bonna. Buli omu n’akaaba nnyo amaziga, ne bamugwa mu kifuba okumusiibula, nga banakuwavu, naye okusinga byonna olw’ekigambo kye yayogera nti, Tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako ne bamutuusa ku kyombo.

Okuyita mu Makedoniya ne mu Buyonaani

Awo akasasamalo bwe kakkakkana, Pawulo n’atumya abayigirizwa, ne bakuŋŋaana, n’ababuulira ekigambo kya Katonda ng’abasiibula n’okubagumya, n’alyoka asitula n’alaga mu Makedoniya.

Awo Yuda ne Siira ne bamalayo ennaku ntonotono ne basiibula okuddayo eri abaabatuma. Abooluganda ne babatuma okulamusa abali mu Yerusaalemi n’okubeebaza olw’obubaka bwe baabaweereza.

Pawulo Okwagala Okulaba Abasessaloniika

Abooluganda bwe twabaawukanako nga wayiseewo akaseera akatono, wadde essaawa emu, so ng’emitima gyaffe gisigadde eyo, twegomba nnyo okukomawo twongere okubalabako.

Katonda ye mujulirwa wange nga mwenna bwe mbaagala n’okwagala okuva eri Kristo Yesu.

Amizades profundas

Davi e Jônatas se despediram com lágrimas e pacto de amizade. Rute se apegou a Noemi com lealdade inabalável.

Akalenzi bwe kaamala okugenda, Dawudi n’avaayo mu kifo eky’obukiikaddyo, n’agwa wansi mu maaso ga Yonasaani n’amuvuunamira emirundi esatu. Ne bagwaŋŋana mu bifuba ne bakaaba, naye Dawudi ye yasinga okukaaba.

Awo Yonasaani n’agamba Dawudi nti, "Genda mirembe, kubanga fembi twelayirira omukwano mu linnya lya Mukama nga twogera nti, Mukama ye mujulirwa wakati wo nange, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde lyange emirembe gyonna.’ " Dawudi n’agenda, ne Yonasaani n’addayo mu kibuga.

Akalenzi bwe kaamala okugenda, Dawudi n’avaayo mu kifo eky’obukiikaddyo, n’agwa wansi mu maaso ga Yonasaani n’amuvuunamira emirundi esatu. Ne bagwaŋŋana mu bifuba ne bakaaba, naye Dawudi ye yasinga okukaaba.

Awo Nawomi n’agamba baka baana be nti, "Mugende muddeeyo buli muntu mu nnyumba ya nnyina). Kitaawe wa Luusi yali akyali mulamu (2:11)., era Mukama Katonda abakolere ebyekisa, nga nammwe bwe mwakolera abaafa era ne bye mwakolera nze. Mukama Katonda abawe omukisa era buli omu ku mmwe, amuwe omusajja omulala." N’alyoka abanywegera, nabo ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba amaziga, nga bagamba nti, "Nedda, tuligenda naawe ng’oddayo eri abantu bo." Naye Nawomi n’abagamba nti, "Muddeeyo ewammwe bawala bange. Kiki ekibaagaza okugenda nange? Sikyasobola kuzaala baana balala bafuuke babba mmwe). Mweddireyo ewammwe, bawala bange, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyafumbirwa. Ne bwe nnandifumbiddwa ne nzaala abaana aboobulenzi; mwandibalindiridde okutuusa lwe bandikuze nga temunnafumbirwa? Nedda, bawala bange. Nnumwa nnyo okusinga mmwe, kubanga omukono gwa Mukama Katonda tegubadde nange."

Bwe baawulira ekyo, ne baddamu okukaaba. Awo Olupa n’anywegera nnyazaala we, n’amusiibula. Naye Luusi namunywererako ddala.

Bwe baawulira ekyo, ne baddamu okukaaba. Awo Olupa n’anywegera nnyazaala we, n’amusiibula. Naye Luusi namunywererako ddala.

Awo Musa n’asiibula mukoddomi we, mukoddomi we n’akwata ekkubo ne yeddirayo mu nsi y’ewaabwe.

Bênçãos de despedida

O Senhor te abençoe e te guarde. O Senhor faça resplandecer o seu rosto sobre ti e te dê a paz.

" Mukama Katonda akuwe omukisa,

akukuume;

Mukama Katonda akwakize amaaso ge

akukwatirwe ekisa;

Mukama Katonda akwolekeze amaaso ge

akuwe emirembe.’ 

Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;

anaalabiriranga obulamu bwo.

Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,

okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.

Okusiibula n’Omukisa

Ebisigadde abooluganda, mujaguze, muzibwemu amaanyi, mulowooze bumu, mubeere n’emirembe, Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabeeranga nammwe.

Okusiibula n’Omukisa

Ebisigadde abooluganda, mujaguze, muzibwemu amaanyi, mulowooze bumu, mubeere n’emirembe, Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabeeranga nammwe.

Mulamusagane n’okulamusa okutukuvu.

Abatukuvu bonna babalamusizza.

Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okwagala kwa Katonda, n’okussekimu okwa Mwoyo Mutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.

Ebyokulwanyisa bya Katonda

Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge.

Yoswa n’alyoka abasabira omukisa n’abasiibula ne baddayo mu maka gaabwe.

N’omulala n’agamba Yesu nti, "Nnaakugobereranga Mukama wange. Naye sooka ondeke mmale okusiibula ab’omu maka gange."

Naye Yesu n’amuddamu nti, "Omuntu yenna akwata ekyuma ekirima mu ngalo ze ate n’atunula emabega, tasaanira bwakabaka bwa Katonda."

Erisa n’aleka ente ze, n’adduka ng’agoberera Eriya. N’amugamba nti, "Ka nsibule kitange ne mmange, ndyoke ŋŋende naawe."

Eriya n’amugamba nti, "Ddayo, nkukoze ki?"

Awo Erisa n’amulekako akabanga, n’addayo, n’agenda n’asala omugogo gw’ente, ennyama n’agifumbisa ebiti by’enkumbi, n’agabira abantu ne balya. Awo n’agolokoka n’agoberera Eriya era n’amuweerezanga.

Seja o primeiro
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-