Publicidade

Deus nunca falha

Por Bíblia Online

Deus nunca falha. Nenhuma de suas promessas vem ao chão. O que Ele prometeu, Ele cumprirá. A fidelidade de Deus é o fundamento inabalável da nossa fé.

Promessas cumpridas

Nenhuma boa palavra falhou de todas as promessas que Deus fez. Ele é fiel e verdadeiro em tudo o que diz.

"Era kaakano nnaatera okukwata olugendo lw’abantu bonna ab’oku nsi era mumanyi n’emitima gyammwe n’emmeeme yammwe mmwe mwenna nti, Tewali kintu kyonna kitatuukiridde Mukama Katonda wammwe kye yasuubiza ekibakwatako. Byonna bibakoleddwa, tewali na kimu kiremye.

Buli kintu kyonna ekirungi Mukama kye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri yakituukiriza. Byonna byatuukirira.

"Mukama yeebazibwe awadde abantu be Isirayiri okuwummula nga bwe yasuubiza. Tewali kigambo na kimu ekitatuukiridde ku ebyo ebirungi bye yasuubiza omuddu we Musa.

Katonda si muntu, nti ayinza okulimba,

oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye.

Ayogera n’atakola?

Asuubiza n’atatuukiriza?

Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna;

n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.

Fidelidade eterna

A Palavra do Senhor permanece para sempre. A tua palavra é muito pura e o teu servo a ama profundamente.

Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu,

mutunuulire ensi wansi!

Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka

n’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo.

Abagituulamu balifa ng’ensowera.

Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna,

so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.

Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,

kyenva mbyagala.

Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,

n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.

Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,

n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.

Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,

era ayimusa bonna abagwa.

Mukama ali wakati mu kyo, mutuukirivu

era tasobya.

Buli nkya alamula mu bwenkanya,

era buli lukya talemwa;

naye atali mutuukirivu taswala.

Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere.

Kwogera ku by’enkomerero

ate si kwa bulimba.

Bwe kunaaba ng’okuluddewo, mukulindirire,

kujja kutuukirira, tekugya kulwa.

Segurança em Deus

Todas as promessas de Deus são sim e amém em Cristo. Fiel é Aquele que prometeu — Ele jamais nos decepcionará.

Kubanga nga bwe biri ebisuubizo ebingi ebya Katonda, era mu ye kyetuva tugamba Amiina nga tuyita mu ye, Katonda atenderezebwe mu ffe. Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda, era ye oyo eyatussaako akabonero, n’atuwa amazima g’omwoyo mu mitima gyaffe.

Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa,

Nammwe, Kristo yabaleeta eri amazima, kye kigambo eky’Enjiri ey’okulokolebwa kwammwe. Bwe mwamukkiriza, ne muteekebwako envumbo eya Mwoyo Mutukuvu eyasuubizibwa, gwe musingo gw’obusika bwaffe, okutuusa bw’alinunula abantu be, ne Katonda n’agulumizibwa era n’atenderezebwa.

Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.

Seja o primeiro
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-