Publicidade

Deus

Por Bíblia Online

Deus é a realidade suprema do universo — o criador, sustentador e redentor de tudo o que existe. Conhecê-lo é a essência da vida eterna e o maior privilégio da existência humana.

Quem é Deus

Não há santo como o Senhor. Tu és grande e fazes maravilhas — só tu és Deus. Sua majestade transcende toda compreensão.

Tewali mutukuvu nga Mukama Katonda

tewali mulala wabula ggwe;

tewali Lwazi oluli nga Katonda waffe.

"Ng’oli mukulu, Ayi Mukama Katonda! Tewali akwenkana, era tewali Katonda wabula ggwe, nga bwe twewuliridde n’amatu gaffe.

Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba, naye Katonda ye y’azimba buli kintu.

Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange;

ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo,

kubanga okoze ebintu eby’ettendo,

ebintu bye wateekateeka edda,

mu bwesigwa bwo.

"Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe

era n’amakubo gammwe si ge makubo gange,"

bw’ayogera Mukama.

Deus é amor

Deus é amor. Quem permanece no amor permanece em Deus e Deus nele. Nós amamos porque Ele nos amou primeiro.

Ffe tumanyi okwagala kwa Katonda era tukkiririza mu kwagala kwe okwo kw’alina gye tuli.

Katonda kwagala, era buli abeera n’okwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye.

Tulina okwagala kubanga Ye ye yasooka okutwagala.

Omuntu yenna bw’agamba nti, "Njagala Katonda," naye n’akyawa muganda we, omuntu oyo mulimba. Kubanga buli atayagala muganda we gw’alabako, tasobola kwagala Katonda gw’atalabangako.

Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, naye bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n’okwagala kwe ne kulabikira mu ffe.

Mukama Katonda ali naawe,

ow’amaanyi alokola:

alikusanyukira,

alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,

alikusanyukira n’okuyimba."

Buscar a Deus

Buscareis o Senhor e o encontrareis quando o buscardes de todo o coração. Provai e vede que o Senhor é bom.

Naye ng’oli eyo, bw’onoonoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga, singa onoomunoonyanga n’omutima gwo gwonna awamu n’omwoyo gwo gwonna.

Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!

Balina omukisa abaddukira gy’ali.

Nagamba Mukama nti, "Ggwe Mukama wange,

ebirungi byonna bye nnina biva gy’oli."

Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?

Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.

Buli lwe ntya,

neesiga ggwe.

Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;

olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.

Kubanga buli andaba afuna obulamu,

era afuna okuganja eri Mukama.

Viver com Deus

Sê forte e corajoso, porque o Senhor teu Deus é contigo. Em Deus encontramos a razão de existir.

Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga Mukama Katonda wo anaabanga naawe buli gy’onoogendanga."

Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.

Musanyukirenga mu Mukama waffe bulijjo. Nziramu okubagamba nti musanyukenga.

Ekitiibwa kya Sayuuni Ekijja

"Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase

era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.

Kubanga nze Mukama Katonda wo

akukwata ku mukono ogwa ddyo,

nze nkugamba nti,

Totya nze nzija kukuyamba.

Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.

Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu ky’asiga era ky’alikungula.

Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-