Dificuldades
As dificuldades são parte da vida, mas Deus é refúgio certo em todo tempo de angústia. A Bíblia promete que nenhuma adversidade pode separar os filhos de Deus do seu amor.
Deus é refúgio
Deus é nosso refúgio e fortaleza, socorro bem presente nas angústias. Nada poderá nos separar do amor de Cristo.
Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.
Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;
ggwe Katonda wange gwe nneesiga.
Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe,
kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.
Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;
era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
kubanga abakunoonya tobaleka bokka.
Ggwe ofuga amalala g’ennyanja;
amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.
Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.
Omuyaga yagusirisa,
ennyanja n’etteeka.
Ani alitwawukanya n’okwagala kwa Kristo? Kubonaabona, oba bulumi, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwerere, oba kabi, oba kitala? Kyawandiikibwa nti:
"Ku lulwo tutiisibwatiisibwa n’okuttibwa obudde okuziba,
era tubalibwa ng’endiga ez’okusalibwa."
Naye mu bino byonna tuwangudde n’okukirawo ku bw’oyo eyatwagala. Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya n’okwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.
Provisão nas dificuldades
O Senhor provê mesmo nos tempos mais difíceis. Ele sustentou Elias, protegeu Israel e cuida dos seus com fidelidade eterna.
Ekibya ky’obutta tekyakendeera wadde akasumbi k’amafuta okukalira, ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu Eriya bwe kyali.
Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,
n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.
Baamusaba, n’abaweereza enkwale
era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.
Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,
ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.
Nnali muto kati nkaddiye,
naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,
wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.
Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,
era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,
ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.
Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka
eririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu.
Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo,
era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo.
Ddala obadde kiddukiro eri abaavu,
ekiddukiro eri oyo eyeetaaga,
ekiddukiro ng’eriyo embuyaga
n’ekisiikirize awali ebbugumu.
Omukka gw’ab’entiisa
guli ng’embuyaga ekuntira ku kisenge
Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba.
Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu
nnaabeeranga naawe,
ne bw’onooyitanga mu migga
tegirikusaanyaawo;
bw’onooyitanga mu muliro
tegukwokyenga,
ennimi z’omuliro tezirikwokya.
Força nas provas
Em tudo somos atribulados, mas não esmagados. O Senhor é bom e é fortaleza no dia da angústia — Ele conhce os seus.
Tunyigirizibwa erudda n’erudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika. Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka,
Mukama mulungi,
kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,
era alabirira abo bonna abamwesiga.
Asiba amazzi mu bire bye;
ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.
Abikka obwenyi bw’omwezi,
agwanjululizaako ebire bye.
Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita,
ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza.
Onookuumibwanga eri olulimi olukambwe,
era tootyenga okuzikirira bwe kunaabanga kujja gy’oli.
Yesu n’abaddamu nti, "Mmwe abalina okukkiriza okutono! Lwaki mutya bwe mutyo?" N’agolokoka n’aboggolera omuyaga. Omuyaga ne guggwaawo, ennyanja n’eteeka. Naye abayigirizwa ne bawuniikirira nnyo! Ne beebuuza nti, "Muntu ki ono, omuyaga n’ennyanja gwe bigondera?"
Naye obanga Katonda ayambaza obulungi bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko ogw’ekiseera obuseera, ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, talisingawo nnyo okubambaza? Nga mulina okukkiriza okutono! Noolwekyo temweraliikiririranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki? Oba nti, Tunaanywa ki? Oba nti, Tunaayambala ki?’
Omukazi n’addukira mu ddungu eyali ekifo Katonda gye yategeka okumulabirira okumala ennaku Lukumi mu bibiri mu nkaaga.
Laba mbawadde obuyinza okulinnya ku misota ne ku njaba ez’obusagwa n’okuwangula amaanyi gonna ag’omulabe. Era tewali kigenda kubakola kabi.