Publicidade

Doença

Por Bíblia Online

A doença é realidade humana que a Bíblia confronta com compaixão e poder. Jesus curou toda enfermidade e prometeu ouvir a oração da fé pelos enfermos.

Jesus, o curador

Jesus percorreu toda a Galileia curando toda enfermidade e doença entre o povo. Pelo seu nome, curas continuam acontecendo.

Yesu n’agenda ng’ayita mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo, ne mu byalo ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng’abuulira Enjiri ey’obwakabaka. Era buli we yatuukanga n’awonya abalwadde n’abakoozimbye bonna.

Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.

Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.

Obudde bwe bwawungeera, ne bamuleetera abalwadde bangi abaaliko baddayimooni. N’ayogera bwogezi kigambo baddayimooni n’abagoba, era n’awonya n’abalala bonna abaali balwadde. Bwe kityo ekigambo ekyayogerebwa mu nnabbi Isaaya ne kituukirira bwe yagamba nti:

"Yatuwonya endwadde zaffe,

era n’atwala obunafu bwaffe."

nnali bwereere ne munnyambaza, nnali mulwadde ne munnambula, nnali mu kkomera ne mujja okundaba.

"Abatuukirivu ne bamubuuza nti, Mukama waffe, twakulaba ddi ng’oli muyala ne tukuliisa? Oba ng’olina ennyonta ne tukuwa ekyokunywa? Oba ng’oli mugenyi ne tukwaniriza? Oba ng’oli bwereere, ne tukwambaza? Twakulaba ddi ng’oli mulwadde oba ng’oli mu kkomera ne tukulambula?

"Kabaka, alibaddamu nti, Ddala ddala mbagamba nti bwe mwabikolera baganda bange bano abasembayo wansi kye kimu mwabikolera nze!

Yesu bwe yakiwulira n’abagamba nti, "Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde! Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi."

Muwonyenga abalwadde abalimu, era mugambenga abantu abo nti, Obwakabaka bwa Katonda bubasemberedde.

Yesu Atuma Ekkumi n’Ababiri

Awo olunaku lwali lumu Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri bonna awamu, n’abawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu n’okuwonya endwadde. N’abawa obuyinza n’abatuma bagende bategeeze abantu ebigambo by’obwakabaka bwa Katonda era bawonye n’abalwadde.

Promessas de cura

Eu sou o Senhor que te sara. As Escrituras prometem cura para o corpo e para a alma aos que confiam em Deus.

ng’agamba nti, "Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe."

Oweerezanga Mukama Katonda wo yekka, emmere yo n’amazzi go ndyoke mbiwe omukisa. Ndiggyawo endwadde mu mmwe;

Oweerezanga Mukama Katonda wo yekka, emmere yo n’amazzi go ndyoke mbiwe omukisa. Ndiggyawo endwadde mu mmwe;

Mponya, Ayi Mukama, nange nnaawona,

ndokola nange nnaalokoka,

kubanga ggwe gwe ntendereza.

Asonyiwa ebibi byo byonna,

n’awonya n’endwadde zo zonna.

Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,

era ajjanjaba ebiwundu byabwe.

Mukama azibula amaaso ga bamuzibe,

era awanirira abazitoowereddwa.

Mukama ayagala abatuukirivu.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

Alina omukisa asaasira omunaku;

Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.

Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe,

era anaamuwanga omukisa mu nsi;

n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.

Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde;

n’amuwonya mu bulumi.

Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bw’oli mu mwoyo.

Oração pelos doentes

A oração da fé salvará o enfermo. Confessai as ofensas uns aos outros e orai uns pelos outros para serdes curados.

Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze b’Ekkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye. Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa.

Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze b’Ekkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye. Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa.

Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba n’omutima omumalirivu ogw’omuntu omutuukirivu, kubeera n’obuyinza bungi, era n’ebivaamu biba bya ttendo.

okusingira ddala okubikkulirwa kwe nafuna. Noolwekyo olw’obutagulumizibwa nnyo, kyenava nfumitibwa eriggwa mu mubiri, ye mubaka wa Setaani, ankube nneme okugulumizibwa ennyo.

Emirundi esatu egy’enjawulo nga nsaba Mukama amponye eriggwa eryo. Buli mulundi ng’aŋŋamba nti, "Ekisa kyange kikumala, kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu." Noolwekyo kyennaavanga nneegulumiza n’essanyu lingi olw’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke galabisibwe. Kyenva nsanyukira mu bunafu, mu kuvumibwa, mu bizibu, mu kuyigganyizibwa, mu binzitoowerera, ku lwa Kristo, kubanga buli bwe mba omunafu, olwo nga ndi wa maanyi.

Esperança na aflição

Ele tomou sobre si as nossas enfermidades. Mesmo na doença, o coração alegre serve de bom remédio e Deus dá esperança.

Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe,

obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga.

Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe

kyali kibonerezo okuva eri Katonda.

Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, n’atwala ennaku yaffe,

obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga.

Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe

kyali kibonerezo okuva eri Katonda.

Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku n’obuyinike.

Tetwayagala na kumutunulako,

ng’omuntu gwe wandikubye amabega ng’ayitawo,

bwe twamunyooma ne tutamuyitamu ka buntu.

Omutima ogw’essanyu ddagala ddungi,

naye omwoyo omunyiikaavu gukozza omubiri.

Omwoyo gw’omuntu gumuwanirira mu bulwadde,

naye emmeeme eyennyise ani ayinza okugigumiikiriza?

Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima,

naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu.

Bwe nasirikiranga ekibi kyange,

ne nkogga,

kubanga nasindanga olunaku lwonna.

era mumanyi nga mu bunafu obw’omubiri, mmwe be nasooka okubuulira Enjiri. Naye newaakubadde nga mwandinnyomye olw’obulwadde bwange, temwangobaganya, wabula mwansembeza nga malayika wa Katonda, nga Yesu Kristo.

Lekeraawo okunywanga amazzi gokka, naye nywanga ne ku wayini mutono olw’olubuto lwo, n’olwokulwalalwala kwo.

Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo."

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-