Publicidade

Encorajamento

Por Bíblia Online

O encorajamento é uma das vocações mais lindas do cristão. A Bíblia transborda de palavras de ânimo: não temas, levanta-te, Eu sou contigo. Deus nos encoraja para encorajarmos outros.

Não temas

Deus diz repetidamente: não temas, Eu sou contigo. Ele fortalece, sustenta e caminha ao nosso lado em cada desafio.

Totya kubanga nze ndi wamu naawe;

tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo.

Nnaakuwanga amaanyi.

Wewaawo nnaakuyambanga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange."

Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu

nnaabeeranga naawe,

ne bw’onooyitanga mu migga

tegirikusaanyaawo;

bw’onooyitanga mu muliro

tegukwokyenga,

ennimi z’omuliro tezirikwokya.

Kubanga oli wa muwendo gye ndi, ow’ekitiibwa,

era kubanga nkwagala,

ndiwaayo abasajja ku lulwo

mpeeyo n’abantu ku lw’obulamu bwo.

Totya, kubanga nze ndi nawe,

ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba

era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.

"Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi.

Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa.

Olyerabira ensonyi z’obuvubuka bwo,

n’ekivume ky’obwannamwandu bwo tolikijjukira nate.

Mukama n’alyoka agamba nti,

"Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya.

Neeraga abo abaali tebannoonya.

Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ng’aŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’

Naye abo abalindirira Mukama

baliddamu buggya amaanyi gaabwe,

balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;

balidduka mbiro ne batakoowa,

balitambula naye ne batazirika.

Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ng’abuuza nti, "Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?"

Ne ndyoka njogera nti, "Nze wendi! Tuma nze!"

Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga Mukama Katonda wo anaabanga naawe buli gy’onoogendanga."

Si nze nkulagidde? Noolwekyo ddamu amaanyi, guma omwoyo, totya era toterebuka kubanga Mukama Katonda wo anaabanga naawe buli gy’onoogendanga."

Abantu ne balyoka baddamu ne bagamba nti, "Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala. Mukama Katonda waffe ye yatuggya ffe ne bajjajjaffe mu Misiri mu nsi ey’obuddu, n’akola ebyewuunyo eby’ekitalo nga tulaba, n’atukuuma mu kkubo lyonna ne mu mawanga gonna ge twayitamu.

Beera n’amaanyi era ogume omwoyo. Tobatya wadde okubatekemukira, kubanga Mukama Katonda wo anaagendanga naawe buli w’onoddanga, taakulekenga so taakwabulirenga."

Mukama Katonda yennyini y’ajjanga okukukulemberanga. Anaabanga naawe bulijjo, taakulekenga so taakwabulirenga. Totya so totekemuka."

Deus está conosco

Se Deus é por nós, quem será contra nós? Tudo posso naquele que me fortalece. Ele nos encoraja pela sua presença.

Kale tunaagamba ki ku bintu bino? Katonda bw’abeera ku lwaffe, ani asobola okutulwanyisa?

Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, "Aba, Kitaffe."

Buli omu ku ffe asanyusenga muliraanwa we mu bulungi olw’okumuzimba mu kukkiriza.

Kaakano Katonda w’okugumiikiriza era azaamu amaanyi, abawe okulowoozanga obumu buli omu eri munne mu Kristo Yesu,

Kubanga neesunga nnyo okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo eky’omwoyo, mulyoke munywezebwe okutuuka ku nkomerero, kwe kugamba: twezengamu amaanyi ffekka ne ffekka olw’okukkiriza kwe tulina.

Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.

Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu.

Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya.

Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo.

Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa eky’amaanyi eky’emirembe n’emirembe.

Naye kaakano tulina ekyobugagga kino mu bibya eby’ebbumba, okulaga nti obuyinza bwonna bwa Katonda, so si bwaffe. Tunyigirizibwa erudda n’erudda, naye ne tutabetenteka. Ne tweraliikirira, naye ne tutazirika. Tuyigganyizibwa, naye Katonda tatuleka. Tusuulibwa wansi, naye ne tutabetentuka, nga tulaga okufa kwa Yesu bulijjo mu mibiri gyaffe, okufa kwa Yesu kulyoke kulabisibwe mu mibiri gyaffe. Kubanga ffe abalamu tuweebwayo eri okufa olwa Yesu, obulamu bwa Yesu bulyoke bulabisibwe mu mibiri gyaffe.

Noolwekyo bwe tumanya entiisa ya Katonda, kyetuva tukola obutaweera okuleeta abantu eri Kristo, era kye tuli kimanyiddwa eri Katonda, era nsuubira nga bwe kiri ne mu mitima gyammwe. Tetugezaako kuddamu kubeenyumiririzaako, naye tubawa omukisa okwenyumiriza ku lwaffe, musobole okuba n’eky’okuddamu abo ababeewaanirako kyokka nga mu mitima gyabwe si ba mazima. Bwe tuwulikika ng’abagudde eddalu olw’ebyo bye tweyogerako, tukikoze ku bwammwe. Kubanga okwagala kwa Katonda kutuwaliriza, ng’omu bwe yafiirira bonna, bonna kyebaava bafa. Yafiirira abantu bonna; abalamu balemenga okubeera abalamu ku bwabwe bokka, wabula ku bw’oyo eyabafiirira era n’azuukira, okuva kaakano, tuleme okumanya omuntu yenna mu mubiri, bwe tuba nga ddala twamanya Kristo mu mubiri. Naye kaakano tetukyamumanyi bwe tutyo. Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya. Ebintu byonna biva eri Katonda eyatukomyawo gy’ali nga tuyita mu Kristo, era ne tuweebwa obuweereza obw’okutabaganya. Kubanga Katonda yali mu Kristo, ng’atabagana n’abantu, nga tababalira, bibi byabwe, n’atuteresa ffe obubaka obw’okutabaganya. Noolwekyo ku bwa Kristo tuli babaka, era Katonda atuma ffe okwogera nammwe. Kyetuva tubeegayirira, ku bwa Kristo, mutabagane ne Katonda. Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.

Kuba obanga mulina obumalirivu nga buli muntu bw’alina, buli muntu aweeyo okusinziira ku ekyo ky’alina so si ky’atalina.

Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe, atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi.

Ânimo nas lutas

No mundo tereis aflições, mas tende bom ânimo — Eu venci o mundo. O Senhor é refúgio seguro em toda tribulação.

"Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi."

"Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi."

Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.

Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.

Mu kwagala temuliimu kutya, kubanga okwagala okutuukiridde kumalawo okutya; kubanga okutya kulimu okubonerezebwa, na buli atya, aba tannatuukirira mu kwagala.

Promessas de conforto

Vinde a mim os cansados e sobrecarregados. Lança sobre Ele tuas ansiedades, pois Ele cuida de ti.

"Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.

Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena.

Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,

ajja kukuwanirira;

kubanga talireka mutuukirivu kugwa.

Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;

kubanga ggwe oli nange.

Oluga lwo n’omuggo gwo

bye binsanyusa.

Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;

kubanga ggwe oli nange.

Oluga lwo n’omuggo gwo

bye binsanyusa.

Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;

ani gwe nnaatyanga?

Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;

ani asobola okuntiisa?

Lindirira Mukama.

Ddamu amaanyi, ogume omwoyo.

Weewaawo, lindirira Mukama.

Muddeemu amaanyi mugume omwoyo

mmwe mwenna abalina essuubi mu Mukama.

Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;

nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.

Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;

omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.

Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,

ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;

amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu

ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.

Buli lwe ntya,

neesiga ggwe.

Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye,

ye Katonda gwe neesiga; siityenga.

Abantu obuntu bagenda kunkolako ki?

Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe,

otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe;

weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.

Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,

okubeerwa kwange kuva wa?

Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,

eyakola eggulu n’ensi.

Nkulembeza Mukama buli kiseera,

era ali ku mukono gwange ogwa ddyo,

siinyeenyezebwenga.

Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;

era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.

Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;

kubanga abakunoonya tobaleka bokka.

Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako.

Ekyo, kijja kubasanyusa nnyo newaakubadde nga mujja kusanga ebizibu bya ngeri nnyingi okumala akaseera.

Bwe munaafubanga okukola ekituufu, ani anaabakolanga akabi? Naye era ne bwe munaabonyaabonyezebwanga olw’obutuukirivu, mulina omukisa. "Temutya bye batya; temutekemuka."

Encorajar uns aos outros

Encorajai-vos mutuamente e edificai-vos uns aos outros. Não desanimemos — a bondade do Senhor é nova a cada manhã.

Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola.

Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola.

era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi. Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.

Mwewalenga omululu, bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti,

"Sirikuleka

era sirikwabulira n’akatono."

Kyetuva twogera n’obuvumu nti,

"Mukama ye mubeezi wange, siityenga,

omuntu ayinza kunkola ki?"

Noolwekyo, baganda bange abaagalwa, mubenga banywevu era abatasagaasagana nga mweyongeranga bulijjo okukola omulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.

Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi.

Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi.

Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.

Dawudi n’ayongera n’agamba Sulemaani mutabani we nti, "Ba n’amaanyi era guma omwoyo, okole omulimu. Totya so totekemuka wadde okuggwamu omwoyo, kubanga Mukama Katonda, Katonda wange ali wamu naawe. Taakwabulirenga so taakulekenga okutuusa omulimu gwonna ogw’okuweereza ogwa yeekaalu ye Mukama nga guwedde.

Mukama Katonda ali naawe,

ow’amaanyi alokola:

alikusanyukira,

alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,

alikusanyukira n’okuyimba."

Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso," bw’ayogera Mukama.

Buli mulimu ogukolebwa n’amaanyi gubaako amagoba,

naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka.

Yesu n’abagamba nti, "Mujje mungoberere nange ndibafuula abavubi b’abantu!" Amangwago ne baleka obutimba bwabwe ne bamugoberera.

Deus chama pelo nome

Ao longo da Bíblia, Deus chamou seus servos pelo nome — Abraão, Moisés, Samuel, Paulo — encorajando cada um pessoalmente.

Katonda n’ayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro, n’amuyita nti, "Yakobo, Yakobo?"

N’amuddamu nti, "Nze nzuuno."

Ne mu kirooto ekyo malayika wa Katonda n’ampita nti, ‘Yakobo.’ Ne nziramu nti, ‘Nze nzuuno.’

Naye malayika wa Mukama n’amukoowoola ng’asinziira mu ggulu, n’agamba nti, "Ibulayimu! Ibulayimu!"

Ibulayimu n’addamu nti, "Nze nzuuno." N’amugamba nti,

Mukama bwe yalaba nga Musa agenze okwetegereza, Katonda n’amuyita ng’asinziira mu kisaka wakati nti, "Musa, Musa!" Musa n’ayitaba nti, "Nze nzuuno."

naye Eri n’amuyita n’amugamba nti, "Samwiri, mwana wange." N’addamu nti, "Nze nzuuno."

Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, "Ananiya!"

N’addamu nti, "Nze nzuuno, Mukama wange."

Maliyamu n’addamu nti, "Nze ndi muweereza wa Mukama, kibe ku nze nga bw’ogambye." Malayika n’ava w’ali, n’agenda.

Enkazaluggya ettaano tezigula sente bbiri zokka? Naye Katonda tazeerabira wadde emu bw’eti. Era amanyi enviiri eziri ku mutwe gwo nga bwe zenkana obungi. Temutya kubanga mmwe muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-22_10-02-25-