Ensinar
Ensinar é mandamento e dom. A Bíblia exorta pais, líderes e mestres a transmitir a verdade divina com fidelidade, paciência e sabedoria para as próximas gerações.
Ensinar a Palavra
Toda Escritura é útil para ensinar. Quem ouve as palavras de Jesus e as pratica é como o homem sábio que construiu sobre a rocha.
Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.
"Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi.
Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe.
Kubanga ebyawandiikibwa byonna edda, byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tugumiikirizenga era tuzzibwemu amaanyi, ate tube n’essuubi.
Engero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.
Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga,
era n’okutegeera ebigambo eby’obulabufu; eby’obulamu eby’amagezi n’empisa.
Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi,
okukolanga ebituufu, n’okubeera abenkanya n’okugobereranga ensonga;
okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu,
n’abavubuka okufuna okumanya n’okutegeera.
N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga
n’abategeevu beeyongere okubangulwa.
Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero,
enjogera n’ebikokyo.
Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.
Instruir as gerações
Ensina a criança nos caminhos de Deus. A geração que não conhece o Senhor perde a herança espiritual da fé.
Oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’amaanyi go gonna. Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose.
Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,
era tolekanga kukuutira kwa maama wo;
bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,
n’emikuufu mu bulago bwo.
Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo,
era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.
Bisibenga ku mutima gwo ennaku zonna
era obisibe binywerere mu bulago bwo.
Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga,
ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga,
ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.
Kubanga amateeka ttabaaza,
era n’okuyigiriza kitangaala,
okukulabula olw’okukuluŋŋamya,
ly’ekkubo ery’obulamu,
Funa amagezi; funa okutegeera,
teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.
Togalekanga, nago ganaakukuumanga,
gaagale nago ganaakulabiriranga.
Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu;
noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa,
gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa.
Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga:
kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo.
Toyingiranga mu kkubo ly’abakozi b’ebibi,
wadde okutambulira mu kkubo ly’abantu aboonoonyi.
Ekisinga byonna kuuma omutima gwo,
kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.
Weewalire ddala eby’obubambavu
era n’okwogera ebya swakaba.
Amaaso go gatunulenga butereevu,
era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga.
Ttereeza bulungi amakubo go;
okwate amakubo ageesigika gokka.
Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono;
ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.
Okuyigiriza kw’omuntu alina amagezi nsulo ya bulamu,
era kuggya omuntu mu mitego gy’okufa.
"Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange,
musseeyo omwoyo ku bye njogera.
Ndyogerera mu ngero,
njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda,
ebintu bye twawulira ne tumanya;
ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza.
Tetuubikisenga baana baabwe,
naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo
ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo,
n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola.
Awo ab’omulembe gwa Yoswa bonna bwe baafa ne baggwaawo ne waddawo omulembe gw’abataamanya Mukama yadde ebikolwa eby’amaanyi bye yakolera Abayisirayiri.
Fidelidade no ensino
Quem ensina com fidelidade merece dupla honra. Cuidado com doutrinas falsas — permaneçam na doutrina de Cristo.
Abakulembeze abafuga basaanidde okuweebwanga ekitiibwa kingi, na ddala abo abanyiikira ennyo mu kubuulira n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda. Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti, "Ente ng’ewuula eŋŋaano, togisibanga mumwa." Era nti, "Omukozi asaanira okusasulwa empeera ye."
Weewalenga ebigambo ebinyooma era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi mu butatya Katonda. Era ebigambo byabwe birisaasaana nga kookolo; mu abo mwe muli Kumenayo ne Fireeto,
Buli asukka ku ebyo Kristo by’ayigiriza n’atabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe n’Omwana.
Awo mu makkati g’embaga Yesu n’ayambuka mu Yeekaalu n’ayigiriza. Abakulembeze b’Abayudaaya ne beewuunya nga bagamba nti, "Omuntu ono ayinza atya okumanya okusoma so nga tasomangako?"
Awo Yesu kwe kubaddamu nti, "Nze sibayigiriza byange ku bwange, wabula eby’oyo eyantuma. Buli ayagala okukola Katonda by’ayagala, ategeera obanga bye njigiriza byange ku bwange oba bya Katonda. Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, naye oyo anoonya ekitiibwa ky’oyo eyantuma wa mazima so n’obutali butuukirivu tebuba mu ye. Musa teyabawa amateeka?