Espírito
O espírito humano é a parte mais profunda do nosso ser — onde Deus habita, onde a fé se ancora e de onde brota a verdadeira adoração. A Bíblia nos chama a viver pelo Espírito.
A natureza do espírito
O espírito está pronto, mas a carne é fraca. A batalha entre carne e espírito é constante e exige vigilância.
Mutunule nga bwe musaba. Omwoyo gwo gwagala, naye omubiri gwe munafu!"
"Balina omukisa abaavu mu mwoyo,
kubanga abo Obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe.
Kubanga okwegomba kw’omubiri kulwanagana n’Omwoyo, n’Omwoyo n’alwanagana n’omubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala.
Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri.
Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.
Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo.
Okulowooleza mu by’omubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu n’emirembe.
O Espírito de Deus em nós
Vosso corpo é templo do Espírito Santo. Deus fortalece com poder no homem interior pelo seu Espírito.
Oba temumanyi ng’omubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era n’emibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.
Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo.
Kubanga muntu ki ategeera eby’omuntu omulala okuggyako omwoyo w’omuntu oyo ali mu ffe? Noolwekyo n’ebintu bya Katonda tewali abimanyi okuggyako Omwoyo wa Katonda.
Kale kino ki? Nnaasinzanga Katonda n’omwoyo gwange awamu n’amagezi gange era nnaayimbanga mu mwoyo gwange awamu n’amagezi gange.
Nsaba Katonda oyo akola eby’ekitalo era agulumizibwa, agumyenga era anywezenga omuntu wammwe ow’omunda, olw’Omwoyo we, Kristo alyoke abeerenga mu mitima gyammwe olw’okukkiriza kwammwe. Mbasabira mubeerenga n’emirandira mu kwagala nga mukunywereddemu,
ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe Omwoyo ow’amagezi n’okubikkulirwa mweyongere okumutegeera.
Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, "Aba, Kitaffe." Omwoyo yennyini akakasiza wamu n’omwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda.
Omwoyo yennyini akakasiza wamu n’omwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda.
Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, "Aba, Kitaffe."
Era obanga Kristo ali mu mmwe, omubiri gwammwe mufu olw’ekibi, ate ng’omwoyo gwammwe mulamu olw’obutuukirivu.
kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda.
N’Omwoyo bw’atyo atubeera mu bunafu bwaffe. Tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n’okusinda okutayogerekeka.
mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama,
Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.
Vida no Espírito
Deus é Espírito e importa que os que o adoram o adorem em espírito e em verdade. O Espírito vivifica e transforma.
Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima."
Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima."
Kaakano ffe ffenna, amaaso gaffe nga gabikuddwa, ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana mu ffe ng’endabirwamu emulisa ekitiibwa kye ne tukyusiibwa okumufaanana okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, ekiva eri Mukama waffe, Mwoyo.
Abaagalwa, nga bwe tulina ebisuubizo ng’ebyo, twetukuze mu buli kintu ekyonoona omubiri n’omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.
Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.
Kubanga Mwoyo wa Katonda, gwe yatuwa tatufuula bati, wabula atuwa amaanyi, n’okwagala era n’okwegendereza.
Kubanga mmanyi nti olw’okunsabira n’olw’amaanyi g’Omwoyo wa Yesu Kristo, ndifuna okulokolebwa kwange.
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
Amiina.
Promessas do Espírito
Derramarei o meu Espírito sobre toda a carne. O Espírito revela, guia e capacita os filhos de Deus.
Kale singa muwuliriza okunenya kwange,
laba, ndifuka omutima gwange
n’ebirowoozo byange mu mmwe.
Amakubo g’omuntu gonna gaba matuufu mu maaso ge ye,
naye Mukama y’apima ebigendererwa.
Amalala gakulembera okuzikirira,
n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.
Okubeera n’omwoyo ogwetoowaza era n’okubeera n’abaavu,
kisinga okugabana omunyago n’ab’amalala.
Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi,
n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.
Ettabaaza ya Mukama ekebera omwoyo gw’omuntu,
n’enoonya mu bitundu eby’omunda ennyo.
Awo n’addamu n’aŋŋamba nti, "Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: ‘Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa Mwoyo wange,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
n’abasibe bateebwe
bave mu makomera.
Ndibawa omutima gumu ne mbateekamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja, ne mbawa omutima ogw’ennyama. Oluvannyuma baligoberera ebiragiro byange, ne bagenderera okukuuma amateeka gange, era baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe.
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri amagumba gano nti, Laba ndibateekamu omukka ne mufuuka abalamu.
Cuidar do espírito
Cria em mim um coração puro e renova dentro de mim um espírito reto. O espírito quebrantado Deus não rejeita.
Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
Tongoba w’oli,
era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
Omutima ogumenyese era oguboneredde,
Ayi Katonda, toogugayenga.
Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.
Teweesiganga bafuzi,
wadde abantu obuntu omutali buyambi.
Kubanga bafa ne bakka emagombe;
ne ku lunaku olwo lwennyini, byonna bye baba bateeseteese ne bifa.
Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima.
Ng’omubiri bwe guba omufu omwoyo bwe gutagubeeramu, n’okukkiriza bwe kutyo kuba kufu bwe kuteeyolekera mu bikolwa.
Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi ab’obulimba bangi mu nsi.
Mu ekyo mwe tutegeerera nti Katonda ali mu ffe era naffe tuli mu Ye, olwa Mwoyo gw’atuwadde.
Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?"
Ku buli omu ne kutuulako ennimi ng’ez’omuliro. Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.
Ku lubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi. Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde, ekizikiza nga kibisse kungulu ku buziba, n’Omwoyo wa Katonda ng’atambulira ku mazzi.
Kyokka omwoyo oguli mu muntu,
nga gwe mukka gw’oyo Ayinzabyonna, gwe guwa omuntu okutegeera.
Jjukira omutonzi wo ng’omuguwa gwa ffeeza tegunnakutuka
oba ebbakuli eya zaabu nga tennayatika,
ng’ensuwa tennayatikira ku luzzi
obanga ne nnamuziga tennamenyekera ku luzzi,
ng’enfuufu edda mu ttaka mwe yava,
n’omwoyo ne gudda eri Katonda eyaguwa omuntu.
Lye ssanyu lyange okubategeeza ku bigambo eby’amagero era ebikulu Katonda Ali Waggulu Ennyo byankoledde.
Obubonero bwe nga bukulu,
n’eby’amagero bye nga byewuunyisa!
Obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe;
N’okufuga kwe tekuliggwaawo.