Pular para o conteúdo
Publicidade

Evangelização

Por Bíblia Online

A evangelização é a missão suprema da Igreja. Jesus mandou: ide por todo o mundo e pregai o evangelho a toda criatura. O evangelho é poder de Deus para a salvação de todo aquele que crê.

A Grande Comissão

Ide, fazei discípulos de todas as nações. Jesus confiou a seus seguidores a missão de levar a boa notícia ao mundo inteiro.

Kale mugende mufuule abantu bonna mu nsi zonna, abayigirizwa nga mubabatiza mu linnya lya Kitaffe, Omwana era Mwoyo Mutukuvu. Era mubayigirize okugonderanga byonna bye nabalagira mmwe, era Ndi nammwe bulijjo n’okutuukira ddala ensi lw’eriggwaawo."

N’abagamba nti, "Mugende mu nsi yonna mubuulire Enjiri eri abantu bonna.

Naye muliweebwa amaanyi, Mwoyo Mutukuvu bw’alimala okubakkako, era munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi, ne mu Buyudaaya yonna, ne mu Samaliya okutuukira ddala ku nkomerero z’ensi."

"Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga tekikwekebwa ku lusozi.

Omunnyo n’Omusana

"Mmwe muli munnyo gwa nsi. Naye kale bwe guggwaamu obuka, guliba munnyo nate? Olwo gukasukibwa ebweru ne gulinnyirirwa n’ebigere, nga tegukyalina mugaso gwonna.

Era omuntu takoleeza ttabaaza ate n’agisaanikirako ekibbo, wabula agiteeka ku kikondo n’emulisiza bonna abali mu nju. Kale nammwe ebikolwa byammwe ebirungi byakirenga abantu bonna, babirabenga, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.

Okuva mu kiseera ekyo Yesu n’atandika okubuulira nti, "Mwenenye, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu busembedde."

O poder do evangelho

O evangelho é poder de Deus para a salvação. A fé vem pelo ouvir, e o ouvir pela Palavra de Cristo.

Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya n’eri Omunnamawanga.

Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo.

Kubanga nasalawo obutamanya kintu kyonna mu mmwe wabula Yesu Kristo oyo eyakomererwa.

Kristo Yazuukira

Abooluganda, mbajjukiza Enjiri gye nababuulira era gye mwakkiriza era gye munywereddemu. Mulokolebwa lwa Njiri eyo gye nababuulira, bwe muginywererako, naye bwe kitaba bwe kityo muba mwakkiririza bwereere.

ge yabayitira ng’ayita mu Njiri yaffe mulyoke mufune ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo.

Testemunhar e proclamar

Estai sempre preparados para responder com mansidão a todo aquele que pedir razão da vossa esperança.

Mutyenga Mukama waffe Kristo mu mitima gyammwe. Era bulijjo mubenga beetegefu okuddamu buli ababuuza okunnyonnyola essuubi lyammwe,

Bwe munaayagalananga abantu bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange."

Bwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.

Kubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti,

" Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga,

olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ "

Naye obulamu bwange sibutwala kuba nga kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize omulimu gwange, n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri ey’ekisa kya Katonda.

"Omwoyo wa Mukama ali ku nze.

Anfuseeko amafuta okubuulira abaavu Enjiri.

Antumye okubuulira abasibe okuteebwa,

n’abazibe b’amaaso okuzibulwa amaaso balabe,

n’abanyigirizibwa okufuna eddembe,

Yesu n’amuddamu nti, "Njagala okubakakasiza ddala nti, Tewali muntu n’omu eyali yeeresezza ekintu kyonna, ng’amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana be, oba ettaka n’amayumba olw’okunjagala n’okubuulira Enjiri, ataliddizibwawo emirundi kikumi mu mulembe guno amaka, abooluganda, bannyina, nnyina, abaana, ettaka awamu n’okuyigganyizibwa! Ebyo byonna biriba bibye ku nsi kuno, ate ne mu nsi egenda okujja afunemu obulamu obutaliggwaawo.

Kubanga buli eyeemalira ku bulamu bwe, alibufiirwa. Naye oyo awaayo obulamu bwe ku lwange ne ku lw’Enjiri alibuwonya.

Fazer conhecer

Dai graças ao Senhor, invocai o seu nome, fazei conhecidas as suas obras entre os povos.

Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;

amawanga gonna mugategeeze by’akoze.

Era ku lunaku olwo mulyogera nti,

"Mwebaze Mukama Katonda, mukoowoole erinnya lye,

mubuulire ebikolwa bye mu mawanga,

mwogere nti erinnya lye ligulumizibwe.

Katonda bw’atyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obw’ekitiibwa ky’ekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era ly’essuubi ery’ekitiibwa.

Enjigiriza Entuufu

Naye ggwe yogeranga ebyo ebitayawukana na njigiriza entuufu.

Olwo ndyolesa obukulu bwange n’obutukuvu bwange, era ndyeraga eri amawanga mangi, ne balyoka bamanya nga Nze Mukama Katonda.’ "

Seja o primeiro