Juízo
O juízo de Deus é manifestação de sua justiça e soberania. Ele julga o mundo, julga as nações e julga cada coração com perfeita equidade e misericórdia.
O juízo de Deus
Deus é juiz justo que prova os corações. Seu juízo é verdadeiro e alcança toda obra, secreta ou pública.
Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa;
ekyo ekyakwekebwa,
nga kirungi oba nga kibi.
Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’azuukiza abafu, bw’atyo n’Omwana awa obulamu abo baayagala. Era Kitaawe w’Omwana talina n’omu gw’asalira musango, naye obuyinza obw’okusala emisango gyonna yabuwa Omwana we, abantu bonna balyoke bassengamu Omwana ekitiibwa nga bwe bassa mu Kitaawe ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Kitaawe eyamutuma tamussaamu kitiibwa.
"Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu. Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu. Kubanga nga Kitaawe w’Omwana bw’alina obulamu mu ye, bw’atyo bwe yawa Omwana okuba n’obulamu mu ye, era yamuwa obuyinza okusalira abantu emisango, kubanga ye Mwana w’Omuntu.
"Ekyo tekibeewuunyisa, kubanga ekiseera kijja abafu abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu kubanga be baakola ebintu ebirungi, era balifuna obulamu obutaggwaawo, naye abo abaakolanga ebibi balizuukira ne babonerezebwa. Kyokka Nze siyinza kukola kintu kyonna ku bwange. Kitange nga bw’aŋŋamba bwe nkola, era n’omusango gwe nsala gwa nsonga kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by’ayagala. Singa nneeyogerako nzekka, bye nneyogerako tebiba bya mazima.
Naye mbategeereza ddala nti ekisinga obulungi gye muli Nze kwe kugenda. Kubanga bwe sigenda Omubeezi tagenda kujja, kyokka bwe ŋŋenda, ndimutuma gye muli. Ye bw’alijja, alirumiriza ensi olw’ekibi, n’olw’obutuukirivu n’olw’omusango, kubanga tebanzikkiriza,
Yesu n’abagamba nti, "Eddoboozi lino lizze ku lwammwe, so si ku lwange. Ekiseera ky’ensi okusalirwa omusango kituuse, era omufuzi w’ensi eno anaagoberwa ebweru. Bwe ndiwanikibwa okuva mu nsi, ndiwalulira bonna gye ndi."
Omusajja n’agamba nti, "Mukama wange, nzikiriza!" N’amusinza.
Awo Yesu n’agamba nti, "Najja mu nsi okusala omusango, abatalaba balabe, ate naabo abalaba babe bazibe ba maaso."
Prestando contas
Cada um prestará contas de si mesmo a Deus. O juízo começa pela casa de Deus e depois alcança os que não obedecem ao evangelho.
Mwanirizenga omunafu mu kukkiriza, nga temumusalira musango. Wabaawo omuntu omu akkiririza mu kulya ebintu byonna, nga so ye omunafu akoma ku nva kwokka. Omuntu asalawo okubaako ky’alya tanyoomanga atakirya, n’oyo atalya kintu alemenga kusalira musango oyo akirya kubanga Katonda yamusembeza. Ggwe ani asalira omusango omuweereza w’omuntu omulala? Mukama we y’amanya oba atuukiriza emirimu gye oba tagituukiriza. Naye aligituukiriza kubanga Mukama we alimusobozesa.
Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.
Noolwekyo tetusaliragananga misango. Tumalirire obuteesittaza waluganda wadde okumutega okugwa mu kibi. Mmanyi era nkakasiza ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kya muzizo ku bwakyo, wabula kya muzizo eri oyo akirowooza nga kya muzizo.
Kubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ng’atandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda?
Noolwekyo temusalanga musango ekiseera nga tekinnatuuka okutuusa Mukama waffe lw’alijja, alimulisa ebyakwekebwa eby’ekizikiza, n’ayolesa n’ebigendererwa by’omutima, buli muntu n’alyoka atendebwa Katonda.
Kubanga nga bwe musalira abalala nammwe bwe mujjanga okusalirwa. Ekigera kye mugereramu, nammwe kye muligererwamu."
"Ofaayo ki ku kasasiro akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba? Oyinza otya okugamba muganda wo nti, ‘Leka nkuggyeko akasasiro akakuli ku liiso,’ so nga ku liryo kuliko kisiki?
Justiça e redenção
O juízo de Deus é também redenção. Ele livrou Israel do Egito com juízos e salva os arrependidos pela cruz de Cristo.
"Noolwekyo tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama. Ndibatikkulako emigugu gy’Abamisiri, era ndibawonya obuddu, ne mbanunula n’omukono gwange ogw’amaanyi nga nsalira Abamisiri omusango.
"Kubanga mu kiro ekyo ndiyita mu nsi ya Misiri, nditta buli kibereberye kyonna mu nsi y’e Misiri, abantu era n’ebisolo; era bakatonda bonna ab’omu Misiri ndibasalira omusango. Nze Mukama.
Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
Sayuuni akiwulira n’asanyuka,
n’ebyalo bya Yuda bijaguza;
kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.
Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,
era ne babissessebbula n’obubazzi.
Bookezza awatukuvu wo;
ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi mu ggulu nga bagamba nti,
"Aleruuya!
Obulokozi n’ekitiibwa n’amaanyi bya Katonda waffe.
Kubanga ensala ye ey’emisango ya mazima era ya butuukirivu.
Yabonereza malaaya omukulu
eyayonoona ensi n’obwenzi bwe.
Era yawoolera eggwanga ku mwenzi oyo olw’omusaayi gw’abaweereza be."
Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
"Aleruuya!
Omukka ogw’okwokebwa kwe n’omuliro, gunyooka emirembe n’emirembe!"