Lei de Deus: o que é e qual o seu propósito
O que é a lei de Deus e qual é o seu propósito
A lei na Bíblia é a revelação da vontade e do caráter de Deus, dada para orientar o relacionamento humano com o Criador e com o próximo. Seu papel não é salvar por esforço próprio, mas expor o pecado e apontar a necessidade da redenção em Cristo.
O apóstolo Paulo ensina que a lei atua como um padrão que torna o ser humano consciente de suas falhas. Em vez de anular a responsabilidade moral, a graça capacita o crente a viver os princípios justos da lei guiado pelo Espírito.
Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu mu maaso ga Katonda olw’ebikolwa by’amateeka. Mu mateeka mwe tutegeerera ddala ekibi.(Abaruumi 3:20)
Kale tukole tutya? Kale tukole ekibi kubanga tetufugibwa mateeka wabula ekisa kya Katonda? Kikafuuwe.(Abaruumi 6:15)
Byonna bikkirizibwa, naye si byonna ebirimu omugaso. Byonna bikkirizibwa naye si byonna ebizimba.(1 Abakkolinso 10:23)
Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: "Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka."(Abaggalatiya 5:14)
Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.(Abaggalatiya 5:22,23)
Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo.(Abaggalatiya 6:2)
O cumprimento da lei no amor
Jesus resumiu as exigências morais da Escritura em dois mandamentos fundamentais: amar a Deus sobre todas as coisas e amar o próximo como a si mesmo. O amor cumpre a lei porque quem age com misericórdia e justiça não comete dano contra ninguém.
N’eryokubiri lye lino nti, ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewaliiwo mateeka malala gasinga ago bukulu."(Makko 12:31)
Kye mbalagira kye kino nti mwagalanenga nga Nze bwe mbaagala.(Yokaana 15:12)
Noolwekyo ebintu byonna bye mwagala abantu okubakoleranga, nammwe mubibakoleranga, kubanga ebyo bye biri mu mateeka ne mu bunnabbi."(Matayo 7:12)
Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga; kubanga ayagala muntu munne ng’atuukiriza amateeka.(Abaruumi 13:8)
Era Katonda yennyini yatulagira nti, "Buli ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we."(1 Yokaana 4:21)
Abaagalwa, omutima gwaffe bwe gutatusalira musango, tuba bagumu mu maaso ga Katonda. Era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tugondera ebiragiro bye, era ne tukola ebimusanyusa.(1 Yokaana 3:21,22)
A instrução de Deus no Antigo Testamento
No hebraico bíblico, a palavra comumente traduzida por lei (Torah) significa instrução, ensino ou direção. Para o povo de Israel, os mandamentos não eram vistos apenas como restrições jurídicas, mas como um caminho de sabedoria, preservação da vida e aliança com o Senhor.
Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose.(Ekyamateeka Olwokubiri 6:6,7)
Kale nno, ggwe Isirayiri, kiki Mukama Katonda wo ky’akwetaagako wabula okutya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagalanga, n’okuweerezanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna, n’okugonderanga amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye, nga bwe nkukuutira leero olw’obulungi bwo?(Ekyamateeka Olwokubiri 10:12,13)
Bw’onoogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge gonna ge nkuwa leero, Mukama Katonda wo alikugulumiza n’akuteeka waggulu w’amawanga gonna ag’oku nsi.(Ekyamateeka Olwokubiri 28:1)
Kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, awamu n’okukwatanga amateeka ge n’okugobereranga ebiragiro bye byonna. Bw’onookolanga bw’otyo ojjanga kuba mulamu era oyale, ne Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’oyingira okugifuna.(Ekyamateeka Olwokubiri 30:16)
Ekitabo kino eky’amateeka tekikuvanga mu kamwa, okifumiitirizangako emisana n’ekiro olyoke oteekenga mu nkola ebyo bye kikulagira era bw’otyo bw’oneefunira obuwanguzi n’okukulaakulana.(Yoswa 1:8)
Wabula mwegendereze okukuumanga ebiragiro era n’amateeka Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, okukuumanga ebiragiro bye, n’okumunywererangako era n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna era n’emmeeme yammwe yonna."(Yoswa 22:5)
Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo
emirembe gyonna,
n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.
Be bo abakuuma endagaano ye
ne bajjukira okugondera amateeka ge.(Zabbuli 103:17,18)
Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
tonzikiriza kuva ku mateeka go.(Zabbuli 119:10)
Nonzeewo okubeera omwesigwa;
ntambulire mu ebyo bye walagira.(Zabbuli 119:30)
A exigência de justiça e integridade
A obediência aos mandamentos não se resume a práticas formais. Os profetas bíblicos advertiram que qualquer observância religiosa desprovida de integridade moral, socorro ao vulnerável e prática da justiça é rejeitada por Deus.
Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.(Mikka 6:8)
Kye njagala okulaba ge mazima n’obwenkanya nga bikulukuta ng’amazzi,
n’obutuukirivu nga bukulukuta ng’omugga ogw’amaanyi.(Amosi 5:24)
Temwegattanga wamu n’abatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati w’obutuukirivu n’obujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza?(2 Abakkolinso 6:14)
Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.(Abaefeso 6:4)
Este artigo te tocou? Faça uma oração!
+581 estão orando agora.
Junte-se à corrente de oração.