Pular para o conteúdo
Publicidade

Língua

Por Bíblia Online

A língua tem poder de vida e de morte. A Bíblia compara a língua ao leme de um navio e à faísca que incendeia uma floresta. Dominar a língua é prova de maturidade espiritual.

O poder da língua

A morte e a vida estão no poder da língua. Quem a domina é varão perfeito, capaz de controlar todo o corpo.

Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta,

era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.

Ffenna tusobya mu ngeri nnyingi. Omuntu yenna atasobya mu kwogera, aba muntu eyatuukirira, asobola okufuga omubiri gwe gwonna.

Tuyinza okufuga embalaasi ne tugikozesa kye twagala olw’ebyuma bye tuba tutadde mu kamwa kaayo. Era n’enkasi entono esobola okukyusa ekyombo ekinene ennyo n’ekiraza omugoba waakyo gy’ayagala, newaakubadde ng’empewo ekisindika ebeera ya maanyi mangi. N’olulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya. Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gw’omuntu gwonna ne gwaka ng’oluyiira okumutuusa mu kuzikirira.

Abantu, ebisolo ebya buli ngeri n’ennyonyi, n’ebyekulula, era n’ebyomu nnyanja basobola okubiyigiriza ne babifuga, naye tewali muntu n’omu asobola kufuga lulimi. Terufugika era lubi nnyo, lujjudde obutwa obuttirawo.

Olulimi tulukozesa okutendereza Mukama era Kitaffe, ate era lwe tukolimiza abantu abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. Mu kamwa ke kamu ne muvaamu okutendereza n’okukolima. Abooluganda, kino si bwe kyandibadde bwe kityo! Ensulo y’emu eyinza okuvaamu amazzi agawoomerera n’agakaawa? Abooluganda omutiini guyinza okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? Bw’etyo n’ensulo y’emu teyinza kuvaamu mazzi ga munnyo na gawoomerera.

Palavras sábias

A língua branda quebra até ossos. A palavra certa no tempo certo é como maçãs de ouro em salvas de prata.

Muliraanwa n’Omulabe

Okugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi,

n’olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.

Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi,

naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya.

Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna,

naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera.

Mu bigambo ebingi temubula kwonoona,

naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.

Omusirusiru bw’asirika alowoozebwa okuba n’amugezi,

era aba mutegeevu bw’afuga akamwa ke.

Disciplinar a fala

Quem guarda a boca e a língua guarda a sua alma de angústias. A religião sem controle da língua é vã.

Omuntu yenna bwe yeerowooza nga wa ddiini, naye n’atafuga lulimi lwe, aba yeerimba, n’eddiini ye teriiko ky’egasa.

Nagamba nti, "Nneekuumanga mu bye nkola,

n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.

Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange

nnaabuniranga bubunizi ne soogera."

Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,

okuba mu ssanyu emyaka emingi?

Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,

n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.

Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,

n’olulimi lwe lwogera bya mazima.

Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe,

era ebigere bye tebiseerera.

Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,

era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.

Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,

okimanya nga sinnaba na kukyogera.

Omponye, Ayi Mukama,

emimwa egy’obulimba,

n’olulimi olw’obukuusa.

Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,

na buli lulimi olwenyumiriza;

nga boogera nti, "Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,

kubanga ani alitukuba ku mukono."

Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe;

kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.

Toda língua confessará

Ao nome de Jesus todo joelho se dobrará e toda língua confessará que Jesus Cristo é Senhor, para glória de Deus Pai.

Katonda kyeyava amugulumiza,

n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;

buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,

era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,

era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama,

Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Okwagala

Singa njogera ennimi z’abantu n’eza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba ng’ekidde, ekireekaana oba ng’ekitaasa ekisaala.

Era mbategeeza nti buli kigambo kyonna ekitasaana abantu kye boogera, kiribabuuzibwa ku lunaku olw’okusalirako emisango. Bwe bityo ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu era ebigambo byo bye birikusalizisa omusango."

Naye Mukama nakka okulaba ekibuga n’omunaala, abaana b’abantu kye baali bazimba. Mukama n’ayogera nti, "Laba, bali omuntu omu, era boogera olulimi lumu! Era eno ntandikwa butandikwa ey’ebyo bye banaakola; era tewali kye banaateesa kukola ekinaabalemerera. Mujje, tukke wansi tutabuletabule olulimi lwabwe, baleme kutegeeragana."

Bw’atyo Mukama n’abasaasaanya ne babuna ensi yonna, n’ekibuga kyabwe ne batakimaliriza. Ekibuga ekyo erinnya lyakyo kye lyava liyitibwa Babiri, kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw’ensi yonna. Eyo Mukama gye yabasaasaanyiza okubuna ensi yonna.

Seja o primeiro

Este artigo te tocou? Faça uma oração!

+581 estão orando agora.

Junte-se à corrente de oração.