Luz do mundo: o significado de Jesus nas Escrituras
O que significa Jesus ser a luz do mundo
Na Bíblia, a luz representa a verdade divina, a santidade e a salvação, enquanto as trevas simbolizam o pecado, o engano e a morte espiritual. Quando Jesus afirma "Eu sou a luz do mundo", ele declara ser a manifestação de Deus que liberta a humanidade da desorientação moral e concede vida eterna a quem o segue.
Jesus fez essa declaração no pátio do templo em Jerusalém, no contexto da Festa dos Tabernáculos. Durante essa festa judaica, grandes candelabros de ouro eram acesos para lembrar a coluna de fogo que guiou os israelitas pelo deserto. Ao aplicar essa imagem a si mesmo, Jesus indicou que ele é o guia verdadeiro que conduz o ser humano para fora das trevas do pecado.
Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, "Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu."(Yokaana 8:12)
Mu ye mwe mwali obulamu; era obulamu buno ne buba ekitangaala eri abantu. Omusana ne gwaka mu kizikiza, naye ekizikiza tekyaguyinza.(Yokaana 1:4,5)
Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi."(Yokaana 9:5)
Nze omusana nzize mu nsi buli anzikiriza aleme okusigala mu kizikiza.(Yokaana 12:46)
Era guno gwe musango nti: Omusana guzze mu nsi, kyokka abantu ne baagala ekizikiza okusinga omusana, kubanga ebikolwa byabwe bibi. Buli akola ebibi akyawa Omusana era tajja eri musana, ebikolwa bye bireme okumanyibwa. Naye buli ajja eri omusana akola eby’amazima, ebikolwa bye bimanyibwe nga byakolerwa mu Katonda."(Yokaana 3:19-21)
Deus como a fonte de toda luz
Antes de ser um título aplicado a Cristo, a luz define a própria natureza de Deus. O apóstolo João escreve que Deus é luz e que nele não há nenhuma treva, o que expressa sua pureza absoluta, fidelidade e justiça sem mancha.
Andar na luz divina não significa ausência de erros, mas sinceridade: significa viver com disposição de confessar o pecado, buscar o perdão e manter comunhão aberta com o Criador e com o próximo.
Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono.(1 Yokaana 1:5)
Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna.(1 Yokaana 1:7)
Buli kirabo ekirungi ekituukiridde, kiva mu ggulu eri Kitaffe, eyatonda eby’omu bbanga ebyaka, atakyukakyuka newaakubadde okwefuula ekirala.(Yakobo 1:17)
Por que os seguidores de Jesus são chamados luz do mundo
No Sermão do Monte, Jesus estendeu a mesma metáfora aos seus discípulos. Enquanto Cristo é a fonte primária de luz, os que creem nele funcionam como refletores: suas práticas de justiça, verdade e misericórdia evidenciam o Reino de Deus na sociedade.
Nas casas modestas da Galileia do primeiro século, uma lâmpada a óleo nunca era colocada debaixo de um cesto, mas sobre um velador para clarear todo o ambiente. Da mesma forma, a fé genuína não foi feita para ficar oculta, mas para transformar o testemunho diário em benefício de quem está ao redor.
"Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga tekikwekebwa ku lusozi. Era omuntu takoleeza ttabaaza ate n’agisaanikirako ekibbo, wabula agiteeka ku kikondo n’emulisiza bonna abali mu nju. Kale nammwe ebikolwa byammwe ebirungi byakirenga abantu bonna, babirabenga, bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.(Matayo 5:14-16)
abantu abaatuulanga mu kizikiza,
balabye Omusana mungi.
Abaatuulanga mu nsi ey’ekisiikirize eky’okufa,
omusana gubaakidde."(Matayo 4:16)
Naye mwe muli kika kironde, bakabona bw’obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza n’abayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika.(1 Peetero 2:9)
Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza.(1 Basessaloniika 5:5)
A Palavra de Deus como lâmpada nos Salmos
No Antigo Testamento, a metáfora da iluminação está diretamente ligada às Escrituras. No Salmo 119, o salmista compara os mandamentos de Deus a uma lâmpada para os pés e luz para o caminho, retratando o viajante que precisa ver onde pisa para não tropeçar na escuridão da noite.
A revelação divina não remove todos os obstáculos do caminho, mas oferece discernimento suficiente para que o fiel tome cada decisão conforme a vontade de Deus.
Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
era kye kimulisa ekkubo lyange.(Zabbuli 119:105)
Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;
n’atategeera bulungi bimugeziwaza.(Zabbuli 119:130)
Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
ani asobola okuntiisa?(Zabbuli 27:1)
Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,
era gw’otwakiza omusana.(Zabbuli 36:9)
Okoleezezza ettaala yange;
Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.(Zabbuli 18:28)
By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;
mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,
n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.(Zabbuli 37:5,6)
Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa.
Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala;
ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda
mu musana nga ndi mulamu?(Zabbuli 56:13)
Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
tulyoke tulokolebwe.(Zabbuli 80:19)
Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola;
wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo
awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.(Zabbuli 44:3)
Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo;
ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.(Zabbuli 31:16)
O confronto entre a verdade e as trevas
As Escrituras tratam a história humana como um campo de conflito moral e espiritual entre luz e escuridão. O apóstolo Paulo explica que a incredulidade opera como uma cegueira imposta pelo mal, que impede a mente humana de contemplar a glória do Evangelho.
Séculos antes, o profeta Isaías já havia anunciado a chegada da salvação messiânica como o nascer de um grande dia sobre povos que habitavam regiões de sombras e opressão.
Katonda w’emirembe gino yazibikira ebirowoozo by’abo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri ey’ekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda. Kubanga tetweyogerako wabula Kristo Yesu Mukama, naffe tuli baddu bammwe ku lwa Yesu. Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, "Omusana gwake mu kizikiza," ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.(2 Abakkolinso 4:4-6)
Temwegattanga wamu n’abatali bakkiriza, kubanga nkolagana ki eriwo wakati w’obutuukirivu n’obujeemu, oba kutabagana ki okuliwo wakati w’ekitangaala n’ekizikiza?(2 Abakkolinso 6:14)
Nnyongera okubasabira, amaaso g’emitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi ly’okuyitibwa kwammwe, n’obugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu n’abantu ba Katonda bonna.(Abaefeso 1:18)
Abantu abaatambuliranga mu kizikiza
balabye ekitangaala eky’amaanyi,
abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi,
omusana gubaakidde.(Isaaya 9:2)
"Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase
era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.
Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza
era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna,
naye ggwe Mukama alikwakirako
era ekitiibwa kye kikulabikeko.
Amawanga galijja eri omusana gwo
ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.(Isaaya 60:1-3)
"Mumpulirize, mmwe abantu bange;
era muntegere okutu mmwe ensi yange.
Kubanga etteeka lifuluma okuva gye ndi,
obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga.(Isaaya 51:4)
O testemunho cristão e a esperança final
Desde o primeiro comando da Criação no Gênesis até as visões finais do Apocalipse, a presença manifesta de Deus é descrita em termos de claridade e fulgor. Os primeiros cristãos entenderam que pregar a ressurreição de Jesus era cumprir a vocação profética de levar essa claridade até os confins da terra.
Jesus advertiu que o coração depende daquilo em que os olhos se fixam. Escolher a luz de Cristo exige abandonar a dissimulação do pecado, confiando na promessa bíblica de que, no Reino consumado de Deus, a escuridão deixará de existir para sempre.
Awo Katonda n’agamba nti, "Wabeerewo obutangaavu," ne waba obutangaavu.(Olubereberye 1:3)
" ‘Mukama Katonda akuwe omukisa,
akukuume;
Mukama Katonda akwakize amaaso ge
akukwatirwe ekisa;
Mukama Katonda akwolekeze amaaso ge
akuwe emirembe.’ (Okubala 6:24-26)
Abikkula ebyama ebyakisibwa edda;
amanyi ebifa mu nzikiza,
n’ekitangaala kibeera naye.(Danyeri 2:22)
Kubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti,
" ‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga,
olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ "(Ebikolwa by’Abatume 13:47)
Katonda kyavudde ankuuma okutuusa leero ndyoke nyimirire nga ndi mujulirwa eri ab’ekitiibwa era n’aba bulijjo, nga sirina kirala kye njogera, wabula ebyo bannabbi ne Musa bye baategeeza nga bigenda okujja nti Kristo kimugwanira okubonaabona, era abeere omubereberye mu kuzuukira kw’abafu, alyoke aleetere abantu bano n’Abamawanga omusana."(Ebikolwa by’Abatume 26:22,23)
"Tewali muntu akoleeza ttaala ate nagisaanikirako akalobo oba n’agissa wansi w’ekitanda. Agiwanika waggulu ku kikondo, olwo lw’esobola okumulisiza abantu abayingira.(Lukka 8:16)
Eriiso y’ettabaaza y’omubiri gwo. Eriiso bwe liba eddamu, n’omubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana. Naye eriiso bwe liba eddwadde, omubiri gwo gujjula ekizikiza.(Lukka 11:34)
Noolwekyo bye mwogeredde mu kizikiza biriwulirwa mu musana, n’ebyo bye mwogedde mu kaama, nga muli mu kisenge n’enzigi nga nzigale, bigenda kulangirirwa ku busolya bw’ennyumba.(Lukka 12:3)
Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo.(Okubikkulirwa 21:23)
Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe.(Okubikkulirwa 22:5)
Este artigo te tocou? Faça uma oração!
+581 estão orando agora.
Junte-se à corrente de oração.