Publicidade

Maria

Por Bíblia Online

Maria, mãe de Jesus, é honrada nas Escrituras como a mulher escolhida por Deus para trazer ao mundo o Salvador. Sua fé, humildade e obediência são exemplo para todos os cristãos.

A escolhida de Deus

O anjo Gabriel anunciou a Maria que ela seria mãe do Filho do Altíssimo. Ela respondeu com fé: 'Faça-se em mim segundo a tua palavra.'

Okuzaalibwa kwa Yesu Kulangibwa

Awo mu mwezi ogw’omukaaga, Katonda n’atuma malayika Gabulyeri mu kibuga Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya eri omuwala erinnya lye Maliyamu, nga tamanyi musajja, eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu, ow’omu lulyo lwa Dawudi. Awo Gabulyeri n’alabikira Maliyamu n’amulamusa nti, "Mirembe! Ggwe aweereddwa omukisa! Mukama ali naawe!"

Awo malayika n’amugamba nti, "Totya, Maliyamu, kubanga olabye ekisa mu maaso ga Katonda. Kubanga, laba, olibeera olubuto, olizaala omwana wabulenzi era olimutuuma erinnya, Yesu. Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe ey’obwakabaka eya jjajjaawe Dawudi. Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era n’obwakabaka bwe tebulikoma."

Okuzaalibwa kwa Yesu

Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Maliyamu nnyina bwe yali ng’akyayogerezebwa Yusufu, era nga tebanaba kufumbiriganwa n’alabika ng’ali lubuto ku bwa Mwoyo Omutukuvu.

O Magnificat

Maria cantou: 'Minha alma engrandece ao Senhor!' Seu cântico exalta a misericórdia, o poder e a fidelidade de Deus.

Oluyimba lwa Maliyamu

Maliyamu n’agamba nti,

"Emmeeme yange etendereza Mukama.

N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,

Kubanga alabye

obuwombeefu bw’omuweereza we.

Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.

Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu;

N’erinnya lye ttukuvu.

N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe

eri abo abamutya.

Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.

Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.

Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka

n’agulumiza abawombeefu.

Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi.

Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.

Adduukiridde omuweereza we Isirayiri,

n’ajjukira okusaasira,

nga bwe yayogera ne bajjajjaffe,

eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna."

Awo Yusufu n’ava e Nazaaleesi eky’e Ggaliraaya, n’agenda mu kibuga kya Dawudi ekiyitibwa Besirekemu eky’e Buyudaaya, kubanga yali wa mu kika kya Dawudi, yeewandiise ne Maliyamu eyali olubuto, oyo gwe yali ayogereza. Naye bwe baali bali eyo ekiseera kya Maliyamu eky’okuzaala ne kituuka. N’azaala omwana we omubereberye omulenzi, n’amubikka mu bugoye, n’amuzazika mu lutiba ente mwe ziriira, kubanga tebaafuna kifo mu nnyumba y’abagenyi.

Naye Maliyamu n’akuumanga ebigambo ebyo mu mutima gwe era ng’abirowoozaako nnyo.

Awo Simyoni n’abasabira omukisa. N’alyoka n’agamba Maliyamu nti, "Omwana ono bangi mu Isirayiri tebagenda kumukkiriza, era alireetera bangi okugwa n’abalala ne bayimusibwa. Era naawe ennaku eri ng’ekitala erikufumita omutima, n’ebirowoozo by’omu mitima gy’abantu birimanyibwa."

Awo bazadde be bwe baamulaba ne beewuunya nnyo, nnyina n’amugamba nti, "Mwana waffe otukoze ki kino? Kitaawo nange tweraliikiridde nnyo nga tukunoonya!"

Yesu n’abaddamu nti, "Mubadde munnoonyeza ki? Temwategedde nga kiŋŋwanidde okukola ebintu bya Kitange?" Naye ne batategeera bigambo ebyo bye yabagamba.

N’asituka n’agenda nabo e Nazaaleesi, n’abagonderanga; kyokka nnyina ebigambo ebyo byonna n’abikuuma mu mutima gwe.

Mãe fiel até o fim

Maria acompanhou Jesus desde o nascimento até a cruz. Ela estava entre os discípulos no Pentecostes, fiel em oração.

Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu n’ajja gy’ali n’amugamba nti, "Tebakyalina wayini."

Yesu n’amuddamu nti, "Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka."

Nnyina Yesu n’agamba abaweereza nti, "Kyonna ky’abagamba kye muba mukola."

Okumpi n’omusaalaba gwa Yesu waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, ne Maliyamu muka Kuloopa, ne Maliyamu Magudaleene. Yesu bwe yalaba nnyina, era n’omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ennyo ng’ayimiridde awo, n’agamba nnyina nti, "Maama, laba omwana wo." Ate n’agamba omuyigirizwa nti, "Laba maama wo." Okuva olwo omuyigirizwa oyo n’atwala nnyina Yesu eka ewuwe.

Baganda ba Yesu ne Nnyina

Awo baganda ba Yesu ne nnyina ne bajja gy’ali ebweru nga baagala okumulaba. Awo ne bamutumira bamuyite ajje ayogere nabo. Ekibiina ky’abantu kyali kimwetoolodde, ne bamugamba nti, "Nnyoko ne baganda bo ne bannyoko bali wabweru bakunoonya."

Naye n’abaddamu nti, "Mmange ye ani, ne baganda bange be baani?"

Awo bwe yeetoolooza amaaso abo abaali batudde nga bamwebunguludde, n’abagamba nti, "Bano be mulaba be bammange era be baganda bange! Kubanga buli muntu akola Katonda by’asiima ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange."

Ne beebuuza nti, "Ono si ye mutabani w’omubazzi? Nnyina ye Maliyamu ne baganda be ba Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni ne Yuda. Ne bannyina babeera kuno. Kale, ebyo byonna yabiggya wa?"

Abo bonna ne beeweerayo ddala n’omutima gumu okusaba wamu n’abakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-28_14-13-17-