Publicidade

Medo da morte

Por Bíblia Online

O medo da morte é universal, mas Cristo o venceu. A Bíblia ensina que para quem crê, a morte perdeu o aguilhão — não é mais motivo de terror, mas porta para a eternidade com Deus.

Cristo venceu a morte

Jesus assumiu carne e sangue para, pela morte, destruir o que tinha o poder da morte e libertar os que viviam em escravidão pelo medo dela.

Olw’okubanga abaana balina omubiri n’omusaayi, naye yalina omubiri n’omusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi ag’okufa, ye Setaani. Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olw’entiisa y’okufa.

Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, "Okufa kuwanguddwa."

"Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa?

Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?"

Obuyinza obulumya buva mu kibi, n’amaanyi g’ekibi gava mu mateeka. Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.

Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.

Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe.

A promessa da vida eterna

Quem ouve a Palavra e crê já passou da morte para a vida. O amor perfeito lança fora o medo, até o medo da morte.

"Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu.

Yesu n’amugamba nti, "Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu,

Ddala ddala mbagamba nti, Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe."

"Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.

Mu kwagala temuliimu kutya, kubanga okwagala okutuukiridde kumalawo okutya; kubanga okutya kulimu okubonerezebwa, na buli atya, aba tannatuukirira mu kwagala.

Não temas

Jesus disse: não temais os que matam o corpo. No vale da sombra da morte, o Senhor está conosco como pastor e protetor.

Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena.

Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;

kubanga ggwe oli nange.

Oluga lwo n’omuggo gwo

bye binsanyusa.

Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo."

Temutya n’akatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule ey’obulamu.

Ayingira mu mirembe

n’afuna okuwummulira mu kufa kwe,

ne bawummula ga beebase, abo abatambulira mu bugolokofu.

Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.

Kyawandiikibwa nti:

"Ku lulwo tutiisibwatiisibwa n’okuttibwa obudde okuziba,

era tubalibwa ng’endiga ez’okusalibwa."

Naye mu bino byonna tuwangudde n’okukirawo ku bw’oyo eyatwagala. Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya n’okwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-20_17-16-08-