Pular para o conteúdo
Publicidade

Mentira

Por Bíblia Online

A mentira é condenada pela Bíblia como pecado grave. Deus é verdade, e quem mente se alinha com o pai da mentira. O cristão é chamado a falar a verdade em amor.

Deus odeia a mentira

Os lábios mentirosos são abominação para o Senhor. A Bíblia adverte que todo mentiroso terá parte no lago de fogo.

Mukama akyawa emimwa egirimba,

naye asanyukira ab’amazima.

Naye abo ababi n’abatakkiriza n’abagwagwa, n’abassi, n’abenzi, n’abalogo n’abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja ey’omuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri."

Okulabula ku Bibi Omusanvu

Waliwo ebintu mukaaga Mukama by’akyawa,

weewaawo musanvu eby’omuzizo gy’ali.

Amaaso ag’amalala,

emimwa egirimba,

okuttira abantu obwereere;

omutima ogutegeka okukola ebibi,

ebigere ebyanguwa okukola ebibi,

obujulizi obw’obulimba,

n’omuntu aleeta obutakkaanya mu booluganda.

Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye,

Falar a verdade

Despojai-vos da mentira e falai a verdade cada um com o próximo. Cristo é a verdade, e nos chama a ser testemunhas fiéis.

Mulekeraawo okulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya mubiri gumu.

Yesu n’addamu nti, "Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze.

Kubanga Setaani ye kitammwe era nammwe mwagala okukola ebyo kitammwe by’ayagala. Okuva ku lubereberye mutemu era tanywerera mu mazima, era mu ye temuli mazima. Bw’ayogera eby’obulimba ayogera ebiva mu bibye, kubanga mulimba era kitaawe w’abalimba.

Omujulizi ow’obulimba talirema kubonerezebwa,

n’oyo ayogera eby’obulimba alizikirira.

Atayogera mazima

taabeerenga mu nnyumba yange.

Omuntu alimba

sirimuganya kwongera kubeera nange.

Consequências da falsidade

A mentira destrói confiança e relacionamentos. As Escrituras alertam sobre os frutos amargos do engano e da falsidade.

Okufuna obugagga n’olulimi olulimba,

mpewo buwewo etwalibwa eruuyi n’eruuyi era mutego gwa kufa.

Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna,

naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera.

Olulimi olulimba lukyawa abo be lufumita,

n’akamwa akawaanawaana kaleeta okuzikirira.

Abalimba bonna obazikiriza;

Mukama akyawa abatemu

era n’abalimba.

"Tobbanga.

"Tokumpanyanga.

"Temulimbagananga.

Seja o primeiro