Morte de Jesus
A morte de Jesus é o sacrifício supremo do amor de Deus. Na cruz, o Cordeiro de Deus carregou os pecados do mundo, satisfez a justiça divina e abriu o caminho da salvação para todos.
O sacrifício na cruz
Jesus disse: 'Está consumado!' Na cruz, Ele cumpriu toda a lei, pagou o preço do pecado e reconciliou a humanidade com Deus.
Yesu bwe yamanya nga byonna biwedde, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire, n’ayogera nti, "Ennyonta ennuma." Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde wayini omukaatuufu, ne bannyikamu ekyangwe, ne bakiteeka ku kati ka ezobu ne bakiteeka ku mumwa gwa Yesu. Bwe yakombako n’agamba nti, "Kiwedde." N’akutamya omutwe gwe n’awaayo obulamu bwe.
Abaserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne baddira engoye ze ne baziteeka emiteeko ena. Buli muserikale n’afuna omuteeko gumu. Ne baddira ekkanzu ye, eyali erukiddwa obulukibwa yonna, abaserikale ne bagambagana nti, "Tuleme kugiyuzaamu naye tugikubire kalulu, tulabe anaagitwala."
Kino kyabaawo okutuukiriza ekyawandiikibwa ekigamba nti:
"Baagabana ebyambalo byange,
n’ekkanzu yange ne bagikubira akalulu."
Ekyo kyennyini abaserikale kye baakolera ddala.
Okumpi n’omusaalaba gwa Yesu waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, ne Maliyamu muka Kuloopa, ne Maliyamu Magudaleene. Yesu bwe yalaba nnyina, era n’omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ennyo ng’ayimiridde awo, n’agamba nnyina nti, "Maama, laba omwana wo." Ate n’agamba omuyigirizwa nti, "Laba maama wo." Okuva olwo omuyigirizwa oyo n’atwala nnyina Yesu eka ewuwe.
Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu n’abamenyi b’amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo n’omulala ku ludda olwa kkono. Yesu n’agamba nti, "Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi." Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
Ekibiina ne kimutunuulira. Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamusekerera nga bagamba nti, "Yalokolanga balala, ka tulabe naye bwe yeerokola, obanga ye Kristo wa Katonda Omulonde we."
N’abaserikale nabo ne bamuduulira ne bamuwa wayini omukaatuufu, nga bagamba nti, "Obanga ggwe Kabaka w’Abayudaaya, weerokole!"
Waggulu w’omutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti,
Ono ye Kabaka w’Abayudaaya.
Omu ku bamenyi b’amateeka abaakomererwa naye n’avuma Yesu ng’agamba nti, "Si ggwe Masiya? Kale weerokole era naffe otulokole." Naye munne bwe baakomererwa n’amunenya, n’amugamba nti, "N’okutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa? Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna ky’akoze."
N’alyoka agamba nti, "Yesu, onzijukiranga bw’olijja mu bwakabaka bwo."
Yesu n’amuddamu nti, "Ddala ddala nkugamba nti olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda."
Okuva ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu okutuukira ddala ku ssaawa mwenda ez’olweggulo, ekizikiza ne kikwata ensi yonna. Awo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi eddene nti, "Eroi, Eroi, lama, sabakusaani?" Amakulu nti, "Katonda wange, Katonda wange, Lwaki onjabulidde?"
Era laba! Eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n’ekankana, n’enjazi ne zaatika. Entaana ne zibikkuka era abantu ba Katonda bangi abaali bafudde ne bazuukira, era Yesu bwe yamala okuzuukira ne bava mu ntaana gye baali baziikiddwa ne bayingira mu kibuga ekitukuvu ne balabibwa abantu bangi.
Omuserikale omukulu w’ekibinja ky’abaserikale ekikumi, n’abaserikale abaali bakuuma Yesu, bwe baalaba okukankana kw’ensi ng’okwa musisi, n’ebirala ebyabaawo, ne batya nnyo. Ne bagamba nti, "Ddala ddala ono abadde Mwana wa Katonda."
Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe.
Yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe.
Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera n’emirembe.
Ebiwundu bye, bye bituwonya.
Ffenna twawaba ng’endiga;
buli omu ku ffe n’akwata ekkubo lye;
Mukama n’amuteekako
obutali butuukirivu bwaffe ffenna.
Yanyigirizibwa era n’obonyaabonyezebwa
naye talina kye yanyega,
yali ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa,
era ng’endiga bwesirika obusirisi mu maaso g’abo abagisalako ebyoya bwesirika,
bw’atyo bwe yasirika.
Abantu ababi banneetoolodde;
banneebunguludde ng’embwa ennyingi;
banfumise ne bawummula ebibatu byange n’ebigere byange.
Amagumba gansowose nnyinza n’okugabala.
Abalabe bange bantunuulira nga bannyoomoola.
Bagabana engoye zange;
era ekyambalo kyange bakikubira akalulu.
Bonna abandaba banduulira,
era banvuma nga bwe banyeenyeza omutwe nga bagamba nti,
"Yeesiga Mukama;
kale amuwonye.
Obanga Mukama amwagala,
kale nno amulokole!"
O amor que se entrega
Ninguém tem maior amor do que aquele que dá a vida pelos amigos. Deus prova seu amor em que Cristo morreu por nós quando ainda éramos pecadores.
Tewali kwagala kusinga okw’omuntu awaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.
"Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.
Kale obanga bwe twali tukyali balabe ba Katonda twatabaganyizibwa naye mu kufa kw’Omwana we, bwe tutabagana naye tetulisingawo nnyo okulokolebwa olw’obulamu bwe?
Mu kino mwe tutegeerera okwagala, kubanga yawaayo obulamu bwe ku lwaffe, era naffe kyetuva tuteekwa okuwaayo obulamu bwaffe olw’abooluganda.
Ye, ye mutango olw’ebibi byaffe, naye si lwa bibi byaffe byokka, wabula ne ku lw’ebibi by’abantu bonna.
ne yeetoowaza,
n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa,
ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.
Morte e ressurreição
Jesus morreu e ressuscitou, e a morte não mais tem domínio sobre Ele. Pelo batismo, participamos de sua morte e ressurreição.
Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda.
Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye? Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.
Ng’abantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu n’oluvannyuma okulamulwa ne kutuuka, era ne Kristo bw’atyo yaweebwayo omulundi gumu ne yeetikka ebibi by’abantu bonna. Alirabika nate omulundi ogwokubiri, si kuddamu kwetikka bibi byaffe, wabula okuleeta obulokozi eri abo abamulindirira.
"Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli n’ebyamagero eby’ekitalo, Katonda bye yamukozesanga ng’ali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi. Naye ng’enteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gy’abantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba. Kyokka Katonda yamuzuukiza ng’asaanyizaawo obulumi bw’okufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza.
"Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga.
Kubanga buli lwe munaalyanga omugaati guno ne buli lwe munaanywanga ku kikompe, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama waffe okutuusa Lw’alijja.