Publicidade

Morte

Por Bíblia Online

A morte é a realidade que todos enfrentam, mas para o cristão ela não é o fim. A Bíblia ensina que Cristo venceu a morte e nos dá a esperança da ressurreição e da vida eterna.

Cristo venceu a morte

Onde está, ó morte, o teu aguilhão? Cristo destruiu o poder da morte e nos deu a vitória pela ressurreição.

"Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa?

Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?"

Obuyinza obulumya buva mu kibi, n’amaanyi g’ekibi gava mu mateeka. Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.

Omulabe we alisembayo okuzikirizibwa kwe Kufa.

Kuba ng’okufa bwe kwaleetebwa omuntu, era n’okuzuukira kw’abafu kwaleetebwa muntu.

Kuba ng’abantu bonna bwe baafa olwa Adamu, era bwe batyo bonna balifuulibwa abalamu olwa Kristo.

Ekigambo kino kyesigwa ekigamba nti:

"Obanga twafiira wamu naye,

era tulibeera balamu wamu naye.

Balina omukisa era batukuvu abalizuukirira mu kuzuukira okusooka. Kubanga okufa okwokubiri tekuliba na maanyi ku bo, balibeera bakabona ba Katonda ne Kristo era balifugira wamu ne Kristo okumala emyaka egyo olukumi.

A esperança da vida eterna

Jesus disse: 'Eu sou a ressurreição e a vida.' Quem crê nele não está morto, mas apenas adormecido — e um dia despertará para a glória.

Yesu n’amugamba nti, "Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu, na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?"

Yesu n’amugamba nti, "Nze kuzuukira n’obulamu; akkiriza nze newaakubadde ng’afudde, aliba mulamu, na buli muntu omulamu akkiriza nze talifa emirembe n’emirembe. Ekyo okikkiriza?"

Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera. Nziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali n’omu ayinza kuzisikula mu mikono gyange,

"Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.

Okujja kwa Mukama waffe

Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera eby’abo abafu, ne munakuwala ng’abalala abatalina ssuubi. Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era n’azuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu.

Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira, naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.

Não temas a morte

Não temas os que matam o corpo. Para o cristão, viver é Cristo e morrer é lucro. O vale da sombra da morte não assusta quem caminha com o Pastor.

Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena.

Kubanga buli agezaako okuwonya obulamu bwe alibufiirwa, oyo alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibuwonya.

Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde.

Nkwatiddwa buli luuyi; nneegomba okuva mu bulamu buno ŋŋende mbeere ne Kristo, kubanga ekyo kisingako obulungi. Naye okusigala mu mubiri kye kisinga okwetaagibwa ku lwammwe

Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva. Kale bw’alijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ng’ogugwe ogw’ekitiibwa, ng’akozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.

Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;

kubanga ggwe oli nange.

Oluga lwo n’omuggo gwo

bye binsanyusa.

Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;

kubanga ggwe oli nange.

Oluga lwo n’omuggo gwo

bye binsanyusa.

Kubanga bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama, oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. Kale nno bwe tuba abalamu oba bwe tufa, tuli ba Mukama.

A eternidade nos aguarda

Deus enxugará toda lágrima. A morte será o último inimigo destruído. Para os salvos, a morte é a porta de entrada na presença eterna de Deus.

Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, "Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo."

Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo."

Ng’abantu bwe baterekerwa okufa omulundi gumu n’oluvannyuma okulamulwa ne kutuuka,

Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi, wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya n’okwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.

Kizibu okufiirira omuntu omutuukirivu. Oboolyawo omuntu ayinza okwewaayo okufa ku lw’omuntu omulungi. Kyokka Katonda alaga okwagala kwe gye tuli mu ngeri eno: bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiirira.

Obanga olw’okwonoona kw’omuntu omu okufa kwabuna, abaliweebwa ekisa kya Katonda n’ekirabo eky’obutuukirivu, tebalisinga nnyo okufugira mu bulamu olw’omuntu omu Yesu Kristo?

Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

A morte na perspectiva bíblica

Há tempo de nascer e tempo de morrer. A morte é realidade humana, mas Deus é Senhor tanto dos vivos quanto dos mortos.

Okulondawo Ekisinga Obulungi

Obwatiikirivu bw’erinnya eddungi businga eby’akawoowo ebirungi;

n’olunaku olw’okufa lusinga olwo olw’okuzaalirwako.

Ayingira mu mirembe

n’afuna okuwummulira mu kufa kwe,

ne bawummula ga beebase, abo abatambulira mu bugolokofu.

Abantu abaatambuliranga mu kizikiza

balabye ekitangaala eky’amaanyi,

abo abaatuulanga mu nsi ey’ekizikiza ekingi,

omusana gubaakidde.

naye omuti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi ogwo togulyangako, kubanga lw’oligulyako tolirema kufa."

Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa

n’awangula amaanyi g’emagombe?

Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?

Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?

Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;

bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.

Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo,

era ng’akabonero ku mukono gwo,

kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,

obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe.

Kwaka ng’ennimi ez’omuliro,

omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.

"Era kaakano nnaatera okukwata olugendo lw’abantu bonna ab’oku nsi era mumanyi n’emitima gyammwe n’emmeeme yammwe mmwe mwenna nti, Tewali kintu kyonna kitatuukiridde Mukama Katonda wammwe kye yasuubiza ekibakwatako. Byonna bibakoleddwa, tewali na kimu kiremye.

Sisanyukira kufa kwa muntu yenna, bw’ayogera Mukama Katonda. Mwenenye mube balamu."

Awo Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, "Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo." Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’afa.

Naye ng’ali eyo mu magombe mu kubonaabona, n’atunula waggulu n’alaba Laazaalo ng’ali mu kifuba kya Ibulayimu. N’akoowoola nti, Kitange Ibulayimu, nsaasira, ontumire Laazaalo oyo annyike olugalo Lwe mu mazzi, nkombeko, naye olulimi lumbabuukirira nnyo mu muliro guno ogumbonyaabonya!

Okwegomba okwo bwe kumala okuba olubuto, ne kuzaala ekibi, n’ekibi bwe kikula ne kizaala okufa.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-28_14-13-17-