Publicidade

A mulher sábia

Por Bíblia Online

A mulher sábia constrói sua casa sobre o fundamento do temor do Senhor. Sua sabedoria abençoa a família, a comunidade e as gerações futuras.

A sabedoria que edifica

A mulher sábia edifica sua casa. O temor do Senhor é o princípio da sabedoria e a instrução que conduz à honra.

Omukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye,

naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye.

"Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,

era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.

Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi,

n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.

Naye obanga omuntu yenna ku mmwe aweebuka mu magezi, asabenga Katonda agabira bonna atakayuka, galimuweebwa.

Mutunuulire Mukama n’amaanyi ge;

munoonye amaaso ge ennaku zonna.

Virtude e excelência

A mulher virtuosa é coroada de força e dignidade. Ela abre a boca com sabedoria e a instrução da bondade está na sua língua.

Omukazi ow’Amagezi

Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?

Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.

Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye,

era tatya ebiro ebigenda okujja.

Ayogera n’amagezi,

era ayigiriza ebyekisa.

Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa,

ne bba n’amutendereza ng’ayogera nti,

"Abakazi bangi abakola eby’ekitiibwa

naye bonna ggwe obasinga."

Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa,

naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.

Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we,

naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.

Omukazi ow’ekisa aweebwa ekitiibwa,

naye abasajja ab’amawaggali bakoma ku bugagga bwokka.

Ennyumba n’obugagga bisikirwa okuva ku bazadde,

naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.

Exemplo e influência

A mulher sábia é exemplo de fé e bom testemunho. Suas atitudes inspiram e seu legado abençoa as gerações que virão.

Abakazi abakulu nabo bakubirize bw’otyo babe n’empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira, wabula nga bayigiriza ebirungi, balyoke basobole okugunjula abakazi abato okwagalanga ba bbaabwe awamu n’abaana baabwe. Era babenga beegendereza, era abalongoofu, era abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe, era abawulize eri ba bbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvvoolebwa.

N’abakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu.

Olugero lw’Abawala Ekkumi

"Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa n’abawala embeerera ekkumi, abaatwala ettaala zaabwe ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole. Abataano tebaalina magezi, abataano abalala ne baba b’amagezi. Abataalina magezi, ne batatwala mafuta gamala mu ttaala zaabwe. Naye abagezi baatwala amafuta mu macupa gaabwe ag’okweyambisa wamu n’ettaala zaabwe. Naye anaawasa omugole bwe yalwawo okutuuka otulo ne tubakwata bonna, ne beebaka.

"Obudde bwe bwatuuka mu ttumbi oluyoogaano ne lubazuukusa, abantu nga baleekaana nti, Awasa omugole atuuse! Mujje mumwanirize!

"Abawala embeerera bonna ne bazuukuka ne baseesa ettaala zaabwe. Awo abawala abataano abataalina magezi ne bagamba nti, Mutuwe ku mafuta gammwe, kubanga ettaala zaffe zaagala kuzikira ziggweerera.

"Naye bannaabwe ne babaddamu nti, Amafuta ge tulinawo gatumala bumazi. Mugende mu maduuka mwegulireyo.

"Naye baali baakagenda anaawasa omugole n’atuuka, abo abaali beeteeseteese ne bayingira ku mbaga, oluggi ne luggalwawo. Oluvannyuma abawala bali abataano ne bakomawo ne bayita nti, Ssebo, tuggulirewo! Naye n’abaddamu nti, Ddala ddala mbagamba nti, sibamanyi!

"Kale mutunule mweteeketeeke, kubanga temumanyi kiseera wadde olunaku."

Seja o primeiro
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-07-05_19-25-13-