Pular para o conteúdo
Publicidade

Não desista!

Por Bíblia Online

'Não desista!' é o grito do céu para a terra. Deus nos encoraja a perseverar na fé, na oração e na esperança, porque a vitória pertence aos que não se rendem.

Força na fraqueza

Os que esperam no Senhor renovam as forças. Deus não se cansa nem se fatiga — Ele dá poder aos fracos e vigor aos cansados.

Tonnamanya?

Tonnawulira?

Mukama, ye Katonda ataliggwaawo.

Omutonzi w’enkomerero y’ensi.

Tazirika so takoowa

era n’amagezi ge tewali n’omu ayinza kugapima.

Awa amaanyi abazirika,

n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.

Abavubuka bazirika, bakoowa,

n’abalenzi bagwira ddala.

Naye abo abalindirira Mukama

baliddamu buggya amaanyi gaabwe,

balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;

balidduka mbiro ne batakoowa,

balitambula naye ne batazirika.

Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula.

Omulokozi wa Isirayiri Ali Omu Yekka

Naye kaakano bw’atyo bw’ayogera Mukama oyo eyakutonda,

ggwe Yakobo,

eyakukola ggwe Isirayiri:

"Totya kubanga nkununudde,

nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.

Bw’onooyitanga mu mazzi amawanvu

nnaabeeranga naawe,

ne bw’onooyitanga mu migga

tegirikusaanyaawo;

bw’onooyitanga mu muliro

tegukwokyenga,

ennimi z’omuliro tezirikwokya.

Kubanga nze Mukama Katonda wo,

Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo.

Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa,

era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.

Mmanyi okubeera nga sirina kantu, era mmanyi okuba nga nnina buli kimu. Mu buli ngeri ne mu bintu byonna nayiga ekyama ekiri mu kukkusibwa ne mu kuba omuyala, mu kuba n’ebingi ne mu bwetaavu. Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.

Okuba Abalamu olw’Okukkiriza

Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo. Kubanga okubonaabona kwaffe okutono okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okututeekerateekera ekitiibwa eky’amaanyi eky’emirembe n’emirembe. Noolwekyo tetutunuulira bintu ebirabika naye ebintu ebitalabika, kubanga ebintu ebirabika bya kiseera buseera, naye ebyo ebitalabika bya mirembe na mirembe.

Perseverança na fé

Não perca a confiança, pois ela tem grande recompensa. O justo viverá pela fé, e quem perseverar até o fim será salvo.

Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene.

Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa, era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi. Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.

Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era n’abo abamunoonya n’obwesigwa abawa empeera.

Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima.

Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi.

Nzija mangu! Nnyweza ky’olina waleme kubaawo akutwalako ngule yo.

Kino kisaanye okulaga abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda ne bakkiririza mu Yesu ne bagumiikiriza okugezesebwa."

Alina omukisa omuntu agumira okukemebwa, kubanga bw’alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey’obulamu Katonda gye yasuubiza abo abamwagala.

Deus é refúgio

O Senhor é nosso refúgio e fortaleza. Ele ouve nossas orações, nos consola nas tribulações e transforma choro em dança.

Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;

omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.

Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,

ajja kukuwanirira;

kubanga talireka mutuukirivu kugwa.

Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;

era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.

Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;

kubanga abakunoonya tobaleka bokka.

Abo abasiga nga bakaaba amaziga,

baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.

Oyo agenda ng’akaaba

ng’atwala ensigo okusiga;

alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu

ng’aleeta ebinywa bye.

Muddeemu amaanyi mugume omwoyo

mmwe mwenna abalina essuubi mu Mukama.

Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,

era kye kimulisa ekkubo lyange.

Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;

abo bonna abamukoowoola mu mazima.

Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,

era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.

Vitória em Cristo

Jesus venceu o mundo e nos dá vitória. Para Deus nada é impossível, e Ele faz infinitamente mais do que pedimos ou pensamos.

"Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi."

Okuva olwo bangi ku bayigirizwa be ne bamuvaako ne bataddayo kuyita naye.

Awo Yesu n’akyukira abayigirizwa be ekkumi n’ababiri n’ababuuza nti, "Nammwe mwagala kugenda?"

Simooni Peetero n’amuddamu nti, "Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Ggwe wekka gw’olina ebigambo by’obulamu obutaggwaawo. Ffe tubikkiriza era tumanyi nti oli Mutukuvu wa Katonda."

Siribaleka nga bamulekwa, ndikomawo gye muli.

Musabe, Munoonye, Mweyanjule

"Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo. Kubanga buli asaba aweebwa, n’oyo anoonya, azuula, n’oyo akonkona aggulirwawo."

"Mujje gye ndi mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Musitule ekikoligo kyange, muyigire ku nze, kubanga ndi muwombeefu era omuteefu mu mutima, n’emyoyo gyammwe girifuna ekiwummulo. Kubanga ekikoligo kyange kyangu, n’omugugu gwange teguzitowa."

Yesu n’abatunuulira enkaliriza n’abagamba nti, "Eri abantu tekiyinzika. Naye Katonda, ayinza byonna."

Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda."

Esperança e transformação

O Senhor completa a boa obra que começou em nós. Ele faz novas todas as coisas e dá esperança para o futuro.

Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu.

Noolwekyo omuntu yenna bw’abeera mu Kristo, aba kitonde kiggya; eby’edda nga bigenze, laba ng’afuuse muggya.

Yerusaalemi Ekiggya

Awo ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya. Eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo nga n’ennyanja tekyaliwo. Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe. Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, "Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo."

Mukama mulungi,

kiddukiro mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,

era alabirira abo bonna abamwesiga.

Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso," bw’ayogera Mukama.

Naye mmwe mugume omwoyo! Temuganya mikono gyammwe kunafuwa kubanga omulimu gwammwe guliko empeera."

Permanecendo firme

Persevere na oração, firme-se na Palavra e fortaleça-se na graça de Cristo. A fé vem pelo ouvir, e o ouvir pela Palavra de Deus.

mu kunyiikira so si mu kugayaala. Musanyukirenga mu mwoyo nga muweereza Mukama, nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba.

nga musanyukira mu kusuubira, nga mugumiikiriza mu kubonaabona era nga munyiikira mu kusaba.

abaagalwa, temuwalananga ggwanga, era ekiruyi mukirekere Katonda, nga bwe kyawandiikibwa nti, "Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula," bw’ayogera Mukama.

Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo.

Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ng’okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olw’obulungi.

Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.

Gobereranga ebigambo ebireeta obulamu bye wawulira njogera, mu kukkiriza ne mu kwagala mu Kristo Yesu. Ekintu ekirungi eky’omuwendo kye wateresebwa kikuumenga ng’oyambibwa Mwoyo Mutukuvu abeera mu ffe.

Kale Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe eyatwagala n’atuwa essanyu n’essuubi eddungi olw’ekisa kye, abazzeemu amaanyi, era abanywezenga mu buli kye mukola ne mu buli kigambo ekirungi.

Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.

Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira. Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.

Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.

Seja o primeiro