Nem só de pão vive o homem
'Nem só de pão vive o homem' — essa declaração de Jesus ao diabo no deserto revela que a Palavra de Deus é o verdadeiro alimento que sustenta a vida em plenitude.
O verdadeiro alimento
Quando tentado a transformar pedras em pão, Jesus respondeu com a Escritura: a vida humana depende de toda palavra que sai da boca de Deus.
Naye Yesu n’amuddamu nti, "Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ "
Setaani n’agamba Yesu nti, "Obanga oli, Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere."
Naye Yesu n’amuddamu nti, "Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu taabenga mulamu lwa mmere yokka.’ "
Era yakukkakkanya n’akulumya enjala, n’akuliisa emmaanu, gye wali tolabangako wadde bakadde bo okugiwulirako, alyoke akuyigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
Jesus, o pão vivo
Jesus é o pão da vida que desceu do céu. Quem come deste pão viverá para sempre. Ele é o sustento que satisfaz a fome da alma.
Yesu n’abaddamu nti, "Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta.
Nze mmere ey’obulamu.
Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange."
Nga Kitange eyantuma bw’ali omulamu, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange, noolwekyo oyo alya ku nze naye aliba mulamu ku bwange. Eno ye mmere eva mu ggulu. Teri ng’eyo bajjajjammwe gye baalya ne bafa. Alya emmere eno anaabanga mulamu emirembe n’emirembe."
Buscar o Reino acima de tudo
Não andeis ansiosos pelo que comer ou beber. Buscai primeiro o Reino de Deus, e todas estas coisas vos serão acrescentadas.
Temweraliikiriranga
"Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, n’omubiri gusinga ebyambalo.
Temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga n’akatono. Kubanga ebintu ebyo byonna amawanga ge biyaayaanira, naye Kitammwe amanyi nga mubyetaaga. Naye munoonye obwakabaka bwe, n’ebintu ebyo mulibyongerwako.
Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali beegayirira Yesu alye ku mmere, nga bagamba nti, "Labbi lya ku mmere." N’abaddamu nti, "Nze nnina ekyokulya mmwe kye mutamanyi."
Awo abayigirizwa ne beebuuzaganya nti, "Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya?" Yesu n’abaddamu nti, "Ekyokulya kyange kwe kukola eyantuma by’ayagala, era n’okutuukiriza omulimu gwe.
Wadde omutiini tegutojjera,
so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala,
amakungula g’emizeeyituuni ne gabula,
ennimiro ne zitabala mmere n’akamu,
endiga nga ziweddemu mu kisibo,
nga n’ente tezikyalimu mu biraalo,
kyokka ndijaguliza Mukama,
ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.
Mukama Katonda, ge maanyi gange;
afuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo,
era ansobozesa okutambulira mu bifo ebigulumivu.
Ya Mukulu wa Bayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.