Pular para o conteúdo
Publicidade

Obediência aos pais

Por Bíblia Online

A obediência aos pais é mandamento divino com promessa de vida longa. A Bíblia valoriza a honra filial e ensina os filhos a respeitar e obedecer aos pais com amor.

Honrar pai e mãe

O quinto mandamento ordena honrar pai e mãe. É o primeiro mandamento com promessa: para que vá bem e vivas muito na terra.

Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.

Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira, olyoke owangaale, era obeerenga n’emirembe, mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.

Katonda yagamba nti, Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa. Oyo anaavumanga kitaawe ne nnyina battanga mutte,

Abazadde n’Abaana Baabwe

Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu. "Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa," eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi. Nammwe abazadde, temunyigirizanga baana bammwe, wabula mubakuze nga mubagunjula era nga mubayigiriza ebya Mukama waffe.

Obedecer e respeitar

Filhos, obedecei a vossos pais no Senhor. A obediência filial é expressão de amor e temor a Deus.

Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.

Amagezi eri Abavubuka

Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,

era tolekanga kukuutira kwa maama wo;

bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,

n’emikuufu mu bulago bwo.

Okulabula Ku Bwenzi

Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo,

era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.

Bisibenga ku mutima gwo ennaku zonna

era obisibe binywerere mu bulago bwo.

Bijja kukuluŋŋamyanga buli gy’onoolaganga,

ne bw’onoobanga weebase binaakukuumanga,

ate ng’ozuukuse binaabanga naawe.

Kubanga amateeka ttabaaza,

era n’okuyigiriza kitangaala,

okukulabula olw’okukuluŋŋamya,

ly’ekkubo ery’obulamu,

Amagezi ge gali ku Ntikko

Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ng’okwa kitammwe,

era musseeyo omwoyo mufune okutegeera.

Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi;

temulekanga biragiro byange.

Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange,

omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange,

yanjigiriza n’aŋŋamba nti, "Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo,

kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.

Funa amagezi; funa okutegeera,

teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.

Togalekanga, nago ganaakukuumanga,

gaagale nago ganaakulabiriranga.

Ensibuko y’Obugagga Obungi

Omwana omugezi assaayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawe,

naye omunyoomi tafaayo ku kunenyezebwa.

Manyiiriza omwana mu kkubo erimugwanira okutambulirangamu,

ne bw’alikula talirivaamu.

Disciplina e consequências

A vara e a repreensão dão sabedoria. A Bíblia adverte sobre as consequências sérias da rebeldia e desonra aos pais.

Akaggo akakangavvula, kaleeta amagezi,

naye omwana alekeddwa awo, aswaza nnyina.

Omwana abba ebya kitaawe n’agobaganya ne nnyina,

aleeta obuswavu n’obuyinike.

Eriiso ly’oyo anyooma kitaawe,

era n’atagondera nnyina,

liriggibwamu bannamuŋŋoona ab’omu kiwonvu,

ne liriibwa ensega.

"Akubanga kitaawe oba nnyina, ateekwa buteekwa okuttibwa.

Abaana Abakakanyavu Abatawulira

Omuntu bw’anaabanga ne mutabani we omukakanyavu omujeemu atagondera biragiro bya kitaawe wadde ebya nnyina, atabafaako bwe bamubonerezaamu olw’obutawulira, kitaawe ne nnyina banaamukwatanga ne bamuleeta eri abakulu abakulembeze ab’omu kibuga kye waabwe nga bali wabweru w’omulyango gw’ekibuga ekyo. Banaategeezanga abakulu abakulembeze b’omu kibuga kye waabwe nti, "Mutabani waffe ono mukakanyavu era mujeemu. Tatuwulira. Wa mulugube nnyo era mutamiivu." Kale nno abasajja b’omu kibuga ekyo banaamukubanga amayinja ne bamutta. Bw’otyo bw’onoomalangawo ekibi wakati wo. Isirayiri yenna anaakiwuliranga, n’atya.

Omuntu akolimira kitaawe oba nnyina,

ettabaaza ye erizikizibwa n’asigala mu kizikiza ekikutte ennyo.

Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng’abaana be. Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula?

Nnamwandu bw’abanga n’abaana oba abazzukulu basookenga okuyiga ebyo ebikolebwa mu maka ge waabwe, nga bassaayo omwoyo ku bazadde baabwe era n’okubalabirira. Kubanga ekyo kisanyusa Katonda.

Seja o primeiro