Orgulho
O orgulho é um dos pecados mais condenados na Bíblia. Deus resiste aos soberbos, mas dá graça aos humildes. A humildade é o caminho da honra verdadeira.
Deus resiste ao soberbo
A soberba precede a ruína e o orgulho antecede a queda. Deus abomina o coração altivo e promete humilhar quem se exalta.
Amalala gakulembera okuzikirira,
n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.
Buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri Mukama;
weewaawo talirema kubonerezebwa.
Wabaawo ekkubo erirabika ng’ettuufu eri omuntu,
naye ku nkomerero limutuusa mu kufa.
Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi;
nkyawa amalala n’okwemanya,
n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.
Amalala bwe gajja, ng’obuswavu butuuse,
naye obwetoowaze buleeta amagezi.
Amalala bwe gajja, ng’obuswavu butuuse,
naye obwetoowaze buleeta amagezi.
Amalala g’omuntu galimuleetera okugwa,
naye omuntu ow’omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
Amalala g’omuntu galimuleetera okugwa,
naye omuntu ow’omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.
Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.
Mukama azikiriza ennyumba y’ab’amalala,
kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.
Humildade como caminho
Humilhai-vos diante do Senhor e Ele vos exaltará. A grandeza no Reino vem pelo serviço humilde, não pela autopromoção.
Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti,
"Katonda alwana n’ab’amalala
naye abawombeefu abawa ekisa."
Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
Owooluganda atalina bintu bingi mu nsi muno asaana yeenyumirize, kubanga agulumizibbwa. N’omugagga tasaana anyiige ng’ebintu bye bimukendezebbwaako, kubanga naye aliggwaawo ng’ekimuli eky’omuddo bwe kiggweerera.
Mmwe abavubuka, mugonderenga abakulu. Muweerezeganenga mwekka na mwekka n’obuwombeefu kubanga
"Katonda akyawa ab’amalala
naye abawombeefu abawa omukisa."
Noolwekyo mwewombeeke wansi w’omukono gwa Katonda ogw’amaanyi, naye alibagulumiza ng’obudde butuuse. Mumutwalirenga byonna bye mweraliikirira kubanga abalumirwa era afaayo ku buli ekibatuukako.
Kubanga buli muntu eyeegulumiza alitoowazibwa; n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa."
nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka, nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.
Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,
Os perigos do orgulho
O orgulho cega, gera contendas e afasta de Deus. A Escritura adverte contra a soberba da vida e a vã glória mundana.
Kubanga buli eky’ensi: okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwekuluntaza okw’obulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi.
Kale alowooza ng’ayimiridde, yeekuumenga aleme okugwa.
Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa.
era n’alonda abakopi ab’ensi n’abo abanyoomebwa; era n’ebitaliiwo alyoke aggyewo ebiriwo, waleme kubaawo muntu n’omu eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda.
Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe; kubanga eyeetenda yekka, oyo si ye asiimibwa, wabula oyo Mukama gw’atenda.
Era n’ayongerako na bino nti, "Ebirowoozo by’omuntu bye bimwonoona. Kubanga mu mutima gw’omuntu mwe muva ebirowoozo ebibi eby’obukaba, n’obubbi, n’obutemu, n’obwenzi, n’okwegomba, n’omutima omubi, n’obukuusa, n’obumenyi bw’amateeka, n’obuggya, n’okusekeeterera, n’obusirusiru. Ebibi bino byonna biva munda mu muntu ne bimwonoona."
Amalala gazaala buzaazi nnyombo,
naye amagezi gasangibwa mu abo abakkiriza okulabulwa.
Obugagga n’ekitiibwa n’obulamu
y’empeera ey’okwetoowazanga n’okutyanga Mukama.
Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano, obuteekuluntaza, wadde okwesiga obugagga kubanga si bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna olw’okwesanyusanga,
O olhar de Deus
O Senhor não olha como o homem. Ele vê o coração e se agrada dos quebrantados de espírito e dos que tremem diante da sua Palavra.
Naye Mukama n’agamba Samwiri nti, "Totunuulira nfaanana ye wadde obuwanvu bwe, kubanga si gwe nnonze. Mukama tatunuulira ebyo abantu bye batunuulira. Abantu batunuulira bya kungulu naye Mukama atunuulira bya mu mutima."
Toyogera nate nga weewaanawaana
wadde okuleka akamwa ko okwogera eby’amalala,
kubanga Mukama Katonda y’amanyi byonna,
era y’apima ebikolwa.
Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola,
noolwekyo ebintu bino byonna byange?"
bw’ayogera Mukama Katonda.
"Ono ye muntu gwe ntunulako;
oyo ow’eggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo,
oyo akankanira ekigambo kyange.
Kale nze Nebukadduneeza kyennaava mmutendereza era ne mmuwa ekitiibwa ne mmugulumiza Kabaka ow’eggulu, kubanga emirimu gye gyonna gya mazima n’amakubo ge ga nsonga, n’abo ab’amalala abakkakkanya.
Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, "Mumugambe nti, ‘Eyeesiba ebyokulwanyisa aleme okwenyumiriza ng’oyo abyesumulula.’ "
Buli muntu abeerenga mu mirembe muntu ne munne, nga temwegulumiza naye nga muba bakkakkamu. Temwekulumbazanga.
Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya.