Publicidade

Ouvir

Por Bíblia Online

Ouvir é uma disciplina espiritual essencial. A Bíblia exorta: 'Quem tem ouvidos, ouça.' A fé vem pelo ouvir, e ouvir é mais que escutar — é obedecer e agir.

A fé vem pelo ouvir

Sem ouvir a Palavra, não há fé. A pregação do evangelho gera fé nos corações de quem ouve com disposição e humildade.

Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo.

Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo.

Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira?

Alina amatu agawulira, awulire."

Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti,

" Muliwulira naye temulitegeera

n’okulaba muliraba naye temulimanya.

Kubanga omutima gw’abantu bano

gwesibye,

n’amatu gaabwe tegawulira bulungi.

N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu,

wadde omutima gwabwe okutegeera,

ne bakyuka

ne mbawonya.

Ouvir e obedecer

Não basta ouvir — é preciso praticar. Quem ouve a Palavra e a pratica é como o homem sábio que edificou sobre a rocha.

Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba.

Mubeerenga bakozi ba kigambo, so si abakiwulira ne batakikola, nga mwerimbarimba.

Okuwuliriza n’Okukola

Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga.

Okuwuliriza n’Okukola

Ekyo mukimanye abooluganda abaagalwa! Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, kyokka alemenga kubuguutana kwogera, era alemenga kwanguwa kunyiiga. Kubanga obusungu bw’omuntu tebumuweesa butuukirivu bwa Katonda.

Omuzimbi Omugezi n’atali Mugezi

"Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi.

Omuzimbi Omugezi n’atali Mugezi

"Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi. Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi. Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu. Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene."

Naye Yesu n’amuddamu nti, "Kyawandiikibwa nti: Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ "

Naye Yesu n’addamu nti, "Weewaawo, naye balina omukisa abo bonna abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera."

Naye Yesu n’addamu nti, "Weewaawo, naye balina omukisa abo bonna abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera."

Ebyo bye mwayiga, n’ebyo bye mwafuna ne muwulira, ebyo mubirowoozengako.

Deus ouve nossas orações

O Senhor ouve os que clamam a Ele de coração sincero. Ele inclina os ouvidos para as nossas súplicas e responde com fidelidade.

Mukama mmwagala,

kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.

Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,

kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.

Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;

ne nkaabirira Katonda wange annyambe.

Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;

omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.

Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,

n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.

Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;

buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,

ne nnindirira onziremu.

Onzirize essanyu n’okwesiima,

amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.

Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;

kubanga ggwe gwe neesiga.

Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,

kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.

Noolwekyo tulina obuvumu nti bwe tugenda gy’ali ne tumusaba ekintu kyonna, ye nga bw’asiima atuwulira.

Era bwe tutegeera nti atuwulira bwe tumusaba, buli kye tumusaba talema kukituwa.

"Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira," bw’ayogera Mukama.

Mumpite n’abayitaba ne mbalaga ebikulu ebitanoonyezeka bye mutamanyi.

Ekibi, Okwatula Ebibi, n’Okusonyiyibwa

Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde n’okuyinza ne gutayinza kulokola,

era si muzibe wa matu nti tawulira.

Ouvir a voz de Deus

Jesus disse: 'As minhas ovelhas ouvem a minha voz.' Deus fala através da Palavra, do Espírito e das circunstâncias — cabe a nós ouvir.

Endiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera.

"Ddala ddala mbagamba nti, Awulira ebigambo byange, n’akkiriza eyantuma, aba n’obulamu obutaggwaawo, era talisingibwa musango, kubanga aliba avudde mu kuzikirira ng’atuuse mu bulamu. Ddala ddala mbagamba nti, Ekiseera kijja, era kituuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda, era n’abaliwulira baliba balamu.

Laba nnyimiridde ku luggi era nkonkona. Buli awulira eddoboozi lyange n’aggulawo, nnaayingira omumwe ne tuliira wamu ffembi.

Laba nnyimiridde ku luggi era nkonkona. Buli awulira eddoboozi lyange n’aggulawo, nnaayingira omumwe ne tuliira wamu ffembi.

Mukama Katonda wammwe gwe munaagobereranga, era ye yekka gwe munaatyanga, era amateeka ge, ge munaakwatanga, era n’eddoboozi lye, lye munaawulirizanga era lye munaagonderanga, era ku ye kwe munaanywereranga.

Abawa Omwoyo n’abawa n’okukola eby’amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa by’amateeka oba lwa kuwulira olw’okukkiriza?

Sabedoria no ouvir

Seja pronto para ouvir e tardio para falar. A sabedoria começa com a disposição de ouvir instrução e aceitar correção.

Oyo addamu amangu mu nsonga gy’ateetegerezza,

buba busirusiru bwe era buswavu.

Oyo assaayo omwoyo ku kuyigirizibwa alikulaakulana,

era alina omukisa oyo eyeesiga Mukama.

Okulabula Ku Bwenzi

Mwana wange nyweza ebiragiro bya kitaawo,

era togayaalirira kuyigiriza kwa maama wo.

Oyo assaayo omwoyo eri okubuulirirwa aba mu kkubo ery’obulamu,

naye oyo atassaayo mwoyo ku kunenyezebwa aleetera abalala okuwaba.

Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama,

n’okusaba kwe tekukkirizibwa.

Kirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amagezi

okusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru.

Ebintu byonna bijjudde obukoowu

omuntu bw’atasobola kutenda!

Eriiso terimatira kulaba,

wadde okutu okukoowa okuwulira.

"Era bwe muneeyongeranga okutambulira mu makubo ge sikkiriza, ne mugaana okumpulira, ndyongera okubaleetako endwadde nnyingi nga za mirundi musanvu ng’ebibi byammwe bwe byenkana.

Bwe mutaakyuse ku mpisa zammwe n’engeri zammwe, bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa," bw’ayogera Mukama ow’Eggye, "kale ndibasindikira ekikolimo era emikisa gyammwe girifuuka ekikolimo. Ate ddala mmaze okubakolimira kubanga ebikulu gye ndi temubitaddeeko mwoyo.

Kyokka bwe ndyogera gy’oli, ndizibula akamwa ko era olibagamba nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna.Aliwuliriza kale aliwuliriza, n’oyo aligaana okuwuliriza naye muleke agaane okuwuliriza; nnyumba njeemu."

"Ekiseera kijja," bw’ayogera Mukama Katonda,

"lwe ndisindika enjala mu nsi yonna,

teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi,

naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.

Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba n’ennyimba ez’okutendereza Katonda, nga n’abasibe abalala bawuliriza,

Yoswa n’ayita Abayisirayiri nti, "Musembere wano muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammwe.

Noolwekyo bye mwogeredde mu kizikiza biriwulirwa mu musana, n’ebyo bye mwogedde mu kaama, nga muli mu kisenge n’enzigi nga nzigale, bigenda kulangirirwa ku busolya bw’ennyumba.

Owooluganda Okusonyiwa Muganda we

"Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo.

Owooluganda Okusonyiwa Muganda we

"Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo. Naye bw’agaananga okukuwuliriza, ofunangayo omuntu omulala omu oba babiri obujulirwa bw’abantu ababiri oba abasatu bukakase buli kigambo. Naye bw’agaananga okubawuliriza ng’ensonga ozitwala eri Ekkanisa. Singa agaana okuwuliriza Ekkanisa, abeere nga munnaggwanga, era omuwooza w’omusolo.

Yesero n’asanyuka nnyo okuwulira ebirungi ebyo byonna Mukama bye yakolera Isirayiri, ng’abanunula ku Bamisiri.

"Amayengo ag’okufa ganzingiza;

embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.

Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;

n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.

Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;

nakoowoola Katonda wange.

Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;

n’okukaaba kwange kwamutuukako.

Seja o primeiro
Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-29_22-07-56-