Pular para o conteúdo
Publicidade

Pão

Por Bíblia Online

O pão é símbolo central na Bíblia: do maná no deserto ao pão da vida — Jesus. A Escritura usa o pão para ensinar sobre provisão divina, comunhão e dependência espiritual.

O maná do céu

Deus alimentou Israel no deserto com pão do céu. O maná era diário, fiel e suficiente — retrato da provisão constante de Deus.

Mukama n’ayogera ne Musa, ng’agamba nti, "Mpulidde okwemulugunya kw’abaana ba Isirayiri. Bagambe nti, Obudde nga buwungeera munaalya ennyama, n’enkya munakkusibwa emmere. Bwe mutyo munaategeera nga nze Mukama Katonda wammwe.’ "

Obudde nga buwungeera enkwale ne zijja ne zijjula olusiisira; ne mu makya ne wabaawo omusulo ku ttaka mu lusiisira. Omusulo nga gwamuse ng’obudde bukaze, laba, ku ttaka ne kulabikako obuntu obutono obwekulungirivu obufaanana ng’omusulo ogukutte olw’obunnyogovu obungi. Abaana ba Isirayiri bwe baabulaba ne beebuzaganya nti, "Kiki kino?" Kubanga baali tebakimanyi. Musa n’abategeeza nti, "Eno ye mmere Mukama gy’abawadde okulya.

Ab’omu nnyumba ya Isirayiri, emmere eyo ne bagiyitanga maanu. Yali efaanana ng’akasigo ka koliyanda, nga njeru; ng’ewoomerera ng’obusukuuti obufumbiddwa n’omubisi gw’enjuki.

Naye era n’alagira eggulu;

n’aggulawo enzigi z’omu ggulu.

N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye.

Yabawa emmere eyava mu ggulu.

Abantu ne balya emmere ya bamalayika;

Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.

Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente,

n’ebirime abantu bye balima,

balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.

Ne wayini okusanyusa omutima gwe,

n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye,

n’emmere okumuwa obulamu.

O pão da vida

Jesus declarou: 'Eu sou o pão da vida.' Quem vem a Ele nunca terá fome, e quem nele crê jamais terá sede. Ele é o sustento eterno.

Awo Yesu n’abagamba nti, "Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eva mu ggulu, wabula Kitange ye yabawa emmere ey’amazima eva mu ggulu. Emmere ya Katonda ye eva mu ggulu, era ye awa ensi obulamu."

Ne bamugamba nti, "Mukama waffe, tuwenga emmere eyo buli lunaku."

Yesu n’abaddamu nti, "Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta.

Nze mmere ey’obulamu. Bajjajjammwe baalya emaanu mu ddungu ne bafa. Eno y’emmere eyava mu ggulu, buli agiryako aleme okufa. Nze mmere ennamu eyava mu ggulu omuntu bw’alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n’emirembe. Emmere gye ndigaba okuleetera ensi obulamu, gwe mubiri gwange."

Era yakukkakkanya n’akulumya enjala, n’akuliisa emmaanu, gye wali tolabangako wadde bakadde bo okugiwulirako, alyoke akuyigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama Katonda.

Naye Yesu n’amuddamu nti, "Kyawandiikibwa nti: Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ "

Partilha e comunhão

O partir do pão une o corpo de Cristo. Na Ceia, na generosidade e na partilha, expressamos a comunhão com Deus e uns com os outros.

Ate n’atoola omugaati, bwe yamala okwebaza Katonda, n’agumenyaamenyamu, n’abagabira ng’agamba nti, "Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe muti nga munzijukira."

Kubanga buli lwe munaalyanga omugaati guno ne buli lwe munaanywanga ku kikompe, munaategeezanga abantu okufa kwa Mukama waffe okutuusa Lw’alijja.

Ekikompe eky’omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kussekimu okw’omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenya, si kwe kussekimu okw’omubiri gwa Kristo? Kubanga ffe bangi, ffenna tulya ku mugaati gumu, ekiraga nga bwe tuli omubiri ogumu.

Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti,

Kitaffe ali mu ggulu,

Erinnya Lyo litukuzibwe.

Obwakabaka bwo bujje.

By’oyagala bikolebwe mu nsi,

nga bwe bikolebwa mu ggulu.

Otuwenga emmere yaffe eya buli lunaku.

Omuntu omugabi anaabanga n’omukisa,

kubanga emmere ye agirya n’abaavu.

Naye Yesu n’abaddamu nti, "Mmwe mubawe ekyokulya." Ne bamubuuza nti, "Tugende tubagulire emmere nga ya dinaali ebikumi bibiri, tugibawe balye?"

Yesu n’ababuuza nti, "Mulina emigaati emeka? Mugende mulabe." Bwe baamala okwetegereza ne bamugamba nti, "Waliwo emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri."

Awo Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi ku muddo mu bibinja. Awo ne batuula mu bibinja, eby’abantu ataano ataano, awalala kikumi kikumi. Yesu n’atoola emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’ayimusa amaaso ge eri eggulu ne yeebaza Katonda. N’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja ebibiri, n’abiwa abayigirizwa be ne bagabula abantu bonna ne babuna. Bonna ne balya ne bakkuta. Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bw’emigaati n’obwebyennyanja ebisero kkumi na bibiri.

Provisão divina

O justo não é desamparado e seus descendentes não mendigam pão. Deus provê com fidelidade o alimento de cada dia.

Nnali muto kati nkaddiye,

naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,

wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.

Ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo

Abayigirizwa bwe baasomoka okuva emitala w’eri ne beerabira okuleeta emigaati. Naye Yesu n’abagamba nti, "Mwekuume ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo."

Naye Abayigirizwa ne boogeraganya bokka ne bokka nti, "Ayogedde bw’atyo kubanga tetwaleese migaati."

Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, "Mmwe abalina okukkiriza okutono lwaki mweraliikirira nga mugamba nti, temulina mmere? Era temunnategeera wadde okujjukira emigaati etaano abantu enkumi ettaano gye baalya, n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo? Era n’emigaati omusanvu abantu enkumi ennya gye baalya n’ebisero bye mwakuŋŋaanya ebyafikkawo? Kale lwaki temutegeera nti mbadde ssoogera ku migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusa eky’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo." Ne balyoka bategeera nti yali tayogera ku kizimbulukusa kya migaati naye yali ayogera ku njigiriza y’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo.

Bw’ogaba Katonda Akuddizaawo

Siganga emmere yo ng’enkuba etonnya,

kubanga ebbanga lyayo bwe lirituuka olikungula.

Gabiranga musanvu weewaawo munaana,

kubanga mu biseera eby’oluvannyuma oyinza okubeera mu kwetaaga.

Seja o primeiro