Pular para o conteúdo
Publicidade

O papel da mulher

Por Bíblia Online

A Bíblia honra a mulher como colaboradora essencial no plano de Deus. De Provérbios 31 às mulheres do Novo Testamento, a Escritura celebra a sabedoria, a força e a fé feminina.

A mulher virtuosa

Mulher virtuosa, quem a achará? Seu valor excede o de rubis. Ela é sábia, trabalhadora, generosa e temida pelo Senhor.

Omukazi ow’Amagezi

Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?

Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.

Bba amwesiga n’omutima gwe gwonna,

era bba talina kyonna kya muwendo ky’abulwa.

Aleetera bba essanyu so tamukola kabi,

obulamu bwe bwonna.

Anoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba,

n’akola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka.

Ali ng’ebyombo by’abasuubuzi,

aleeta emmere okuva mu nsi ezeewala.

Agolokoka tebunnakya,

n’awa ab’omu nnyumba ye ebyokulya,

n’agabira abaweereza be abawala be abaweereza emirimu egy’okukola.

Alowooza ku nnimiro n’agigula;

asimba ennimiro ey’emizabbibu n’ebibala by’emikono gye.

Omukazi oyo akola n’amaanyi omulimu gwe,

emikono gye gikwata n’amaanyi emirimu gye.

Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula,

era n’ettabaaza ye ekiro tezikira.

Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe,

engalo ze ne zikwata akati akalanga.

Ayanjululiza abaavu omukono gwe,

n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.

Omukazi atunga ebyambalo ebya linena n’abitunda,

n’aguza abasuubuzi enkoba.

Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye,

era tatya ebiro ebigenda okujja.

Ayogera n’amagezi,

era ayigiriza ebyekisa.

Alabirira nnyo empisa z’abomu nnyumba ye,

era talya mmere ya bugayaavu.

Omukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye,

naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye.

Amagezi eri Abavubuka

Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,

era tolekanga kukuutira kwa maama wo;

Beleza interior

A beleza verdadeira não é exterior, mas o caráter incorruptível de um espírito manso e tranquilo. Isso tem grande valor diante de Deus.

Abakyala ne ba Bbaabwe

Abakazi abafumbo, mu ngeri y’emu muwulirenga babbammwe, bwe waba nga waliwo abatagondera kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe mu kukkiriza olw’empisa zammwe ennungi ne bwe muba nga temuliiko kye mubagambye. Kubanga bajja kulaba empisa zammwe ennungi nga mubassaamu ekitiibwa. Okweyonja kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu: nga mu misono gy’enviiri n’egyamajjolobera ag’ebyo ebyambalwa mu bulago ne ku matu, n’egyebyambalo. Naye kube kwa mu mutima munda; okweyonja okutayonooneka okw’omwoyo omuwombeefu era omuteefu, era okwo kwe kw’omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda. Kubanga n’abakazi ab’edda abatukuvu abaasuubiriranga mu Katonda, bwe batyo bwe beeyonjanga era nga bawulize eri ba bbaabwe. Saala bw’atyo bwe yali; yawuliranga nnyo Ibulayimu, ng’amussaamu ekitiibwa ng’amuyita mukama we. Kale obanga mwagala okuba bawala ba Saala, mubenga ba mpisa nnungi, olwo tewaabengawo kibatiisa kyonna.

Nammwe abasajja abafumbo, mutegeere nga bakazi bammwe banafu, noolwekyo mubakwatenga n’obwegendereza. Era mubassengamu ekitiibwa nga mumanyi nga nabo Katonda alibaweera wamu nammwe, obulamu obutaggwaawo. Bwe munaakolanga bwe mutyo okusaba kwammwe tekuziyizibwenga.

Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo, wadde okwambala engoye ez’omuwendo ennyo.

N’abakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu.

Parceria e dignidade

Deus criou homem e mulher à sua imagem. A mulher não é inferior, mas parceira e co-herdeira da graça da vida.

Bw’atyo Katonda n’atonda omuntu mu kifaananyi kye,

mu kifaananyi kya Katonda mwe yamutondera;

n’abatonda omusajja n’omukazi.

Katonda n’abawa omukisa, n’abagamba nti, "Mwale mujjuze ensi, mugifugenga. Mufugenga ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ebinyonyi eby’omu bbanga na buli kiramu ekitambula ku nsi."

Mukama Katonda n’ayogera nti, "Si kirungi omuntu okuba yekka, nnaamukolera omubeezi amusaanira."

N’agamba omukazi nti,

"Nnaayongeranga nnyo ku bulumi bwo ng’oli lubuto,

onoozaaliranga mu bulumi;

musajja wo anaakukoleranga bye weetaaga

kyokka anaakufuganga."

Kyokka mu Mukama waffe, omukazi n’omusajja, buli omu yeetaaga munne. Kuba, newaakubadde ng’omukazi ava mu musajja, naye buli musajja azaalibwa mukazi; kyokka byonna biva eri Katonda.

Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.

Abakazi abakulu nabo bakubirize bw’otyo babe n’empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira, wabula nga bayigiriza ebirungi, balyoke basobole okugunjula abakazi abato okwagalanga ba bbaabwe awamu n’abaana baabwe. Era babenga beegendereza, era abalongoofu, era abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe, era abawulize eri ba bbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvvoolebwa.

Seja o primeiro