Publicidade

Paz

Por Bíblia Online

A paz é um dos frutos do Espírito e uma promessa central de Jesus: 'Deixo-vos a paz, a minha paz vos dou.' A Bíblia nos chama a buscar, cultivar e viver na paz de Deus.

A paz de Cristo

Jesus é o Príncipe da Paz. Antes de partir, prometeu aos discípulos uma paz que o mundo não pode dar nem tirar — paz sobrenatural em meio às tribulações.

Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.

Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.

"Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi."

"Mbategeezezza ebyo byonna mulyoke mube n’emirembe mu nze. Mu nsi muno mujja kubonaabona, naye mugume, kubanga Nze mpangudde ensi."

Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,

omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,

n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.

N’erinnya lye aliyitibwa nti,

Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,

Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.

Awo bwe baali bakyayogera ebyo Yesu n’ayimirira mu makkati gaabwe n’abalamusa nti, "Emirembe gibeere nammwe!"

Paz com Deus

Justificados pela fé, temos paz com Deus por meio de Cristo. Ele é a nossa paz, que derrubou a barreira e nos reconciliou.

Kale nga bwe twaweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza tulina emirembe ne Katonda, mu Mukama waffe Yesu Kristo,

Kristo gy’emirembe gyaffe, oyo eyatufuula ffe Abayudaaya nammwe Abaamawanga, okuba omuntu omu, ng’amenyeewo ekisenge ekya wakati eky’obulabe, ekyatwawulanga. Yadibya n’etteeka mu mateeka, alyoke yeetondemu omuntu omuggya ava mu babiri, ng’aleeta emirembe,

era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.

Mpandikira abo bonna ababeera mu Ruumi, abaagalwa ba Katonda, abaayitibwa okuba abatukuvu.

Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe, bibeerenga nammwe.

ekisa kibe ku mmwe n’emirembe egiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Kristo.

nga tugamba nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n’eri Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe;

A paz que excede o entendimento

A paz de Deus, que excede todo entendimento, guarda nosso coração e mente. Ela vem da confiança no Senhor e da entrega total a Ele.

Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga. N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.

Ebyo bye mwayiga, n’ebyo bye mwafuna ne muwulira, ebyo mubirowoozengako.

Ebyo bye mwayiga, n’ebyo bye mwafuna ne muwulira, ebyo mubirowoozengako.

Mukama alikuuma mirembe

oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.

Mukama alikuuma mirembe

oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.

N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.

N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.

Promotores da paz

Bem-aventurados os pacificadores, porque serão chamados filhos de Deus. A Escritura nos chama a buscar e promover a paz em todos os relacionamentos.

Balina omukisa abatabaganya,

kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.

Balina omukisa abatabaganya,

kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.

Mukolenga kyonna ekisoboka okutabagana n’abantu bonna;

Noolwekyo tunyiikirirenga eby’emirembe, n’eby’okuzimbagana ffekka ne ffekka.

Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu.

Mufubenga okuba n’emirembe n’abantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama.

Mufubenga okuba n’emirembe n’abantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama.

Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,

"Ayagala okufuna obulamu n’okubeera mu ddembe,

aziyizenga olulimi lwe okwogera ekibi,

n’emimwa gye

okwogera ebyobukuusa.

Era yeewalenga okukola ebibi, akolenga ebirungi.

Anoonyenga emirembe era atambulirenga mu gyo.

Era yeewalenga okukola ebibi, akolenga ebirungi.

Anoonyenga emirembe era atambulirenga mu gyo.

Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;

noonya emirembe era ogigobererenga.

Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;

noonya emirembe era ogigobererenga.

O fruto da paz

A sabedoria que vem do alto é pacífica. O fruto da justiça se semeia em paz por aqueles que cultivam a paz com mansidão.

Era ekibala eky’obutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.

Era ekibala eky’obutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.

Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi.

Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa,

Ekibala ky’obutuukirivu kiriba mirembe,

n’ekiriva mu butuukirivu kiriba kusiriikirira na bwesige emirembe gyonna.

Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu.

Paz interior e descanso

Aquietai-vos e sabei que Eu sou Deus. A paz do Senhor acalma tempestades, silencia medos e sustenta a alma em todo tempo.

Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.

Nnaagulumizibwanga mu mawanga.

Nnaagulumizibwanga mu nsi.

Nnaagalamira ne nneebaka mirembe;

kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama,

ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.

Mukama awa abantu be amaanyi;

Mukama awa abantu be emirembe.

Naye abateefu baligabana ensi

ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.

Tunuulira omuntu ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu;

obulamu bwe bunajjulanga emirembe.

Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;

tewali kisobola kubeesittaza.

Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;

tewali kisobola kubeesittaza.

Nze njagala mirembe,

naye bwe njogera bo baagala ntalo.

N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’agamba ennyanja nti, "Tteeka, sirika." Omuyaga ne gusirika n’ennyanja n’eteekera ddala.

Yesu n’agamba omukazi nti, "Omuwala, okukkiriza kwo kukuwonyezza, genda mirembe obulwadde bwo buwonedde ddala."

"Omunnyo mulungi, naye bwe guggwaamu ensa, guzzibwamu gutya obuka bwagwo? Noolwekyo mube n’omunnyo mu mmwe era mubeerenga n’emirembe buli muntu ne munne."

Anunciadores da paz

Como são formosos os pés dos que anunciam boas novas de paz! O evangelho é a mensagem de paz para todos os povos.

Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, "Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi."

Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi,

alangirira emirembe,

aleeta ebigambo ebirungi,

alangirira obulokozi,

agamba Sayuuni nti, "Katonda wo afuga."

"Ekitiibwa kibe eri Katonda Ali Waggulu ennyo.

N’emirembe gibe mu nsi eri abantu Katonda b’asiima."

"Aweereddwa omukisa Kabaka ajja mu linnya lya Mukama!"

"Emirembe gibe mu ggulu, n’ekitiibwa kibeere waggulu ennyo!"

Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba,

ebigere ebirungi eby’oyo aleese amawulire amalungi,

alangirira emirembe.

Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu,

era otuukirize obweyamo bwo;

omubi kaakano takyakulumba,

azikiririzibbwa ddala, tolimulaba nate.

nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe.

O Deus da paz

Que o Deus da paz esteja com todos vocês. Ele nos santifica por completo e nos guarda irrepreensíveis para a vinda do Senhor.

Kale kaakano Katonda ow’emirembe, abeerenga nammwe mwenna. Amiina.

Kale Mukama nannyini mirembe abawenga emirembe mu byonna. Mukama abeerenga nammwe mwenna.

Kale, Katonda ow’emirembe eyazuukiza Mukama waffe Yesu, Omusumba w’endiga omukulu ow’endagaano etaggwaawo gye yanyweza n’omusaayi gwe,

kubanga Katonda si wa luyoogaano, wabula wa mirembe.

Kale nga bwe kiri mu Kkanisa z’abatukuvu zonna,

"‘Mukama Katonda akuwe omukisa,

akukuume;

Mukama Katonda akwakize amaaso ge

akukwatirwe ekisa;

Mukama Katonda akwolekeze amaaso ge

akuwe emirembe.’

Kubanga mmanyi enteekateeka ze nnina gye muli, enteekateeka ez’okubakulaakulanya so si okubakolako akabi, enteekateeka ez’okubawa essuubi era n’obulamu obw’omu maaso," bw’ayogera Mukama.

"‘Naye ndikiwa obulamu n’okuwonyezebwa; ndiwonya abantu bange, mbaleetere okweyagalira mu mirembe emigazi era eminywevu.

N’abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama;

n’emirembe gy’abaana bo giriba mingi.

Kubanga mulifuluma n’essanyu

ne mugenda mirembe,

ensozi n’obusozi nabyo

ne bitandika okuyimba nga bibalabye,

n’emiti gyonna

ne gitendereza n’essanyu.

"Tewali mirembe, eri aboonoonyi," bw’ayogera Katonda wange.

Paz, santidade e unidade

A paz exige esforço: guardar a unidade do Espírito, evitar contendas e buscar a santidade. Sem paz e santidade, ninguém verá o Senhor.

Munyiikirenga okukuuma obumu obw’Omwoyo mu kwegatta awamu okw’emirembe.

Munyiikirenga okukuuma obumu obw’Omwoyo mu kwegatta awamu okw’emirembe.

Naye ddukanga okwegomba okubi okw’ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, n’okukkiriza, n’okwagalana era n’emirembe awamu n’abo abasaba Mukama n’omutima omulongoofu.

Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga.

Amakubo g’omuntu bwe gaba gasanyusa Mukama,

aleetera abalabe b’omuntu oyo okubeera naye mu mirembe.

Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi,

n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.

Kya kitiibwa omuntu okwewala entalo,

naye buli musirusiru ayagala okuyomba.

N’abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibeerenga ku bo, n’okusaasirwa, ne ku Isirayiri ya Katonda.

Ekisa kya Katonda, n’emirembe, n’okwagala byeyongerenga mu mmwe.

Paz e fé

O Deus da esperança nos encha de paz e alegria no crer. Quem mantém o pensamento firme no Senhor experimenta paz perfeita.

Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.

Okulowooleza mu by’omubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu n’emirembe.

Okulowooleza mu by’omubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu n’emirembe.

buli gye balaga baleka abantu baayo mu kuzikirira na mu nnaku njereere.

Tebamanyi kkubo lya mirembe."

"N’okutya tebatya Katonda."

Yesu n’agamba omukazi nti, "Okukkiriza kwo kukulokodde, genda mirembe."

"Buli nnyumba gye muyingirangamu musookanga kugamba nti, ‘Emirembe gibeere mu nnyumba eno.’

Bw’afumiitiriza n’alaba nga tajja kusobola, atumira kabaka oli omubaka, ng’akyaliko wala, okuteesa emirembe.

Amaka ago bwe gabanga ag’abantu abasaanidde, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku bo, naye bwe gatabanga bwe gatyo emirembe gyammwe ginaabaddiranga.

"Temulowooza nti najja okuleeta emirembe ku nsi! Sajja kuleeta mirembe wabula ekitala.

Ebisigadde abooluganda, mujaguze, muzibwemu amaanyi, mulowooze bumu, mubeere n’emirembe, Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabeeranga nammwe.

okwakira abo abatudde mu kizikiza

ne mu kisiikirize eky’okufa,

okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe."

Naye ggwe oligenda mirembe eri bajjajjaabo; oliziikibwa ng’owangaalidde ddala nnyo.

waliwo ekiseera eky’okwagaliramu n’ekiseera eky’okukyayiramu;

ekiseera eky’entalo n’ekiseera eky’eddembe.

Ekkubo ery’emirembe tebalimanyi

wadde okukozesa obwenkanya mu makubo gaabwe.

Beekubidde amakubo,

tewali n’omu agayitamu afuna emirembe.

Aliba mulimba nnyo, n’aleetera obulimba okweyongera, era alyegulumiza nnyo. Aligwikiriza abantu bangi n’abazikiriza, era n’alumba n’Omukulu w’abalangira. Wabula naye alizikirizibwa so si n’amaanyi ag’obuntu.

Mu biro eby’emirembe, alirumba amasaza amagagga, nga tebamwetegekedde, n’akola bajjajjaabe bye bataakolanga newaakubadde bajjajja ba bajjajjaabe. Aligabula abagoberezi be, ebinyage n’obugagga, ne yeekobaana okuwamba embiri, naye ekyo kirimala akaseera katono.

Entiisa bw’erijja,

balinoonya emirembe naye tebaligifuna.

abo bannabbi ba Isirayiri abaayogera eby’obunnabbi eri Yerusaalemi ne balabikirwa okwolesebwa ow’emirembe gye bali, ate nga tewaaliwo mirembe, bw’ayogera Mukama Katonda."’

"Endagaano eri mu mateeka ago yali egenderedde kuleeta bulamu na mirembe era n’embimuwa asobole okuntya, era n’antya n’ayimirira ng’atya erinnya lyange.

Kyokka oyo atali mukkiriza bw’ayagala okwawukana, baawukane; mu nsonga eyo omusajja omukkiriza oba omukyala taasibwenga mu ekyo, kubanga Katonda ayagala abaana be okubeera n’eddembe.

Ne wavaayo embalaasi endala nga myufu, eyali agyebagadde n’aweebwa ekitala ekiwanvu, n’aweebwa n’obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi, n’okuleeta entalo wakati w’abantu, battiŋŋane bokka na bokka.

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-19_11-20-24-