Pecado
O pecado é a realidade que separa a humanidade de Deus. Mas a Bíblia também revela a solução: o sangue de Cristo que nos purifica e a graça que nos liberta de toda condenação.
A universalidade do pecado
Todos pecaram e carecem da glória de Deus. Não há justo, nem sequer um. O pecado entrou no mundo por um homem, mas a graça veio por Jesus.
Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda.
Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda. Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olw’ekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo;
Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu mu maaso ga Katonda olw’ebikolwa by’amateeka. Mu mateeka mwe tutegeerera ddala ekibi.
Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.
Ffenna twafuuka batali balongoofu
era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde obukyafu.
Ffenna tuwotookerera ne tukala ng’ekikoola,
era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.
Buli muntu akola ebibi aba mujeemu, era ekibi bwe bujeemu.
Liberdade da condenação
Não há condenação para os que estão em Cristo Jesus. Ele nos libertou da lei do pecado e da morte para vivermos em novidade de vida.
Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okw’omubiri wabula ne bagoberera Omwoyo. Kubanga etteeka ery’Omwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka ly’ekibi n’okufa.
Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo. Temuwangayo bitundu byammwe eby’omubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ng’abantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe eby’omubiri gwammwe bikozesebwe eby’obutuukirivu eri Katonda. Temukkiriza kibi kwongera kubafuga, kubanga temukyafugibwa mateeka, wabula ekisa kya Katonda.
Kale tukole tutya? Kale tukole ekibi kubanga tetufugibwa mateeka wabula ekisa kya Katonda? Kikafuuwe. Temumanyi nga muba baddu b’oyo gwe muwulira? Muyinza okuba abaddu b’ekibi ne kibaleetera okufa, oba muyinza okuba abaddu abawulira Katonda n’abawa obutuukirivu. Kyokka Katonda yeebazibwe kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye bwe mwagondera okuyigiriza kwe mwayigirizibwa n’omutima gwammwe gwonna, ne mukugondera. Noolwekyo mwasumululwa okuva mu kibi, ne mufuuka baddu ba butuukirivu abasanyusa Katonda.
Kale tukole tutya? Kale tukole ekibi kubanga tetufugibwa mateeka wabula ekisa kya Katonda? Kikafuuwe.
Tumanyi ng’amateeka mwoyo, naye nze omuntu obuntu, natundibwa ng’omuddu nfugibwe ekibi. Kubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola. Newaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ng’amateeka malungi. Noolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze.
Yesu n’abaddamu nti, "Ddala ddala mbagamba nti buli akola ekibi aba muddu wa kibi.
Confissão e perdão
Se confessarmos os nossos pecados, Deus é fiel e justo para nos perdoar e purificar de toda injustiça. A confissão liberta a alma.
Bwe twogera nti tetulina kibi, twerimba ffekka, era n’amazima tegaba mu ffe. Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.
Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.
Noolwekyo bwe twogera nti tussakimu naye, ate ne tutambulira mu kizikiza, tuba balimba era tetuba ba mazima.
Onsaasire, Ayi Mukama,
ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
nziggyaako ebyonoono byange byonna.
Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
Ddala, nazaalibwa mu kibi;
kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
Ompe amagezi munda ddala mu nze.
Onnaaze n’ezobu ntukule
onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
Onzirize essanyu n’okwesiima,
amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
Totunuulira bibi byange,
era osangule ebyonoono byange byonna.
Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
"Leka neenenyeze Mukama ebibi byange."
Bw’otyo n’onsonyiwa,
n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.
Alina omukisa oyo
asonyiyiddwa ebyonoono bye
ekibi ne kiggyibwawo.
Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama,
onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.
Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
kubanga byava dda.
Tojjukira bibi byange
n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
Ani asobola okulaba ebyonoono bye?
Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana,
naye buli abyatula n’abireka, alisaasirwa.
Vencendo o pecado
Cristo nos resgatou e nos restaurou. Devemos mortificar as obras da carne, fugir do pecado e prosseguir em santidade.
Yesu Kristo yennyini yeetikka ebibi byaffe mu mubiri gwe bwe yatufiirira ku musaalaba, naffe tulyoke tufe eri ekibi, tube abalamu eri obutuukirivu. Olw’ebiwundu bye, muwonyezebbwa.
Era alizaala Omwana wabulenzi, olimutuuma erinnya Yesu, (amakulu nti, ‘Omulokozi’) kubanga y’alirokola abantu bonna mu bibi byabwe."
Kubanga oyo ataamanya kibi, yafuuka ekibi ku lwaffe, tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda mu Yesu.
era ne Kristo bw’atyo yaweebwayo omulundi gumu ne yeetikka ebibi by’abantu bonna. Alirabika nate omulundi ogwokubiri, si kuddamu kwetikka bibi byaffe, wabula okuleeta obulokozi eri abo abamulindirira.
naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani.
Tumanyi nga buli muntu yenna azaalibwa Katonda teyeeyongera kukola kibi, kubanga Katonda amukuuma, Setaani n’atamukola kabi.
Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala.
Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe.
Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola. Kubanga kya nsonyi n’okubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama.
"Bwe musunguwalanga mwekuume muleme kwonoona." Temuzibyanga budde nga mukyasunguwadde.
Responsabilidade e restauração
O pecado tem consequências, mas Deus restaura o arrependido. Devemos corrigir uns aos outros com mansidão e cobrir o pecado com amor.
Abooluganda omuntu bw’abanga alina ekibi ky’akoze, mmwe ab’omwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa.
Abooluganda omuntu bw’abanga alina ekibi ky’akoze, mmwe ab’omwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo.
"Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo.
"Muganda wo bw’akusobyanga ogendanga gy’ali n’omutegeeza ekisobyo kye nga muli babiri. Bw’akkirizanga n’akwetondera olwo ng’oggyeemu omuntu mu muganda wo.
Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja."
"Ofaayo ki ku kasasiro akali ku liiso lya muganda wo so nga ku liryo kuliko kisiki kiramba?
"Kubanga bwe munaasonyiwanga ababasobezza, nammwe Kitammwe ali mu ggulu anaabasonyiwanga.
Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba n’omutima omumalirivu ogw’omuntu omutuukirivu, kubeera n’obuyinza bungi, era n’ebivaamu biba bya ttendo.
Okumanya ekituufu ekiteekwa okukolwa, naye ne mutakikola, kuba kwonoona.
Musemberere Katonda, ne Katonda anaabasembereranga. Mulongoose engalo zammwe, mmwe abakozi b’ebibi, mutukuze emitima gyammwe, mmwe abalina emyoyo egitaaganaaga.
Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda.
Mu kamwa ke kamu ne muvaamu okutendereza n’okukolima. Abooluganda, kino si bwe kyandibadde bwe kityo!
N’ekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi.
Fuga do pecado
Bem-aventurado o que não anda no conselho dos ímpios. O caminho do justo é guardado pelo Senhor, e sua Palavra nos protege da queda.
Alina omukisa omuntu
atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,
newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri,
era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.
Atambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe,
naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.
Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu mutima gwe omulungi, n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu mutima gwe omubi. Kubanga akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima."
Oba temumanyi ng’abatali batuukirivu tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga. Abakaba, newaakubadde abasinza bakatonda abalala, newaakubadde abenzi, newaakubadde abasajja abeeyisa ng’abakazi, newaakubadde abalya ebisiyaga, newaakubadde ababbi, newaakubadde aboomululu, newaakubadde abatamiivu, newaakubadde abajerega, newaakubadde abanyazi tebaliyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
Piraato n’afuluma ebweru nate, n’agamba Abayudaaya nti, "Laba, mbaleetera Yesu ebweru, kyokka mutegeere nga nze ndaba taliiko musango." Awo Yesu n’afuluma ng’atikkiddwa engule eyakolebwa mu maggwa, era ng’ayambaziddwa olugoye olw’effulungu, Piraato n’agamba Abayudaaya nti, "Mulabe omuntu oyo!"
Awo bakabona abakulu n’abaweereza bwe baamulaba, ne baleekaana nti, "Mukomerere, mukomerere!"
Piraato n’abagamba nti, "Mmwe mumutwale mumukomerere. Nze simulabako musango."
Buli muntu gwe munaasonyiwanga ebibi bye anaabanga asonyiyiddwa. Abo be munaagaananga okusonyiwa, banaabanga tebasonyiyiddwa."
Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula."