O poder da oração
A oração é o canal mais poderoso de comunicação com Deus. Através dela, milagres acontecem, montanhas são movidas e o impossível se torna possível.
Pedidos com fé
Jesus ensinou: pedi e recebereis. Tudo o que pedirmos em seu nome, crendo, Ele fará. A fé transforma a oração em poder.
"Musabe, munaaweebwa. Munoonye, munaazuula. Era mukonkone munaggulirwawo.
Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga."
Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli.
Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga."
Oração e milagres
A oração dos justos tem grande poder. Pedro orou e Dorcas ressuscitou. Jesus disse que certos demônios só se expulsam com jejum e oração.
Peetero n’abasaba bonna bafulume, n’afukamira n’asaba. N’akyukira omulambo n’ayogera nti, "Tabbiisa golokoka." Tabbiisa n’azibula amaaso, era bwe yalaba Peetero n’atuula.
N’addamu nti, "Ogw’engeri eno teguyinza kugenda awatali kusaba."
Waliwo omulwadde mu mmwe? Kirungi atumye abakulembeze b’Ekkanisa, bamusabire, era bamusiige amafuta, nga bwe basaba Mukama amuwonye. Era okusaba kwabwe nga kuweereddwayo n’okukkiriza, kugenda kumuwonya, kubanga Mukama awonya. Singa obulwadde bwe bwava ku kibi kye yakola, Mukama agenda kumusonyiwa. Noolwekyo mwatulireganenga ebibi byammwe, era buli omu asabirenga munne, mulyoke muwonyezebwe. Okusaba n’omutima omumalirivu ogw’omuntu omutuukirivu, kubeera n’obuyinza bungi, era n’ebivaamu biba bya ttendo.
Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu buzibu;
n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
Omuyaga yagusirisa,
ennyanja n’etteeka.
Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka;
n’abakulembera n’abatuusa bulungi ku mwalo gwabwe.
Orar em todo tempo
A Bíblia nos exorta a orar sem cessar, com ações de graças e súplicas, revestidos da armadura espiritual. A oração traz paz sobrenatural.
Temweraliikiriranga kintu na kimu, wabula mu buli kintu mu kusabanga ne mu kwegayiriranga awamu n’okwebazanga, mutegeezenga Katonda bye mwetaaga. N’emirembe gya Katonda, egisukkiridde okutegeera kwammwe ginaabakuumanga amagezi gammwe n’emitima gyammwe mu Kristo Yesu.
nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.