Publicidade

Gravidez e maternidade

Por Bíblia Online

Gravidez e maternidade são bênçãos celebradas na Bíblia. Deus forma cada criança no ventre, cuida da mãe e da família, e abençoa a geração dos justos.

Filhos são herança do Senhor

Deus abençoa a fertilidade e o crescimento das famílias. Cada criança é obra de suas mãos, conhecida e amada antes mesmo de nascer.

Onoofunanga omukisa okusinga amawanga amalala gonna; tewaabengawo musajja oba mukazi mugumba mu mmwe, wadde ente zammwe ezitaazaalenga.

Naye Abayisirayiri ne bazaala nnyo, ne baala, ne bayitirira obungi, era ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula ekitundu ekyo mwe baali.

Abaana be baliba ba kitiibwa mu nsi;

omulembe gw’abalongoofu guliweebwa omukisa.

Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;

ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.

Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;

emirimu gyo gya kyewuunyo;

era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.

Wammanya nga ntondebwa,

bwe nakolerwa mu kyama;

bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.

Wandaba nga si natondebwa.

Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera

zawandiikibwa mu kitabo kyo.

Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;

era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.

Nnyinza okutuusa abantu bange ku kuzaalibwa

ne batazaalibwa?" bw’ayogera Mukama Katonda.

"Ate olubuto ndusiba ntya

nga ndutuusizza ku kuzaala?" bw’ayogera Mukama Katonda wo.

Força e cuidado na gravidez

Deus dá forças à mulher grávida e a sustenta em cada etapa. Sua graça é suficiente e seu poder se aperfeiçoa na fraqueza.

Nnyinza okukola byonna mu oyo ampa amaanyi.

Buli mulundi ng’aŋŋamba nti, "Ekisa kyange kikumala, kubanga amaanyi gange gatuukirira mu bunafu." Noolwekyo kyennaavanga nneegulumiza n’essanyu lingi olw’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke galabisibwe.

Ontegere okutu kwo

oyanguwe okunziruukirira.

Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi

era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.

Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,

omutima gwange nga gugenda gunafuwa.

Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.

Aliisa ekisibo kye ng’omusumba,

akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe

n’abasitula mu kifuba kye,

n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.

"Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo

n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.

Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,

be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.

Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo.

Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga.

Nze nabakola era nze nnaabawekanga.

Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.

A bênção da maternidade

A Bíblia honra a maternidade como ministério sagrado. As mães são instrumentos de Deus para formar vidas e transmitir a fé.

Kyokka omukazi alirokolerwa mu kuzaala abaana, bw’ananywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala ne mu butukuvu, ne mu kwegendereza.

Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa,

ne bba n’amutendereza ng’ayogera nti,

Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, "Mukama annyambye nzadde omuntu."

Awo Mukama n’akwatirwa Saala ekisa nga bwe yagamba Ibulayimu, era n’akolera Saala kye yasuubiza. Saala n’aba olubuto, n’azaalira Ibulayimu omwana owoobulenzi mu bukadde bwe, mu kiseera Katonda kye yamugamba.

Isaaka n’asaba Mukama ku lwa mukazi we Lebbeeka kubanga yali mugumba, Mukama n’awulira okusaba kwe, Lebbeeka naaba olubuto.

Kaana n’aba olubuto n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Samwiri, amakulu gaalyo, "Kubanga namusaba Mukama Katonda."

Proteção divina

Deus protege a mãe e o bebê, guardando-os de todo mal. Ele acompanha cada momento com ternura e fidelidade.

Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;

aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.

Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;

ggwe Katonda wange gwe nneesiga.

Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;

anaalabiriranga obulamu bwo.

Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,

okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

"Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo;

nga tonnava mu lubuto n’akutukuza.

Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga."

"Singa abantu babadde balwana, ne bakubiramu omukazi ali olubuto, olubuto ne luvaamu, kyokka n’atabaako mutawaana mulala gwonna, oyo amukubye anaatanzibwanga omutango bba w’omukazi gw’anaasalanga, era nga n’abalamuzi bagukkirizza. Naye singa omukazi oyo abaako omutawaana ogw’amaanyi, ekibonerezo kineenkanaakananga n’ekyo ky’amukoze. Bw’anattanga anattibwanga,

"Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,

n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?

Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira

naye nze sirikwerabira.

Esperança e promessa

A maternidade é caminho de esperança. Como Sara, Ana e Isabel, as mães encontram na fé a força para aguardar as promessas de Deus.

Olw’okukkiriza ne Saala yennyini, omukazi omugumba yaweebwa amaanyi okuba olubuto newaakubadde nga yali ayise ku myaka egy’okuzaalirako; yakkiriza nti oyo amusuubizza mwesigwa.

Oweereddwa omukisa bw’okkirizza nti ebintu ebyo Mukama bya kwogeddeko birituukirizibwa."

Maliyamu n’agamba nti,

"Emmeeme yange etendereza Mukama.

N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,

Kubanga alabye

obuwombeefu bw’omuweereza we.

Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.

Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu;

N’erinnya lye ttukuvu.

Omukazi omugumba amuwa abaana,

n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu.

Mutendereze Mukama!

Ndimuwa omukisa, era ndikuwa omwana owoobulenzi mu ye. Ndimuwa omukisa, alibeera jjajja w’amawanga, bakabaka baamawanga baliva mu ye."

Mu nnyumba yo,

mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;

abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni

nga beetoolodde emmeeza yo.

Publicidade
Bíblia Online Bíblia Online

Bíblia Online • Versão: 2026-06-20_17-16-08-